Essuula 21
Abantu ba Limuki bakubwa era ne bawangulwa Abalamani; Abantu ba Limuki basisinkana Amoni era ne bakyuka; Babuulira Amoni ku mbaati z’Abayaledi amakumi abiri mu nnya. Nga mu mwaka gwa 122–121 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era olwatuuka Limuki n’abantu be ne baddayo mu kibuga ekya Neefi, ne batandika okubeera mu nsi nate mu mirembe.
2 Era olwatuuka oluvannyuma lw’ennaku ennyingi Abalamani baatandika nate okusiikuulwa mu busungu eri Abaneefi, ne batandika okujja ku nsalo z’ensi okugyetooloola.
3 Kaakano tebeetaantala kubatta, kubanga olw’ekirayiro kabaka waabwe kye yali akoze eri Limuki; naye nga babakuba ku matama, era ne babafuga; era ne batandika okubattikka emigugu emizito ku migongo gyabwe, n’okubagoba ng’endogoyi esirifu;
4 Weewaawo, bino byonna byakolebwa ekigambo kya Mukama kiryoke kituukirire.
5 Era kaakano okubonaabona kw’Abaneefi kwali kunene, era tewaali ngeri yonna gye baali bayinza kwenunula okuva mu mikono gyabwe, kubanga Abalamani baali babeetoolodde ku njuyi zonna.
6 Era olwatuuka abantu ne batandika okwemulugunyiza kabaka olw’ebibonoobono byabwe; ne batandika okwagala okugenda okubalwanyisa mu lutalo. Era baabonyaabonya nnyo kabaka n’okwemulugunya kwabwe; n’olwekyo yabakkiriza okukola nga bwe baagala.
7 Era ne bakuŋŋaana nate, era bayambala ebyambalo byabwe eby’olutalo, era ne bagenda okulwanyisa Abalamani okubagoba mu nsi yaabwe.
8 Era olwatuuka Abalamani ne babakuba, era ne babagoba okudda emabega, era batta bangi ku bo.
9 Era kaakano waaliwo okukungubaga era n’okukuba ebiwoobe okw’amaanyi mu bantu ba Limuki, nnamwandu ng’akungubagira omusajja we, omwana omulenzi n’omuwala nga bakungubagira kitaabwe, era n’ab’oluganda olw’abaganda baabwe.
10 Kaakano waaliwo bannamwandu bangi nnyo mu nsi, era nga bakaaba nnyo buli lunaku, kubanga entiisa ennene ey’Abalamani yali ebatuuseeko.
11 Era olwatuuka emiranga gyabwe egitatadde ne gisiikuula abantu ba Limuki abaali basigaddewo okusunguwalira Abalamani; era ne bagenda nate mu lutalo, naye ne bagobebwa nate, nga baafiirwa nnyo.
12 Weewaawo, baagenda nate omulundi ogw’okusatu, ne babonaabona mu ngeri y’emu; era abo abatattibwa ne bakomawo nate mu kibuga eky’e Neefi.
13 Era beetoowaliza ddala okukkakkana mu nfuufu, ne beewaayo wansi w’ekikoligo eky’obuddu, ne bagondera okukubwa, era n’okugobwa okudda eno n’eri, n’okutikkibwa emigugu, okusinziira ku kwagala kw’abalabe baabwe nga bwe kwali.
14 Era ne beetoowaliza ddala mu bwetoowaze obunnyikidde; era ne bawanjagira Katonda n’amaanyi; weewaawo, ddala olunaku lwonna baakaabira Katonda waabwe nti abawonye okuva mu kubonaabona kwabwe.
15 Era kaakano Mukama yalwawo okuwulira omulanga gwabwe olw’obubi bwabwe; wabula era Mukama yawulira emiranga gyabwe, era n’atandika okugonza emitima gy’Abalamani ne batandika okuwewula emigugu gyabwe; naye Mukama yalaba nga tekyali kituufu okubanunula mu buddu.
16 Era olwatuuka ne batandika okukulaakulana mu mitendera mu nsi, era ne batandika okubaza emmere ey’empeke mu bungi, era n’ebisibo, era n’amagana, olwo ne batabonaabona na njala.
17 Kaakano abakazi baali bangi nnyo, okusinga abasajja; n’olwekyo kabaka Limuki n’alagira buli musajja okugaba nga bayamba bannamwandu n’abaana baabwe, olwo baleme okuzikirira olw’enjala; era kino baakikola olw’obungi bw’omuwendo gwabwe ogwattibwa.
18 Kaakano abantu ba Limuki beekuumiranga wamu mu kibinja nga bwe kyali kisoboka, era ne bakuuma emmere yaabwe n’ebisibo byabwe;
19 Era kabaka yennyini teyaddamu kwesiga kya kubeera wabweru wa bbugwe w’ekibuga, okuggyako nga agenze n’abakuumi be, ng’atya nti mu ngeri emu oba endala ayinza okugwa mu mikono gy’Abalamani.
20 Era yalagira abantu be okuketta ensi okwetooloola, nti mu ngeri emu banditwala bakabona abo abaddukira mu lukoola, abaali babbye bawala b’Abalamani, era abaali bavuddeko okuzikirizibwa okunene bwe kutyo okwabatuukako.
21 Kubanga baali beetaaga okubakwata balyoke bababonereze; kubanga baali bazze mu nsi ya Neefi ekiro, ne basitula emmere yaabwe ey’empeke n’ebintu byabwe bingi eby’omuwendo; kyebaava babalindirira.
22 Era olwatuuka tewaaliwo kutabanguka nate wakati w’Abalamani n’abantu ba Limuki, ddala okutuusa ekiseera Amoni ne baganda be lwe bajja mu nsi.
23 Era kabaka olw’okubeera ebweru w’emiryango gy’ekibuga n’abakuumi be, yazuula Amoni ne baganda be; era olw’okulowooza nti baali bakabona ba Nuuwa kyeyava alagira batwalibwe, era basibibwe, era basuulibwe mu kkomera. Era singa baali bakabona ba Nuuwa yandiragidde battibwe.
24 Naye bwe yakizuula nti si kye baali, wabula nti baganda be, era nga bavudde mu nsi y’e Zalakemula, n’ajjula essanyu ery’ensusso.
25 Kaakano kabaka Limuki yali atumye, nga Amoni tannajja, abasajja abatono mu muwendo okunoonya ensi y’e Zalakemula; naye ne batasobola kugizuula, era ne babulira mu lukoola.
26 Wabula, baasanga ensi eyabeerangamu abantu; weewaawo, ensi eyali ejjudde amagumba amakalu; weewaawo, ensi eyabeerangamu abantu era abazikirizibwa; era bo, olw’okulowooza nti ye yali ensi y’e Zalakemula, baakomawo mu nsi ya Neefi, bwe baatuuka bati mu nsalo z’ensi tewayita nnaku nnyingi ne Amoni n’ajja.
27 Era baaleeta ekiwandiiko, ddala ekiwandiiko ky’abantu ba nnyini magumba ge basanga; era nga kyayolwa ku mbaati ez’amayinja.
28 Era kaakano Limuki nate yabugaana essanyu olw’okutegeera okuva mu kamwa ka Amoni nti kabaka Mosiya yalina ekirabo okuva eri Katonda, ekimusobozesa okuvvunula ebyole ng’ebyo; weewaawo, era Amoni naye n’asanyuka.
29 Naye ate nga Amoni ne baganda be bajjudde ennaku kubanga baganda baabwe bangi nnyo baali battiddwa;
30 Era nate nti kabaka Nuuwa ne bakabona be baali baviiriddeko abantu okukola ebibi n’obutali butuukirivu bungi nnyo eri Katonda; era nate ne bakungubaga olw’okufa kwa Abinadi; era n’olw’okugenda kwa Aluma era n’abantu abaagenda naye, abaali bakoze ekkanisa ya Katonda okuyita mu busobozi era n’amaanyi ga Katonda, era n’okukkiriza ebigambo ebyayogerwa Abinadi.
31 Weewaawo, baakungubaga olw’okugenda kwabwe, kubanga tebaamanya wa gye baali baddukidde. Kaakano bandibadde batabagana nabo n’essanyu, kubanga bo bennyini baali balagaanye endagaano ne Katonda okumuweereza n’okukuuma ebiragiro bye.
32 Era kaakano okuva ku kujja kwa Amoni, kabaka Limuki yali naye alagaanye endagaano ne Katonda, era nate n’abantu be bangi, okumuweereza n’okukuuma ebiragiro bye.
33 Era olwatuuka kabaka Limuki n’abantu be bangi baayaayaana okubatizibwa; naye tewaaliwo n’omu mu nsi yalina buyinza okuva eri Katonda. Era Amoni n’agaana okukola ekintu kino, nga yeetwala ng’omuweereza atasaanidde.
34 N’olwekyo mu kiseera ekyo tebeegatta bonna ng’ekkanisa, nga balindirira Omwoyo wa Mukama. Kaakano baali begwanyiza okufuuka nga Aluma ne baganda be, abaali baddukidde mu lukoola.
35 Baali begwanyiza okubatizibwa ng’obujulirwa era obujulizi nti beetegefu okuweereza Katonda n’emitima gyabwe gyonna; wabula baawanvuya ekiseera; era enyinnyonnyolwa ey’okubatizibwa kwabwe ejja kuweebwa mu kiseera ekijja.
36 Era kaakano kaweefube yenna owa Amoni era n’abantu be, era ne kabaka Limuki era n’abantu be, kwali kwenunula okuva mu mikono gy’Abalamani era ne mu buddu.