Essuula 8
Amoni ayigiriza abantu ba Limuki; Amanya ku mbaati abiri mu ennya ez’Abayaledi; Ebiwandiiko eby’edda bisobola okuvvunulwa abalabi; Tewali kirabo kisinga bulabi. Nga mu mwaka gwa 121 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era olwatuuka oluvannyuma lwa kabaka Limuki nga amaze okufundikira okwogera eri abantu be, kubanga yayogera ebintu bingi gye bali era ebitono ddala ku byo bye mpandiise mu kitabo kino, yabuulira abantu be ebintu byonna ebikwata ku baganda baabwe abaali mu nsi y’e Zalakemula.
2 Era yalagira Amoni okuyimirira mu maaso g’enkuyanja y’abantu, era abannyonnyola ebyo byonna ebyali byatuukawo eri baganda baabwe okuva mu biseera Zeniffu lwe yava mu nsi eyo n’okutuukira ddala mu kiseera ekyo ye kennyini lwe yava mu nsi.
3 Era n’abadiramu ebigambo bya kabaka Benyamini ebyali bisembayo bye yali abayigirizza, era n’abinnyonnyola abantu ba kabaka Limuki, balyoke basobole okutegeera ebigambo byonna bye yayogera.
4 Era olwatuuka oluvannyuma lw’okukola bino byonna, nti kabaka Limuki yasiibula enkuyanja y’abantu, era n’alagira buli omu okuddayo mu nnyumba ye.
5 Era olwatuuka n’alagira embaati ezaaliko ekiwandiiko ky’abantu be okuva mu kiseera lwe baava mu nsi y’e Zalakemula, zireetebwe mu maaso ga Amoni, asobole okuzisoma.
6 Kati, amangu ddala nga Amoni amaze okusoma ekiwandiiko, kabaka yamubuuza amanye oba yali asobola okuvvunula ennimi, era Amoni n’amugamba nti tasobola.
7 Era kabaka n’amugamba nti: Nnennyamidde olw’okubonaabona kw’abantu bange, nnalagira nti abantu bange amakumi ana mu basatu boolekere olugendo mu lukoola, mu ngeri eyo basobole okusanga ensi ya Zalakemula, tusobole okusaba baganda baffe okutununula okuva mu buddu.
8 Era ne babulira mu lukoola okumala ebbanga ery’ennaku ennyingi, naye nga ate baali banyiikivu, era ne batazuula nsi ya Zalakemula wabula ne bakomawo mu nsi eno, nga baali batambudde mu nsi ey’amazzi amangi, nga bazudde ensi eyali ejjudde amagumba g’abantu, era n’ensolo, era nga ejjudde ebifulukwa by’ebizimbe ebyayonooneka edda ebya buli kika, nga baali bazudde ensi eyalimu abantu abaali abangi ng’eggye lya Isiraeri.
9 Era olw’obujulizi nti ebintu bye baali boogedde bituufu, baleese embaati abiri mu nnya ezijjudde ebyoole, era nga za zaabu omulongoofu.
10 Era laba, bwe batyo, baleese ebyambalwa mu bifuba, ebinene, era nga bya kikomo era n’ekyuma ekya lwera, era nga biri mu mbeera nnungi.
11 Era nate, baleese ebitala, ebikono byabyo byonoonese, era n’ebyambe nga byonooneddwa obutalavvu; era tewali muntu yenna mu nsi asobola kuvvunula lulimi oba ebyo ebyoole ebiri ku mbaati. N’olwekyo nkugambye nti: Tosobola kuvvunula?
12 Era nziramu okukugamba nti: Omanyi omuntu yenna asobola okuvvunula? Kubanga njagala nnyo ebiwandiiko bino okuvvunulwa mu lulimi lwaffe; kubanga, osanga, bijja kutuwa okumanya ku baafikkawo ku bantu abazikirizibwa, eyo ebiwandiiko bino gye byava; oba, mpozzi, bijja kutuwa okumanya ku bantu bano bennyini abazikirizibwa; era njagala nnyo okumanya ekyavaako okuzikirizibwa kwabwe.
13 Kati Amoni yamugamba nti: N’obukakafu nsobola okukubuulira, Ayi kabaka, ku musajja asobola okuvvunula ebiwandiiko; kubanga alina w’asobola okutunula, era navvuunula ebiwandiiko byonna eby’omubiseera eby’edda; era kirabo okuva eri Katonda. Era ebintu biyitibwa bivvuunuzi, era tewali muntu ayinza kubitunulamu okuggyako ng’alagiddwa, sikulwa ng’anoonya by’atasaanidde era naasanawo. Era oyo yenna alagirwa okubitunulamu, y’omu ayitibwa omulabi.
14 Era laba, kabaka w’abantu abali mu nsi ya Zalakemula, ye muntu alagiddwa okukola ebintu bino, era yalina ekirabo kino eky’ekika ekya waggulu okuva eri Katonda.
15 Era kabaka n’agamba nti omulabi asingira ddala nnabbi.
16 Era Amoni nagamba nti omulabi ye mubikkulirwa era nnabbi naye bw’atyo; era ekirabo ekisinga obukulu omuntu ky’atayinza kuba nakyo, okuggyako nga alina okuba n’amaanyi ga Katonda, omuntu yenna ky’atasobola; so nga omuntu asobola okuba n’amaanyi amangi nga gamuweebwa okuva eri Katonda.
17 Naye omulabi asobola okumanya ebintu ebiyise, era n’ebintu ebigenda okujja, era olw’ebyo ebintu byonna binaabikkulwa, oba, katugambe, ebintu eby’ekyama bijja kulabisibwa, era ne ebintu ebikwekeddwa birijja mu kitangaala, era n’ebintu ebitamanyikiddwa birimanyisibwa ebyo, era n’ebintu binaamanyisibwa ebyo ob’oly’awo ebitandisobose kumanyibwa.
18 Bw’atyo Katonda awadde engeri omuntu, okuyitira mu kukkiriza, asobole okukola ebyamagero eby’amaanyi; n’olwekyo afuuka ow’omugaso ogw’amaanyi eri ebitonde ebinne.
19 Era kaakano, Amoni bwe yali amaze okwogera ebigambo bino kabaka n’asanyuka byansusso, era ne yeebaza Katonda, nga agamba nti: Awatali kubuusabuusa ekyama ekinene kikuumiddwa mu mbaati zino, era n’ebivvunuzi bino awatali kubuusabuusa byali beetegekeddwa olw’ekigendererwa eky’okubikkula ebyama byonna ng’ebyo eri abaana b’abantu.
20 Abange nga gya kitalo emirimu gya Mukama, era amala bbanga ki ng’agumiikiriza abantu be; weewaawo, era nga okutegeera kw’abaana b’abantu kwa buzibe era okuziyiziddwa; kubanga tebalinoonya magezi, wadde okuyaayaana abafuge!
21 Weewaawo, balinga ekisibo eky’omu nsiko ekidduka okuva eri omusumba, era ne kisaasaana, era ne zigobebwa, era ne ziriibwa ensolo ez’omu kibira.