Scriptures
Mosiya 11


Essuula 11

Kabaka Nuuwa afuga mu bwonoonefu; Asanyukira obulamu obw’ebinyumu ne bakazi be n’abazaana be; Abinadi awa obunnabbi nti abantu bajja kutwalibwa mu buddu; Obulamu bwe bugezebwako okuggibwawo kabaka Nuuwa. Nga mu mwaka gwa 160–150 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Era kaakano olwatuuka Zeniffu n’awaayo obwakabaka eri Nuuwa, omu ku batabani be; n’olwekyo Nuuwa n’atandika okufuga mu kifo kye; era teyatambulira mu mukululo gwa kitaawe.

2 Kubanga laba, teyakwata biragiro bya Katonda, naye yatambulira ku kwegomba kw’omutima gwe. Era yalina abakazi n’abazaana bangi. Era yaleetera abantu be okukola ekibi, era n’okukola ebyo ebyali bizira mu maaso ga Mukama. Weewaawo, era baakola obwenzi n’obubi obw’engeri zonna.

3 N’assaawo omusolo ogw’ekimu eky’okutaano ku byonna bye baalina, ekitundu eky’okutaano ekya zaabu waabwe era ne ffeeza waabwe, era n’ekitundu eky’okutaano ekya ziffu waabwe, era n’ebikomo byabwe ebya lwera, era n’ebikomo byabwe era n’ebyuma byabwe ebya kkalwe; era n’ekitundu eky’okutaano eky’ensolo zaabwe ensava; era n’ekitundu eky’okutaano eky’empeke zaabwe zonna.

4 Era bino byonna n’abitwala okweyimirizaawo, era ne bakazi be era n’abazaana be; era ne bakabona be, era n’abakazi baabwe era n’abazaana baabwe; bw’atyo yali akyusizza ensonga ez’obwakabaka.

5 Kubanga yaggyawo bakabona bonna abaatukuzibwa kitaawe, n’atukuza abaggya mu bifo byabwe, okugeza ng’abo abeekulumbazanga mu mitima gyabwe.

6 Weewaawo, era bwe batyo ne bawagirwa mu bugayaavu bwabwe, era ne mu kusinza ebifaananyi kwabwe, era ne mu bwenzi bwabwe, n’emisolo kabaka Nuuwa gye yali atadde ku bantu be; bwe batyo abantu ne bakola nnyo okuwagira obubi.

7 Weewaawo, era nabo ne bafuuka abasinza ebifaananyi, kubanga baalimbibwa ebigambo ebitaliimu nsa era ebiwaaniriza ebya kabaka ne bakabona; kubanga baayogeranga ebintu ebiwaaniriza gye bali.

8 Era olwatuuka kabaka Nuuwa n’azimba ebizimbe bingi ebirabika obulungi era ebyagaagavu; era n’abiyooyoota n’emiti emirungi, era n’ebintu eby’omuwendo ebya buli ngeri, ebya zaabu, era ne ffeeza, era n’ebyuma ebya kkalwe, era n’ebikomo, era ne ziffu, era n’ebikomo ebya lwera;

9 Era yezimbira olubiri olwagaagavu, era ne nnamulondo wakati mu lwo, nga byonna byali bya mbaawo ennungi era nga biyooyooteddwa ne zaabu ne ffeeza n’ebintu eby’omuwendo.

10 Era n’alagira abakozi be okukola emirimu egy’engeri zonna ennungi munda mu bbugwe wa yeekaalu, egy’emiti emirungi, era n’ebikomo ebya lwera, era n’ebikomo.

11 Era n’entebe ezaaterekebwawo ku lwa bakabona abakulu, ezaali waggulu okusinga entebe endala zonna, yaziyooyoota ne zaabu omulongoofu; era n’alagira bbugwe okuzimbibwa mu maaso ga zo, balyoke bawummulizengako emibiri gyabwe n’emikono gyabwe nga bwe boogera ebigambo eby’obulimba era ebitaliimu nsa eri abantu be.

12 Era olwatuuka n’azimba omunaala okumpi ne yeekaalu; weewaawo, omunaala omugulumivu ennyo, ddala nga mugulumivu nnyo nti yali asobola okuyimirira ku ntikko yagwo n’atunulira ensi ya Siromu, era n’ensi ya Semuloni, eyafugibwanga Abalamani; era yali asobola n’okutunuulira ensi yonna okwetooloola.

13 Era olwatuuka n’alagira ebizimbe bingi bizimbibwe mu nsi Siromu; era yalagira omunaala omunene okuzimbibwa ku lusozi mu bukiika bwa kkono obw’ensi Siromu, ekyali ekifo ky’okuwummuliramu eri abaana ba Neefi mu kiseera we baddukira okuva mu nsi; era bw’atyo bwe yakola n’eby’obugagga bye yafuna olw’okusolooza omusolo mu bantu be.

14 Era olwatuuka y’ateeka omutima gwe ku by’obugagga bwe, era n’amala ebiseera bye mu bulamu obw’ebinyumu ne bakazi be era n’abazaana be; era ne bakabona be baamala ebiseera byabwe n’abenzi.

15 Era olwatuuka n’assaawo ennimiro z’emizabbibu okwetooloola ensi; era n’azimba amassogolero g’omwenge, era n’akola omwenge mu bungi; era n’olwekyo n’afuuka lujuuju, era nate n’abantu be.

16 Era olwatuuka Abalamani ne batandika obulumbaganyi ku bantu be, eri abaali nga emiwendo gyabwe mitono, era n’okubattira mu nnimiro zaabwe, era bwe baali nga balunda ebisibo byabwe.

17 Era kabaka Nuuwa n’aweereza abakuumi okwetooloola ensi okubaziyiza; naye teyasindika muwendo gumala, era Abalamani ne babatuukako ne babatta, ne bagoba ebisibo byabwe bingi okuva mu nsi; bwe batyo Abalamani ne batandika okubazikiriza, era n’okukozesa obukyayi bwabwe eri bo.

18 Era olwatuuka kabaka Nuuwa n’asindika eggye lye okubalumba, era ne bagobebwa okudda emabega, oba ne babagoba okubazzayo okumala ekiseera; n’olwekyo, ne baddayo nga basanyufu olw’omunyago gwabwe.

19 Era kaakano, olw’obuwanguzi buno obw’amaanyi beekulumbaza mu mitima gyabwe; beewaanira mu maanyi gaabwe, nga bagamba nti amakumi ataano gaabwe gasobodde okuyimirira okulwanyisa enkumi n’enkumi z’Abalamani; era bwe batyo ne beewaana, era ne basanyukira omusaayi, era n’okuyiwa omusaayi gwa baganda baabwe, era nti kino olw’obubi bwa kabaka waabwe ne bakabona.

20 Era olwatuuka mu bo mwalimu omusajja erinnya lye Abinadi; era n’agenda mu bo, era n’atandika okuwa obunnabbi, ng’agamba nti: Laba, bw’atyo bw’ayogera Mukama, era bw’atyo bw’andagidde, ng’agamba nti, Genda, ogambe abantu bano, bw’atyo bw’ayogera Mukama; zisanze abantu bano, kubanga ndabye ebivve byabwe, era n’obubi bwabwe, era n’obwenzi bwabwe; era okuggyako nga benenyezza naabakyalira mu busungu bwange.

21 Era okuggyako nga beenenyeza ne bakyuka okudda eri Mukama Katonda waabwe, laba, ndibawaayo mu mikono gy’abalabe baabwe; weewaawo, era balireetebwa mu buddu; era balibonyaabonyezebwa omukono gw’abalabe baabwe.

22 Era kirituukirira banategeera nti nze Mukama Katonda waabwe, era ndi Katonda wa buggya, nga nkangavvula abantu bange olw’ebibi.

23 Era kirituukirira okuggyako nga abantu bano beenenyeza ne bakyuka okudda eri Mukama Katonda waabwe, bajja kuleetebwa mu buddu; era tewali alibawonya, okuggyako nga Mukama Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.

24 Weewaawo, era kirituukirira nti bwe balinkaabirira nja kulwawo okuwulira okukaaba kwabwe; weewaawo, era ndikkiriza bakubibwe abalabe baabwe.

25 Era okuggyako nga beenenyeza nga bambadde ebibukutu n’evvu, era n’okuwanjagira ennyo Mukama Katonda waabwe, sijja kuwulira kusaba kwabwe, wadde okubawonya mu kubonaabona kwabwe; era bw’atyo bw’ayogera Mukama, era bw’atyo bw’andagidde.

26 Kaakano olwatuuka Abinadi nga amalirizza okwogera ebigambo bino ne bamusunguwalira, ne bagezaako okuggyawo obulamu bwe; naye Mukama n’amuwonya okuva mu mikono gyabwe.

27 Kaakano kabaka Nuuwa bwe yawulira ebigambo Abinadi bye yayogera eri abantu, naye nate n’asunguwala; era n’agamba nti: Abinadi y’ani, nti nze n’abantu bange tulina okusalirwa ye omusango, oba y’ani Mukama, oyo alireeta okubonaabona okw’amaanyi bwe kutyo ku bantu bange?

28 Mbalagira okuleeta Abinadi wano, ndyoke mmutte, kubanga ayogedde ebigambo bino alyoke asiikuule abantu bange okusunguwala buli omu ne munne, era n’okuleetawo enkaayana mu bantu bange; n’olwekyo nja ku mutta.

29 Kaakano amaaso g’abantu gaali mazibe; n’olwekyo bakakanyaza emitima gyabwe eri ebigambo bya Abinadi, era ne bafuba okuva mu kiseera ekyo okumukwata. Era kabaka Nuuwa n’akakanyaza omutima gwe eri ekigambo kya Mukama, era teyenenya ebikolwa bye ebibi.