Essuula 10
Kabaka Lamani afa; Abantu be bafuuka ng’ensolo era abakambwe abakkiririza mu nnono ez’obulimba; Zeniffu n’abantu be bawangula Abalamani. Nga mu mwaka gwa 187–160 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era olwatuuka ne tutandika nate okuteekawo obwakabaka era ne tutandika nate okutwala ensi mu mirembe. Era nnalagira wabeerewo ebyokulwanyisa eby’omu lutalo ebya buli ngeri bikolebwe, olwo nsobole okuba n’ebyokulwanyisa eby’okuwa abantu bange okulwanyisa mu kiseera Abalamani lwe bayinza okujja nate okulwana n’abantu bange.
2 Era nnassaawo abakuumi okwetooloola ensi, Abalamani baleme okutugwako nate nga tetumanyi era batuzikirize; era bwe ntyo nnakuuma abantu bange n’ebisibo byange, era ne mbakuuma obutagwa mu mikono gy’abalabe baffe.
3 Era olwatuuka ne tusikira ensi ya bajjajjaffe okumala emyaka mingi, weewaawo, okumala emyaka amakumi abiri mu ebiri.
4 Era nnalagira abasajja okukabala ettaka, ne bakuza emmere ey’empeke eya buli ngeri era n’ekibala ekya buli ngeri.
5 Era nnalagira abakazi okulanga wuzi, era n’okuluusana, era n’okukakalukana, era n’okukola bafuta ennungi eza buli ngeri, weewaawo, n’engoye eza buli ngeri, tulyoke twambaze obwereere bwaffe; era bwe tutyo twakulaakulana mu nsi; bwe tutyo ne tufuna emirembe egitatadde mu nsi okumala ebbanga ery’emyaka amakumi abiri mu ebiri.
6 Era olwatuuka kabaka Lamani n’afa, era omwana we n’atandika okufuga mu kifo kye. Era n’atandika okusiikuula abantu be okujeemera abantu bange; kyebaava batandika okwetegekera olutalo, n’okwambuka okulwana n’abantu bange.
7 Naye nnali nsindise abakessi bange okwetooloola ensi ya Semuloni, ndyoke ntegeere enteekateeka zaabwe, nsobole okubeerinda, nti baleme okujja eri abantu bange era babazikirize.
8 Era olwatuuka ne bajja mu bukiika obwa kkono obw’ensi ya Siromu, n’amagye gaabwe amangi, abasajja abaali bakutte emitego, era n’obusaale, era n’ebitala, era n’ebijambiya, era n’amayinja, era n’envumuulo; era nga bamwedde emitwe nga baali bwereere; era nga beesibye obukete bw’amaliba mu biwato byabwe.
9 Era olwatuuka nnalagira abakazi era n’abaana b’abantu bange okukwekebwa mu lukoola; era nate nnalagira abasajja bange bonna abakadde abaali basobola okukozesa eby’okulwanyisa, era n’abavubuka bange bonna abaali basobola okukozesa ebyokulwanyisa, beekuŋŋaanye wamu okugenda okulwanagana n’Abalamani; era nnabateekateeka mu mitendera gyabwe, buli muntu okusinziira ku myaka gye.
10 Era olwatuuka ne twambuka okulwanagana n’Abalamani; era nze, ddala nze, mu bukadde bwange, nnagenda okulwanagana n’Abalamani. Era olwatuuka ne twambuka mu maanyi ga Mukama okulwana.
11 Kaakano, Abalamani baali tebamanyi kintu kyonna kyekuusa ku Mukama, wadde amaanyi ga Mukama, n’olwekyo baali beesigamye ku maanyi gaabwe. Naye nga baali bantu ba maanyi, ŋŋamba amaanyi g’abantu.
12 Baali bantu abaafuuka ng’ensolo era abakambwe, era nga bannyonta ya musaayi, nga bakkiririza mu nnono ya bajjajjaabwe, nga y’eno; Nga bakkiriza nti baagobebwa mu nsi ya Yerusaalemi olw’obubi bwa bajjajjaabwe, era nti bayisibwa bubi baganda baabwe mu lukoola, era ne bayisibwa bubi bwe baali nga basomoka ennyanja;
13 Era nate, nti bayisibwa bubi bwe baali mu nsi ey’obusika bwabwe obw’olubereberye, nga bamaze okusomoka ennyanja, era ne bino byonna kubanga Neefi yali mwesigwa nnyo mu kukuuma ebiragiro bya Mukama; n’olwekyo yasiimibwa Mukama, kubanga Mukama yawulira essaala ze n’aziddamu, era n’akulembera olugendo lwabwe mu lukoola.
14 Era baganda be baamusunguwalira kubanga tebaategeera nkola za Mukama; bamusunguwalira nate ku mazzi kubanga bakakanyaza emitima gyabwe eri Mukama.
15 Era nate, baamusunguwalira bwe baali batuuse mu nsi ensuubize, kubanga baagamba nti yaggya obufuzi bw’abantu mu mikono gyabwe; era ne bagezaako okumutta.
16 Era nate, baamusunguwalira kubanga yagenda mu lukoola nga Mukama bwe yali amulagidde, era n’atwala ebiwandiiko ebyayolebwa ku mbaati ez’ekikomo, kubanga baagamba nti yabanyaga.
17 Era bwe batyo bayigirizza abaana baabwe nti babakyawe, era nti babatemule, era nti bababbe n’okubanyaga, era bakole byonna bye basobola okubazikiriza; n’olwekyo balina obukyayi obw’olubeerera eri abaana ba Neefi.
18 Olw’ensonga eno yennyini kabaka Lamani, olw’obukujjukujju bwe, era n’obukodyo bwe mu kulimba, n’ebisuubizo bye ebisikiriza, yambuzaabuza, nti ntuusizza abantu bange bano mu nsi eno, balyoke babazikirize; weewaawo, era tubonyebonye emyaka gino emingi mu nsi.
19 Era kaakano nze, Zeniffu, oluvannyuma lw’okubuulira abantu bange ebintu bino byonna ebyekuusa ku Balamani, ne bakunga okugenda mu lutalo n’amaanyi gaabwe, nga bateeka obwesige bwabwe mu Mukama; n’olwekyo, twayomba nabo, maaso ku maaso.
20 Era olwatuuka ne tubagoba nate okuva mu nsi yaffe; era ne tubatta mu nzita ey’amaanyi, ddala abangi ennyo nti tetwababala.
21 Era olwatuuka ne tuddayo nate mu nsi yaffe, era abantu bange ne batandika nate okulunda ebisibo byabwe, n’okulima ebibanja byabwe.
22 Era kaakano nze, olw’okubeera omukadde, n’awaayo obwakabaka eri omu ku batabani bange; n’olwekyo, ebyange bikomye wano. Era Mukama awe abantu bange omukisa. Amiina.