Scriptures
Mosiya 9


Ekiwandiiko kya Zeniffu; Enyinnyonnyolwa y’abantu be, okuva lwe baava mu nsi e’ye Zalakemula okutuuka mu kiseera we baanunulibwa okuva mu mikono gy’Abalamani.

Murimu essuula 9 okutuuka ku 22.

Essuula 9

Zeniffu akulembera ekibinja okuva e Zalakemula okutwala ensi ya Leki-Neefi; Kabaka w’Abalamani abakkiriza okusikira ensi; Wabaawo olutalo wakati w’Abalamani n’abantu ba Zeniffu. Nga mu mwaka gwa 200–187 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Nze Zeniffu, oluvannyuma lw’okuyigirizibwa ku lulimi lwonna olw’Abaneefi, era nga nfunye n’okumanya ku nsi ya Neefi, oba ku nsi y’obusika bwa bakitaffe obwasooka, era nga ntumiddwa ng’omukessi mu Balamani nsobole okuketta amagye gaabwe, olwo eggye lyaffe lisobole okubalumba okubazikiriza; naye bwe nnalaba ekyo ekyali ekirungi mu bo nayayaana baleme okuzikirizibwa.

2 N’olwekyo, nnafuna obutakkaanya ne baganda bange mu lukoola, kubanga nze nnali njagala omufuzi waffe akole endagaano nabo; naye ye nga talina kisa wadde era omusajja eyali ayagala ennyo okuyiwa omusaayi yalagira nzittibwe; naye nnanunulibwa olw’okuyiwa omusaayi omungi; kubanga taata yalwanagana ne taata, n’ow’oluganda n’alwanagana ne muganda we, okutuuka omuwendo ogwali omunene ku ggye lyaffe lwe gwasaanyizibwawo mu lukoola; era twaddayo, ffe abaali bawonyeewo, mu nsi y’e Zalakemula, okunyumya olutabaalo olwo eri bakyala baabwe n’abaana baabwe.

3 Era nate, nze olw’ekirubirirwa eky’okusikira ensi ya bakitaffe, nakuŋŋaanya bangi abaali bayayaana okwambuka babeere mu nsi eyo, era bwe tutyo nate twatandika olugendo lwaffe mu lukoola okwambuka mu nsi eyo; naye twalumbibwa enjala era n’ebibonoobono ebizito ennyo; kubanga twalwawo okujjukira Mukama Katonda waffe.

4 Wadde nga kyali kityo, oluvannyuma lw’ennaku nnyingi nga tutambula mu lukoola twasimba weema zaffe mu kifo baganda baffe we battibwa, ekyali okumpi n’ensi ya bakitaffe.

5 Era olwatuuka ne ŋŋenda nate n’abasajja bange bana mu kibuga, eri kabaka, nsobole okumanya endowooza ya kabaka, era nsobole okumanya oba nnyinza okuyingira n’abantu bange era tufune ensi eyo mu mirembe.

6 Era nnayingira ne ŋŋenda eri kabaka, era naalagaana nange nsobole okufuna ensi ya Leki-Neefi, n’ensi ya Siromu.

7 Era yalagira nti abantu be bave mu nsi, era nze n’abantu bange ne twagenda mu nsi tusobole okugifuula eyaffe.

8 Era twatandika okuzimba ebizimbe, era n’okuddaabiriza bbugwe w’ekibuga, weewaawo, ddala ne bbugwe w’ekibuga Leki-Neefi, era n’ekibuga Siromu.

9 Era twatandika okukabala ettaka, weewaawo, ddala n’ensigo ez’engeri zonna, n’ensigo za kasooli, era n’eŋŋaano, era n’ezomuweemba, era ne neyasi, era ne seyumu, era n’ensigo z’ebibala eby’engeri zonna; era twatandika okweyongera obungi n’okukulaakulana mu nsi.

10 Kaakano gaali magezi era n’obukujjukujju bwa kabaka Lamani, okuleeta abantu bange mu buddu, nti yawaayo ettaka lye tusobole okubeerako.

11 N’olwekyo olwatuuka, oluvannyuma bwe twamala okubeera mu nsi okumala ebbanga ery’emyaka kkumi n’ebiri kabaka Lamani n’atandika okweraliikirira, sikulwa nga abantu bange mu ngeri yonna bafuuka b’amaanyi mu nsi, era nti bo ne batasobola kutuwangula n’okutuleeta mu buddu.

12 Kaakano baali bantu bagayaavu era nga basinza ebifaananyi; n’olwekyo baali bayaayana okutufuula abaddu, balyoke bekkuse n’emirimu gy’emikono gyaffe; weewaawo, nti basobole okulya nga bwe baagala ku bisibo by’ennimiro zaffe.

13 N’olwekyo olwatuuka kabaka Lamani yatandika okusiikuula abantu be nti baalina okulwanagana n’abantu bange; n’olwekyo waatandika okubaawo entalo n’enkayana mu nsi.

14 Kubanga, mu mwaka ogw’ekkumi n’esatu ogw’obufuzi bwange mu nsi ya Neefi, ewala mu bukiika obwa ddyo obw’ensi ya Siromu, abantu bange bwe baali bafukirira n’okuliisa ebisibo byabwe, n’okulima ebibanja byabwe, ekibinja ky’eggye ly’Abalamani ekinene ne kijja gye bali ne kitandika okubatta, era n’okubatwalako ebisibo byabwe, ne kasooli w’ennimiro zaabwe.

15 Weewaawo, era olwatuuka ne badduka, abo bonna abataawambibwa, ddala mu kibuga kya Neefi, era ne bankoowoola okubakuuma.

16 Era olwatuuka nabakwasa emitego, era n’obusaale, era n’ebitala, era n’ebyambe, era n’amafumu, era n’envumuulo, era n’ebyokulwanyisa eby’engeri zonna bye twasobola okuyiiya, era nze n’abantu bange twagenda okulwanyisa Abalamani mu lutalo.

17 Weewaawo, mu maanyi ga Mukama twagenda okulwanagana n’Abalamani; kubanga nze n’abantu bange twawanjagira nnyo Mukama atununule okuva mu mikono gy’abalabe baffe, kubanga twazuukusibwa okujjukira okununulibwa kwa bakitaffe.

18 Era Katonda yawulira emiranga gyaffe era n’addamu essaala zaffe; era twagenda mu maaso mu maanyi ge; weewaawo, twagenda mu maaso okulwanagana n’Abalamani, era mu lunaku lumu n’ekiro kimu twatta enkumi ssatu mu ana mu basatu; twabatta okutuuka lwe twabagoba mu nsi yaffe.

19 Era nze, kennyini, n’emikono gyange, nayambako okuziika abafu baabwe. Era laba, mu nnaku yaffe ey’amaanyi ennyo n’okukungubaga, ebikumi bibiri mu nsanvu mu mwenda ku baganda baffe battibwa.