Scriptures
Mosiya 24


Essuula 24

Amuloni ayigganya Aluma n’abantu be; Balina okuttibwa singa basaba; Mukama afuula emigugu gyabwe okulabika ng’emiwewufu; Abanunula okuva mu buddu, era ne baddayo e Zalakemula. Nga mu mwaka gwa 145–120 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Era olwatuuka Amuloni n’afuna okuganja mu maaso ga kabaka w’Abalamani; n’olwekyo, kabaka w’Abalamani y’akkiriza ye ne baganda be balondebwe nga abasomesa eri abantu be, weewaawo, ddala eri abantu abaali mu nsi y’e Simuloni, ne mu nsi y’e Siromu, ne mu nsi y’e Amuloni.

2 Kubanga Abalamani baali batutte ensi zino zonna; n’olwekyo, kabaka w’Abalamani yali alonze bakabaka bafuge ensi zino zonna.

3 Era kaakano erinnya lya kabaka w’Abalamani yali Lamani, nga ayitibwa erinnya lya kitaawe; era n’olwekyo yayitibwanga kabaka Lamani. Era yali kabaka w’abantu bangi nnyo.

4 Era y’alonda abasomesa okuva mu baganda ba Amuloni mu buli nsi abantu be gye baalinako obuyinza; era bwe kityo olulimi lwa Neefi lwe lwatandika okusomesebwa mu bantu bonna ab’Abalamani.

5 Era baali bantu ba mikwano ne bannaabwe; naye ate nga tebamanyi Katonda; newakubadde baganda ba Amuloni tebaabayigiriza kintu kyonna ku Mukama Katonda waabwe, newakubadde amateeka ga Musa; yadde okubayigiriza ebigambo bya Abinadi;

6 Naye baabayigiriza okukuuma ebiwandiiko byabwe, n’okuwandiikira bannaabwe.

7 Era bwe batyo Abalamani ne batandika okweyongera mu by’obugagga, era ne batandika okusuubulagana ne bannaabwe era ne bafuuka bagagga, era ne batandika okuba abantu abakujjukujju era abagezi, nga bwe kiri ku magezi ag’ensi, weewaawo, abantu abakujjukujju ennyo, abasanyukira buli ngeri yonna ey’obubi n’okunyaga, okuggyako nga bwe kyaali mu baganda baabwe bennyini.

8 Era kaakano Amuloni n’atandika okukozesa obuyinza ku Aluma ne baganda be, n’atandika okumuyigganya, n’okuviirako abaana be okuyigganya abaana baabwe.

9 Kubanga Amuloni yali amanyi Aluma, nti yali omu ku bakabona ba kabaka, era ye y’akkiriza ebigambo bya Abinadi n’agobebwa mu maaso ga kabaka, n’olwekyo teyalina kisa gy’ali; kubanga yali agondera kabaka Lamani, so nga ate akozesa obuyinza ku bo, n’ababinika emirimu, n’abateekako ba nnampala.

10 Era olwatuuka ebibonoobono byabwe byali bingi nnyo ne batandika okuwanjagira Katonda n’amaanyi.

11 Era Amuloni n’abalagira okukomya emiranga gyabwe; era n’ateeka abakuumi okubakuuma, nti buli anaasangibwa ng’akoowoola Katonda attibwe.

12 Era Aluma n’abantu be tebaayimusa maloboozi gaabwe eri Mukama Katonda waabwe, wabula baawaayo emitima gyabwe gy’ali; era yamanya ebirowoozo eby’emitima gyabwe.

13 Era olwatuuka eddoboozi lya Mukama ne lijja gye bali mu kubonaabona kwabwe, nga ligamba nti: Muyimuse emitwe gyammwe era mugume emitima, kubanga mmanyi endagaano gye mwalagaana nange; era nja kulagaana n’abantu bange era mbanunule mu buddu.

14 Era nja kuwewula emigugu egyateekebwa ku bibegabega byammwe, nti ddala muleme kugiwulira ku migongo gyammwe, ddala ne bwe muba mukyali mu buddu; era kino nja kukikola mulyoke muyimirire ng’abajulirwa ku lwange oluvannyuma lwa kino, era mulyoke mutegeerere ddala nti nze, Mukama Katonda, nkyalira abantu bange mu bibonoobono byabwe.

15 Era kaakano olwatuuka emigugu egyateekebwa ku Aluma ne baganda be ne gifuulibwa miwewufu; weewaawo, Mukama yabawa obuvumu basobole okwetikka emigugu gyabwe mu ngeri ennyangu, ne bagonda n’essanyu era n’obugumiikiriza eri okwagala kwonna okwa Mukama.

16 Era olwatuuka okukkiriza kwabwe n’okugumiikiriza kwabwe kwali kw’amaanyi nnyo nti eddoboozi lya Mukama ne lijja gye bali nate, nga ligamba nti: Mugume emitima, kubanga enkeera nja kubanunula okuva mu buddu.

17 Era n’agamba Aluma nti: Ojja kukulembera abantu bano, era naagenda nammwe era nnunule abantu bano okuva mu buddu.

18 Kaakano olwatuuka Aluma n’abantu be mu budde obw’ekiro ne bakuŋŋaanya ebisibo byabwe wamu, era nate n’emmere yaabwe ey’empeke; weewaawo, ddala ekiro kyonna baali bakuŋŋaanya ebisibo byabwe.

19 Era ku makya Mukama n’aleetera Abalamani otulo otungi, weewaawo, era ne ba nnampala baabwe bonna baali mu tulo otungi.

20 Era Aluma n’abantu be ne bagenda mu lukoola; era bwe baali batambudde olunaku lwonna ne basimba weema zaabwe mu kiwonvu, era ekiwonvu ne bakiyita Aluma, kubanga yeyabakulembera mu lukoola.

21 Weewaawo, era mu kiwonvu kya Aluma baawaayo okwebaza kwabwe eri Katonda kubanga yali wa busaasizi gye bali, era n’akkakkanya emigugu gyabwe, era n’abanunula okuva mu buddu; kubanga baali mu buddu, era tewali yali asobola kubanunula okuggyako Mukama Katonda waabwe.

22 Era beebaza Katonda, weewaawo, abasajja baabwe bonna era n’abakazi baabwe bonna era n’abaana baabwe bonna abaali basobola okwogera ne bayimusa amaloboozi gaabwe mu kutendereza Katonda waabwe.

23 Era kaakano Mukama n’agamba Aluma nti: Yanguwa ggwe era n’abantu bano okuva mu nsi eno, kubanga Abalamani bazuukuse era babagoberera; n’olwekyo muve mu nsi eno, era nja kuziyiza Abalamani mu kiwonvu kino baleme okweyongerayo mu kugoberera abantu bano.

24 Era olwatuuka ne bava mu kiwonvu, era ne bakwata olugendo lwabwe mu lukoola.

25 Era oluvannyuma lw’ennaku kkumi na bbiri mu lukoola ne batuuka mu nsi y’e Zalakemula; era kabaka Mosiya naye yabasembeza n’essanyu.