Scriptures
Mosiya 22


Essuula 22

Enteekateeka zikolebwa abantu okutoloka mu buddu bw’Abalamani; Abalamani batamiizibwa; Abantu batoloka, baddayo e Zalakemula, era batambulira wansi wa kabaka Mosiya. Nga mu mwaka gwa 121–120 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Era kaakano olwatuuka Amoni ne kabaka Limuki baatandika okwebuuza ku bantu batya bwe baalina okwenunula okuva mu buddu; era ne balagira abantu bonna okukuŋŋaana; era kino baakikola basobole okuba n’eddoboozi ly’abantu ku nsonga eyo.

2 Era olwatuuka tebaasobola kufuna ngeri yonna okwenunula mu buddu, okuggyako okutwala bakazi baabwe era n’abaana baabwe, era n’ebisibo byabwe, era n’amagana gaabwe, era ne weema zaabwe, era bagende mu lukoola; kubanga Abalamani olw’okuba abangi ennyo, kyali tekisoboka abantu ba Limuki okulwana nabo, nga balowooza okwenunula okuva mu buddu n’ekitala.

3 Kaakano olwatuuka Gidiyoni n’agenda n’ayimirira mu maaso ga kabaka, era n’amugamba nti: Kaakano Ai kabaka, ggwe okutuusa kaakano owulirizza ebigambo byange emirundi mingi bwe tubadde nga tuyomba ne baganda baffe, Abalamani.

4 Era kaakano Ai kabaka, bw’oba nga tonsanze kuba omuweereza atazza magoba mu maaso go, oba nga ebbanga lino lyonna owuliriza ebigambo byange kakibe nga kyenkana kitya, era nga bibadde bya mugaso gy’oli, era bwe ntyo njagala owulirize ebigambo byange mu kiseera kino, era njakuba omuweereza wo era nnunule abantu bano okuva mu buddu.

5 Era kabaka n’amukkiriza okwogera. Era Gidiyoni n’amugamba nti:

6 Laba ekkubo eriyita emabega, nga liyita mu kisenge eky’emabega, ku ludda olw’emabega g’ekibuga. Abalamani, oba abakuumi b’Abalamani, ekiro babeera batamidde; n’olwekyo tuyise ekirangiriro mu bantu bano bonna nti bakuŋŋaanye ebisibo byabwe n’amagana gaabwe, balyoke bagagobere mu lukoola mu kiro.

7 Era nja kugenda okusinziira ku kiragiro kyo era nsasule omusolo ogw’omwenge ogusembayo eri Abalamani, era bajja kuba nga batamiiziddwa; era tujja kuyita mu kifo eky’ekyama ku kkono w’enkambi yabwe nga batamidde era nga beebase.

8 Bwe tutyo tunaagenda n’abakazi baffe era n’abaana baffe, ebisibo byaffe n’amagana gaffe mu lukoola; era tujja kutambulira ku nsalo z’ensi y’e Siromu.

9 Era olwatuuka kabaka n’awuliriza ebigambo bya Gidiyoni.

10 Era kabaka Limuki yalagira abantu be okukuŋŋaanya ebisibo byabwe; n’aweereza omusolo gw’omwenge eri Abalamani; era n’aweereza n’omwenge omulala, ng’ekirabo gye bali; era ne banywa omwenge nga bwe baagala kabaka Limuki gwe yabaweereza.

11 Era olwatuuka abantu ba kabaka Limuki baagenda ekiro mu lukoola n’ebisibo byabwe era n’amagana gaabwe, era baagenda ne bayita mu bitundu ebyali byetoolodde ensi ya Siromu mu lukoola, era ne baweta okwolekera ensi y’e Zalakemula, nga bakulembeddwa Amoni ne baganda be.

12 Era baali batutte zaabu waabwe yenna, era ne ffeeza, era n’ebintu byabwe eby’omuwendo, bye baali basobola okutwala, era n’emmere yaabwe wamu nabo, mu lukoola; era ne beeyongerayo ku lugendo lwabwe.

13 Era oluvannyuma olw’okumala ennaku ennyingi mu lukoola baatuuka mu nsi y’e Zalakemula, era ne beetaba n’abantu ba Mosiya, ne bafuuka abantu be.

14 Era olwatuuka Mosiya n’abasembeza n’essanyu; era n’afuna n’ebiwandiiko byabwe, era n’ebiwandiiko ebyazuulibwa abantu ba Limuki.

15 Era kaakano olwatuuka Abalamani bwe baazuula nti abantu ba Limuki bavudde mu nsi ekiro, ne baweereza eggye mu lukoola okubawondera;

16 Era oluvannyuma lw’okubawondera ennaku bbiri, baali tebakyasobola kugoberera bigere byabwe; n’olwekyo baabulira mu lukoola.