Scriptures
Mosiya 5


Essuula 5

Abatukuvu bafuuka batabani ne bawala ba Kristo okuyitira mu kukkiriza; Olwo ne bayitibwa erinnya lya Kristo; Kabaka Benyamini abakubiriza okubeera abanywevu era abatakyuka mu bikolwa ebirungi. Nga mu mwaka gwa 124 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Era kaakano, olwatuuka kabaka Benyamini bw’atyo nga ayogedde eri abantu be, n’atuma mu bo, ng’ayagala okumanya mu bantu be oba bakkiriza ebigambo bye yali ayogedde gye bali.

2 Bonna ne bayimusiza wamu eddoboozi, nga bagamba nti: Weewaawo, tukkiriza ebigambo byonna by’otugambye; era nate, tumanyi obukakafu era n’amazima gaabyo, olw’Omwoyo wa Mukama Omuyinza w’ebintu byonna, aleese enkyukakyuka ey’amaanyi mu ffe, oba mu mitima gyaffe, nti tetukyalina ndowooza ya kukola kibi, wabula okukola ebirungi bulijjo.

3 Era ffe, bennyini, nate, okuyitira mu bulungi bwa Katonda obutakoma, n’okwolesebwa kw’Omwoyo we, tulina ebirowoozo ebikulu ku ekyo ekigenda okujja; era singa kisoboka, tuyinza okuwa obannabbi ku bintu byonna.

4 Era okukkiriza kwe tufunye ku bintu kabaka waffe by’atugambye kwe kututuusizza ku kumanya kuno okw’omugaso awo kwe kusanyuka n’essanyu eringi ennyo bwe lityo.

5 Era tuli beetegefu okulagaana endagaano ne Katonda waffe okukola by’ayagala, n’okugondera ebiragiro bye mu bintu byonna by’anaatulagira, ennaku zaffe zonna ezisigaddeyo, tuleme kwereetera okubonyaabonyezebwa okutakoma, nga bwe kyayogeddwa malayika, tuleme okunywa ku kikopo eky’obusungu bwa Katonda.

6 Era kaakano, bino bye bigambo kabaka Benyamini bye yali abaagaza; era n’olwekyo n’abagamba nti: Mwogedde ebigambo bye nnayagala; era n’endagaano gye mukoze ndagaano ya butuukirivu.

7 Era kaakano, olw’endagaano gye mulagaanye mujja kuyitibwa abaana ba Kristo, batabani be, ne bawala be; kubanga laba, leero abazadde mu mwoyo; kubanga mugambye nti emitima gyammwe gikyusiddwa olw’okukkiriza erinnya lye; n’olwekyo, muzaaliddwa ye era mufuuse batabani be ne bawala be.

8 Era wansi w’omutwe guno mufuuliddwa ba ddembe, era tewaliyo mutwe mulala gwonna mwe muyinza kufuulibwa ab’eddembe. Tewaliyo linnya ddala lyonna liweereddwa obulokozi mwe bujjira; n’olwekyo, nandyagadde mutwale erinnya lya Kristo, mmwe mwenna abalagaanye endagaano ne Katonda nti mubeere abawulize okutuuka ku nkomerero y’obulamu bwammwe.

9 Era kirituukirira nti buli akola kino alisangibwa ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, kubanga alimanya erinnya ly’ayitibwa; kubanga aliyitibwa erinnya lya Kristo.

10 Era kaakano olulituuka buli ataliyitibwa linnya lya Kristo ateekwa okuyitibwa erinnya eddala; n’olwekyo, yeesanga ku mukono ogwa kkono ogwa Katonda.

11 Era nandyagadde mujjukire nate, nti lino ly’erinnya lye nnagamba nti ndibawa eritasangulwawo, okuggyako nga kinaaba kuyita mu kusobya; n’olwekyo, mwegendereze muleme okusobya, erinnya lireme okusangulwa mu mitima gyammwe.

12 Mbagamba nti, nandyagadde mujjukire okusigaza erinnya nga liwandiikiddwa bulijjo mu mitima gyammwe, nti muleme okusangibwa ku mukono gwa Katonda ogwa kkono, naye muwulire era mumanye eddoboozi eriribayita, era ne, erinnya ly’alibayita.

13 Kubanga omuntu amanya atya mukama we gw’ataweerezangako, era nga mugenyi atamanyiddwa gy’ali, era nga tali nnyo mu birowoozo era n’ebiruubirirwa eby’omutima gwe?

14 Era nate, omuntu atwala endogoyi eya munne n’agikuuma? Mbagamba nti Nedda; tajja kukkiriza wadde okuliira awamu n’ebisibo bye, naye ajja kugigoba, era n’agifulumya ebweru. Mbagamba, nti ddala bwe kityo bwe kiriba mu mmwe singa temumanyi linnya lye muyitibwa.

15 N’olwekyo, nandyagadde mubeere banywevu era abatasagaasagana, bulijjo nga mubugaanye ebikolwa ebirungi, nti Kristo, Mukama Katonda Omuyinza w’ebintu byonna, abasseeko envumbo mubeere babe, mulyoke muleetebwe mu ggulu, mulyoke mufune obulokozi obw’olubeerera era n’obulamu obutaggwaawo, nga muyitira mu magezi, era n’amaanyi, era n’obwenkanya, era n’okusaasira kw’oyo eyatonda ebintu byonna, mu ggulu era ne mu nsi, nga ye Katonda asinga byonna. Amiina.