Essuula 13
Abinadi akuumibwa amaanyi ag’obwakatonda; Ayigiriza Amateeka Ekkumi; Obulokozi tebujja lwa tteeka lya Musa lyokka; Katonda yennyini ajja kukola okutangirira n’okununula abantu be. Nga mu mwaka gwa 148 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era kabaka bwe yawulira ebigambo bino, n’agamba bakabona be nti: Ono mumutwale, era mumutte; kubanga tulina kakwate ki naye, kubanga mulalu.
2 Era baayimirira ne bagezaako okumunyweeza; naye n’abagaana, era n’abagamba nti:
3 Temunkwatako, kubanga Katonda wakubakuba bwe munaanteekako emikono gyammwe, kubanga ssinaba kutuusa bubaka Mukama bwe yansindise okutuusa; so sinnababuulira ekyo kye mwansabye okubabuulira; n’olwekyo, Katonda tajja kukkiriza nti nzikirizibwe mu kiseera kino.
4 Naye nnina okutuukiriza ebiragiro Katonda bye yandagidde; era kubanga mbagambye amazima munsunguwalidde. Era nate, kubanga njogedde ekigambo kya Katonda munsalidde omusango nti ndi mulalu.
5 Kaakano olwatuuka Abinadi nga amalirizza okwogera ebigambo ebyo, abantu ba kabaka Nuuwa ne batya okumukwatako, kubanga Omwoyo wa Mukama yali ku ye; era n’amaaso ge nga gaakaayakana nnyo, ddala nga Musa bwe yali ku lusozi Sinaayi, bwe yali nga ayogera ne Mukama.
6 Era n’ayogera n’amaanyi n’obuyinza okuva eri Katonda; era n’agenda mu maaso n’ebigambo bye ng’agamba nti:
7 Mulaba nti temulina buyinza kunzita, n’olwekyo mmaliriza obubaka bwange. Weewaawo, era ntegedde nti kibakutula emitima gyammwe kubanga mbabuulira amazima agakwata ku bibi byammwe.
8 Weewaawo, era n’ebigambo byange bibajjuza okwewuunya era n’okuwunikirira, era wamu n’obusungu.
9 Naye mmaliriza obubaka bwange; era olwo si kikulu wa gye ηηenda, singa kiba nti ndokoleddwa.
10 Naye bino byonna mbagamba, nze bye munakola, oluvannyuma lwa kino, bijja kuba ng’ekyokulabirako n’ekisiikirize eky’ebintu ebigenda okujja.
11 Era kaakano mbasomera ebiragiro bya Katonda ebisigaddeyo, kubanga kindabikira nti tebiwandiikiddwa mu mitima gyammwe; kindabikira nti ekitundu ekisinga obunene eky’obulamu bwammwe musomye ku era ne muyigiriza okukola ebyonoono.
12 Era kaakano, mujjukira nti nnabagambye nti: Temwekoleranga ekifaananyi kyonna ekyole, oba ekyefaananyiriza eky’ebintu byonna byonna ebiri mu ggulu waggulu, oba ebiri wansi ku ttaka, oba ebiri mu mazzi agali wansi w’ettaka.
13 Era nate: Tobivuunamiranga, wadde okubiweerezanga; kubanga nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya, nkangavvula abaana olw’ebibi bya bajjajja baabwe, okutuusa ku mirembe egy’oku bannakasatwe ne ku nnakanna egy’abo abankyawa;
14 Era alaga ekisa eri enkumi n’enkumi z’abo abanjagala era abakuuma ebiragiro byange.
15 Tolayiriranga mu linnya lya Mukama Katonda wo mu by’obutaliimu nsa; kubanga Mukama talimwegyereza alayirira mu linnya lye mu by’obutaliimu nsa.
16 Jjukira olunaku lwa ssabbiiti, okulukuuma nga lutukuvu.
17 Onookolanga ennaku mukaaga, era n’okola emirimu gyo gyonna;
18 Naye olunaku olw’omusanvu, ssabbiiti ya Mukama Katonda wo, tookole mulimu gwonna, ggwe, newakubadde mutabani wo, newakubadde muwala wo, newakubadde omuweereza wo, newakubadde omuzaana wo, newakubadde ebisolo byo, newakubadde munnaggwanga ali omumwo;
19 Kubanga mu nnaku omukaaga Mukama mwe yakolera eggulu n’ensi, era n’ennyanja, era n’ebyo byonna ebirimu; n’olwekyo Mukama yawa omukisa olunaku lwa ssabbiiti, era n’alutukuza.
20 Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa; nti ennaku zo zibe nnyingi ku nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa.
21 Tottanga.
22 Toyendanga. Tobbanga.
23 Towanga bujulirwa bwa bulimba ku muntu munno.
24 Teweegombanga ennyumba ya muntu munno, teweegombanga mukazi wa muntu munno, newakubadde omuweereza we, newakubadde omuzaana we, newakubadde ente ye, newakubadde endogoyi ye, newakubadde buli kintu ekya muntu munno.
25 Era olwatuuka oluvannyuma Abinadi nga afundikidde ebigambo bino n’abagamba nti: Mwayigiriza abantu bano nti bakakasenga okukola ebintu bino byonna okusobola okukuuma ebiragiro bino?
26 Mbagamba nti Nedda; kubanga singa mwakikola, Mukama teyalindagidde kuvaayo mpe obunnabbi obubi obwekuusa ku bantu bano.
27 Era kaakano mugambye nti obulokozi bujja ku lwa tteeka lya Musa. Mbagamba nti kiŋŋwanidde mmwe okukuuma etteeka lya Musa mu kiseera kino; naye mbagamba, nti ekiseera kijja kujja nga tekikyagwanira n’akatono okukuuma etteeka lya Musa.
28 Era nate, mbagamba, nti obulokozi tebujja lwa tteeka lyokka; era singa si lwa mutango, ogwo Katonda ye kennyini gw’anakola olw’ebibi n’obwonoonefu bw’abantu be, nti balina okuzikirizibwa awatali ku kyewala, wadde ng’etteeka lya Musa weriri.
29 Era kaakano mbagamba nti kyali kiŋŋwanidde okubaawo etteeka eriweebwa abaana ba Isiraeri, weewaawo, ddala etteeka ekkakali ennyo; kubanga baali bantu abaalina ensingo enkakanyavu, abaanguwa okukola obubi, era abalwawo okujjukira Mukama Katonda waabwe;
30 N’olwekyo waaliwo etteeka eryabaweebwa, weewaawo, etteeka ery’ebikolebwa era n’ery’emikolo, etteeka lye baalina okukuuma obutiribiri buli lunaku, okubakuumira mu kujjukira Katonda n’obuvunanyizibwa bwabwe gy’ali.
31 Naye laba, mbagamba, nti ebyo byonna byaali ebyokulabirako eby’ebintu ebigenda okujja.
32 Era kaakano, baategeera etteeka? Mbagamba nti, Nedda, bonna tebaategeera tteeka; era kino olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe; kubanga tebaategeera nti tewali muntu yenna ayinza kulokolebwa okuggyako ng’ayitira mu kununulibwa kwa Katonda.
33 Kubanga laba, Musa teyabawa obunnabbi ku bikwata ku kujja kwa Masiya, era nti Katonda wakununula abantu be? Weewaawo, era ddala ne bannabbi bonna abawadde obunnabbi okuva ensi lwe yatandika; teboogedde kisinga oba kitono ku bintu bino?
34 Teboogedde nti Katonda ye kennyini ajja kukka mu baana b’abantu, era ayambale ekifaananyi ky’omuntu, era agye mu maanyi ag’ekitalo ku nsi?
35 Weewaawo, era tebagambye nti ajja kuleeta okuzuukira okw’abafu, era nti ye, yennyini, alijoogebwa era n’okubonyaabonyezebwa?