Essuula 16
Katonda anunula abantu okuva mu mbeera yaabwe ey’okubula n’okugwa; Abo abali mu bw’omubiri basigala nga awataaliwo kununulibwa; Kristo atuukiriza okuzuukira okutuusa ku bulamu obutaggwaawo oba okukolimirwa okw’olubeerera. Nga mu mwaka gwa 148 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era kaakano, olwatuuka oluvannyuma Abinadi ng’amaze okwogera ebigambo bino n’agolola omukono gwe n’agamba nti: Ekiseera kirituuka bonna lwe baliraba obulokozi bwa Mukama; nga buli ggwanga, ekika, olulimi, n’abantu balirabagana maaso ku maaso era balyatula mu maaso ga Katonda nti ennamula ze za bwenkanya.
2 Era ababi baligoberwa wabweru, era baliba n’ensonga okubaaluuka, era n’okukaaba, era n’okukuba ebiwoobe, era n’okuluma obugigi; era kino kubanga tebaawuliriza ddoboozi lya Mukama; n’olwekyo Mukama tabanunula.
3 Kubanga ba bya mubiri era ab’ebyasetaani, era setaani alina obuyinza ku bo; weewaawo, ddala omusota ogwo ogw’edda ogwakema bazadde baffe abaasooka, ogwavaako okugwa kwabwe; ekyaviirako abantu bonna okufuuka ab’ebyomubiri, abeegombi, ab’ebysetaani, abamanyi ekibi okuva ku kirungi, nga bewaayo okufugibwa setaani.
4 Bwe batyo abantu bonna ne babula; era laba, bandibulidde ddala lubeerera singa teyali Katonda eyanunula abantu be okuva mu mbeera yaabwe ey’okubula n’okugwa.
5 Naye jjukira nti oyo alemera mu mbeera ye ey’ebyomubiri, era n’agenda mu maaso mu makubo g’ekibi era n’okujeemera Katonda, asigala mu mbeera ey’okwonoona era setaani naye alina obuyinza bwonna ku ye. N’olwekyo nga alinga nti tewaaliwo kununulibwa kwakolebwa, nga mulabe wa Katonda; era nga ne setaani naye mulabe wa Katonda.
6 Era kaakano singa Kristo teyajja mu nsi, ng’ayogera ku bintu ebijja nga gy’oli nti byali byajja dda, tewandibaddewo kununulibwa.
7 Era singa Kristo teyazuukira okuva mu bafu, oba n’okukutula emiguwa egy’okufa entaana ereme okuba n’obuwanguzi, era nti okufa tekulina kuluma, tewandibaddewo kuzuukira.
8 Naye waliwo okuzuukira, n’olwekyo entaana terina buwanguzi, era obulumi obw’okufa bumiriddwa mu Kristo.
9 Ye kye kitangaala n’obulamu obw’ensi; weewaawo, ekitangaala ekitaliiko kkomo, ekitayinza kuzikizibwa; weewaawo, era nate obulamu obutakoma, nti tewayinza kubaawo kufa kwonna.
10 Ddala omuntu ono afa alyambala obutafa, era n’obuvundu bulyambala obutavunda, era bajja kuleetebwa mu maaso g’emmeeza ya Katonda, okulamulwa ye okusinziira ku bikolwa byabwe oba biba nga birungi oba biba nga bibi;
11 Bwe biba nga birungi, boolekezebwe eri okuzuukira okw’obulamu n’essanyu ebitaggwaawo; era bwe biba nga bibi, boolekezebwe eri okuzuukira okw’okukolimirwa okutaggwaawo, nga baweereddwayo eri setaani, oyo abasaliddewo, ng’ekyo kwe kukomezebwa;
12 Nga bagoberera ebigendererwa era n’okwegomba kwabwe okw’omubiri; era nga tebakoowolanga Mukama ng’emikono egy’ekisa gyali gikyagoloddwa gye bali, kubanga emikono egy’ekisa gya gololwa gye bali, era ne batayinza; bo nga baali balabuddwa ku bubi bwabwe ne batayinza kubireka; era baalagirwa okwenenya ate era nebatayinza wadde okwenenya.
13 Era kaakano, tekisaanidde mmwe okukankana era ne mwenenya ebibi byammwe, era ne mujjukira nti mu ye yekka era n’okuyitira mu Kristo musobola okulokolebwa?
14 N’olwekyo, singa muyigiriza etteeka lya Musa, nate muyigirize nti lyo kisiikirize kya bintu ebyo ebigenda okujja;
15 Mubayigirize nti obununuzi bujjira mu Kristo Mukama, nga ye Kitaffe ow’olubeerera yennyini. Amiina.