Scriptures
Mosiya 28


Essuula 28

Batabani ba Mosiya bagenda okubuulira eri Abalamani; Nga akozesa amayinja abiri ag’abalabi, Mosiya avvuunula embaati z’Abayaledi. Nga mu mwaka gwa 92 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Kaakano olwatuuka oluvannyuma batabani ba Mosiya nga bakoze ebintu bino byonna, baatwala omuwendo mutono wamu nabo era ne baddayo eri kitaabwe, kabaka. Era baamusaba abawe olukusa basobole, wamu ne bano be baali balonze, okugenda mu nsi ya Neefi balyoke babuulire ebintu bye baali bawulidde, era nti basobole okumanyisa ekigambo kya Katonda eri baganda babwe, Abalamani.

2 Nti ob’olyawo basobole okubatuusa ku kumanya Mukama Katonda waabwe, era babamatize ku bubi bwa bajjajjaabwe; era nti ob’olyawo basobole okubawonya obukyayi bwabwe eri Abaneefi, nti nabo baleetebwe okusanyukira mu Mukama Katonda waabwe, nti bafuuke ba mukwano buli omu ne munne, era nga tewali nkaayana mu nsi yonna Mukama Katonda waabwe gye yali abawadde.

3 Kaakano baali bayayaana nnyo obulokozi okubuulirwa eri buli kitonde, kubanga baali tebasobola kukigumira omwoyo gw’omuntu yenna okuzikirizibwa; weewaawo, ddala n’okulowooza obulowooza nti omwoyo gwonna gulina okugumira okubonyaabonyezebwa okutaggwaawo kyabaleeteranga okujjugumira era n’okukankana.

4 Era bw’atyo Omwoyo wa Mukama bwe yabakolako, kubanga be baali aboonoonyi abaali basinga obubi ennyo. Era Mukama n’alaba mu kusaasira kwe okutakoma nga asaanidde okubawonya; wabula baalumwa nnyo emmeeme olw’obutali butuukirivu bwabwe, nga babonaabona nnyo era nga batya nti baliboolebwa emirembe gyonna.

5 Era olwatuuka ne beegayirira kitaabwe okumala ennaku nnyingi basobole okwambuka mu nsi ya Neefi.

6 Era kabaka Mosiya n’agenda ne yeebuuza ku Mukama oba aleke batabani be okwambuka mu Balamani okubuulira ekigambo.

7 Era Mukama n’agamba Mosiya nti: Baleke bambuke, kubanga bangi balikkiriza ebigambo byabwe, era baliba n’obulamu obutaggwaawo; era nja kununula batabani bo okuva mu mikono gy’Abalamani.

8 Era olwatuuka Mosiya n’abawa olukusa okugenda bakole okusinziira ku kusaba kwabwe.

9 Era bakwata olugendo lwabwe mu lukoola okwambuka okubuulira ekigambo mu Balamani; era nja kuwa enyinnyonnyolwa y’ebyo bye bazaako oluvannyuma.

10 Kaakano kabaka Mosiya yali talina muntu yenna wakuwa bwakabaka, kubanga tewaaliwo wadde n’omu ku batabani be eyandikkirizza obwakabaka.

11 N’olwekyo yatwala ebiwandiiko ebyali byoleddwa ku mbaati ez’ekikomo, era n’embaati za Neefi, era n’ebintu byonna bye yali aterese era n’okukuuma okusinziira ku biragiro bya Katonda, oluvannyuma lw’okuvvunula n’okulagira okuwandiikibwa kw’ebiwandiiko ebyali ku mbaati eza zaabu ezaali zizuuliddwa abantu ba Limuki, ezaali zimuweereddwa omukono gwa Limuki;

12 Era kino yakikola olw’okweraliikirira okungi ennyo okw’abantu be; kubanga baali bayayaana ekisusse okumanya ebikwata ku bantu abo abaali baazikiriziddwa.

13 Era kaakano yabivvuunula nga yeyambisa amayinja ago abiri agaali gasibiddwa mu migo ebiri egy’olubindi.

14 Kaakano ebintu bino byategekebwa okuva ku ntandikwa, era ne biweebwangayo okuva ku mulembe okudda ku mulala, n’ekigendererwa eky’okuvvunula ennimi;

15 Era byaterekebwa era n’okukuumibwa omukono gwa Mukama, nti amanyise buli kitonde ekirina okusenga ku nsi obubi n’ebivve by’abantu be;

16 Era buli alina ebintu bino ayitibwa mulabi, okusinziira ku nkola ez’ebiseera eby’edda.

17 Kaakano oluvannyuma nga Mosiya amalirizza okuvvunula ebiwandiiko bino, laba, kyawa enyinnyonnyolwa y’abantu abaali basaanyiziddwawo, okuva mu kiseera ekyo lwe baazikirizibwa okudda ku kuzimbibwa kw’omunaala omunene, mu kiseera Mukama we yatabulira olulimi lw’abantu era ne basaasaana ebweru w’eggwanga ku lukalu lw’ensi yonna, weewaawo, era n’okuva mu kiseera ekyo okudda emabega okutuuka ku kukutondebwa kwa Adamu.

18 Kaakano enyinnyonnyolwa eno yaleetera abantu ba Mosiya okukungubaga eby’ensusso, weewaawo, bajjula ennaku; wadde nga kyali kityo kyabawa okumanya okungi, ku lw’ekyo basanyuka.

19 Era enyinnyonnyolwa eno ejja kuwandiikibwa oluvannyuma; kubanga laba, kigwanidde nti abantu bonna bamanye ebintu ebiwandiikiddwa mu nyinnyonnyolwa eno.

20 Era kaakano, nga bwe nnabagambye nti, oluvannyuma nga kabaka Mosiya akoze ebintu bino, yatwala embaati ez’ekikomo, era n’ebintu byonna bye yali aterese, n’abiwa Aluma, eyali mutabani wa Aluma; weewaawo, ebiwandiiko byonna, era n’ebivvunuzi, era n’abimuwa, n’amulagira nti alina okubitereka n’okubikuuma, era n’okutereka ekiwandiiko ky’abantu, ng’abikwasa okuva ku mulembe okudda ku mulala, ddala nga bwe bizze bisigirwa okuva mu kiseera Leki lwe yava e Yerusaalemi.