Essuula 2
Kabaka Benyamini ayogera eri abantu be; Annyonnyola obuteekubiira, obwenkanya, n’eby’omwoyo eby’okufuga kwe; Ababuulirira okuweereza Kabaka waabwe ow’omu ggulu; Abo abajeemera Katonda bajja kubonaabona n’okunyoolwa ng’omuliro ogutazikira. Nga mu mwaka gwa 124 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era olwatuuka Mosiya bwe yamala okukola nga kitaawe bwe yali amulagidde, era nga alangiridde mu nsi yonna, nti abantu beekuŋŋaanya wamu mu nsi yonna, nti basobole okwambuka ku yeekaalu okuwulira ebigambo kabaka Benyamini by’anaabagamba.
2 Era waaliwo omuwendo mungi nnyo ogw’bantu, ddala nga bangi nnyo nti tebaababala; kubanga baali beeyongedde ekisusse era nebaba bangi nnyo mu nsi.
3 Era baatwala nate ku bibereberye eby’ebisibo byabwe, nti basobole okuwaayo ssaddaaka era n’ebiweebwayo ebyokebwa okusinziira ku tteeka lya Musa;
4 Era nate basobole okwebaza Mukama Katonda waabwe, eyabaggya mu nsi y’e Yerusaalemi, era eyali abanunudde mu mikono gy’abalabe baabwe, era eyali alonze abasajja abatuukirivu okubeera abasomesa baabwe, era nate omusajja omwenkanya okubeera kabaka waabwe, eyali ataddewo emirembe mu nsi ey’e Zalakemula, era eyali abayigirizza okukuuma ebiragiro bya Katonda, nti balyoke basanyuke era bajjule okwagala eri Katonda n’abantu bonna.
5 Era olwatuuka bwe bayambuka ku yeekaalu, ne basimba weema zaabwe okwetooloola, buli musajja okunsinziira ku maka ge, omuli omukyala we, era ne batabani be, era ne bawala be, era ne batabani baabwe, era ne bawala baabwe, okuva ku mukulu okukka ku asembayo obuto, buli maka nga geeyawudde ku malala.
6 Era ne basimba weema zaabwe okwetooloola yeekaalu, buli musajja ng’alina weema ye n’omulyango gwayo nga gutunudde mu yeekaalu, nti awo basobole okusigala mu weema zaabwe era bawulire ebigambo kabaka Benyamini by’anaabagamba;
7 Kubanga enkuyanja y’abantu mu kubeera empitirivu nti kabaka Benyamini yali tasobola kubayigiriza bonna munda mu yeekaalu, n’olwekyo yalagira omunaala guzimbibwe, nti awo abantu be basobole okuwulira ebigambo by’alina okwogera gye bali.
8 Era olwatuuka n’atandika okwogera eri abantu be ng’asinziira ku munaala; era bonna tebaasobola kuwulira bigambo bye olw’obunene bw’enkuyanja y’abantu; n’olwekyo yalagira ebigambo bye yayogera biwandiikibwe era biweerezebwe mu abo abataali kumpi n’eddoboozi lye, nti nabo basobole okufuna ebigambo bye.
9 Era bino bye bigambo bye yayogera n’alagira biwandiikibwe, ng’agamba nti: Baganda bange, mmwe mwenna abeekuŋŋaanyizza awamu, mmwe abayinza okuwulira ebigambo byange bye naayogera gye muli leero; kubanga sibalagidde kujja wano kunyoomoola bigambo bye naayogera, wabula nti okubeera nga mumpuliriza, era muggule amatu gammwe musobole okuwulira, era n’emitima gyammwe nti musobole okutegeera, era n’ebirowoozo byammwe nti ebyekusifu bya Katonda oba oli awo bibikkulibwe eri okulaba kwammwe.
10 Sibalagidde kwambuka wano nti mulyoke muntye, oba nti mulyoke mulowooze nti nze ku lwange nsinga omuntu afa.
11 Naye nze nninga mmwe, nnina obunafu obwa buli ngeri mu mubiri ne mu birowoozo; kyokka ate nga nnalondebwa abantu bano, era ne ntongozebwa kitange, era nnakkirizibwa omukono gwa Mukama nti mbeere omufuzi era kabaka w’abantu bano; era nkuumiddwa ne mbeezebwawo amaanyi ge agatenkanika, okubaweereza n’obusobozi bwonna, ebirowoozo era n’amaanyi Mukama byampadde.
12 Mbagamba nti nga bwe nnakkirizibwa okumala ebiro byange mu buweereza bwammwe, ddala n’okutuusa leero, era sinoonyezza zaabu wadde ffeeza wadde obugagga obw’engeri yonna okuva gye muli;
13 So siragiranga nti mmwe mulina okusibirwa mu bunnya, newakubadde mmwe okufuulibwa abaddu buli omu eri mune, newakubadde okutta, oba okunyaga, oba okubba, oba okwettanira obwenzi; wadde ddala sikirizzaangako nti mulina okwettanira obubi obw’engeri yonna, era mbayigiriza nti mulina okukuuma ebiragiro bya Mukama, mu bintu byonna by’abalagidde.
14 Era ddala nze, mwene, nkoze n’emikono gyange nsobole okubaweereza, era nti muleme okuzitoowererwa emisolo, era nti waleme kubaawo kijja gye muli nga tekigumikirizika; era ebintu bino byonna bye njogedde, mmwe mwennyini olwa leero muli bajulirwa.
15 Kale ate, baganda bange, sikoze bintu bino nti ndyoke nnegulumize, so soogera bintu bino nti olwo ndyoke mbavunaane; naye mbabuulira ebintu bino mulyoke mumanye nti nsobola okwanukula n’endowooza ennongoofu olwa leero mu maaso ga Katonda.
16 Laba, mbagamba nti olw’okuba nnabagamba nti nnamala ennaku zange mu buweereza bwammwe, sigenderera kwegulumiza, kubanga mazima ddala mbadde mu buweereza bwa Katonda.
17 Era laba, mbabuulira ebintu bino mulyoke mufune amagezi; mulyoke muyige nti bwe mubeera mu buweereza bwa bannammwe mazima ddala muba muli mu buweereza bwa Katonda wammwe.
18 Laba, mumpise kabaka wammwe; era oba nga nze, gwe muyita kabaka wammwe, nfuba okubaweereza, olwo mmwe temusaanidde kufuba kuweerezagana?
19 Era laba nate, oba nga nze, gwe muyita kabaka wammwe, amaze ennaku ze mu buweereza bwammwe, so nga mbadde mu buweereza bwa Katonda, nsaanira okwebazibwa kwonna okuva gye muli, Abange, nga musaanidde okwebaza Kabaka wammwe ow’omu ggulu!
20 Mbagamba, baganda bange, nti singa munaawaayo okwebaza kwonna era n’okutendereza emmeeme yammwe yonna kw’erina mu maanyi gaayo, eri Katonda oyo eyabatonda, era abakuumye n’ababeezawo, era abaleetedde okusanyuka, era akkiriza nti mubeere mu mirembe buli omu ne munne;
21 Mbagamba nti singa munaaweereza oyo eyabatonda okuva ku lubereberye, era ababeezawo olutatadde, ng’abaazika omukka gwe mussa, mulyoke mubeere balamu era mutambule era mukole okusinziira ku kwagala kwa mmwe, era ddala n’okubawanirira okuva mu kaseera akamu okutuuka mu kalala; ngamba nti, singa mmwe mumuweereza n’emyoyo gyammwe gyonna naye era mwandibadde baweereza abatazza magoba.
22 Era laba, kyokka ky’abeetaaza kwe kukuuma ebiragiro bye; era abasuubizza nti kasita munaakuumanga ebiragiro bye mujja kukulaakulana mu nsi; era tayawukana kw’ebyo by’ayogedde; n’olwekyo, singa mmwe mukuuma ebiragiro bye, abawa omukisa era n’abakulaakulanya.
23 Era kaakano, mu kusooka, yabatonda, era n’abawa obulamu bwammwe, olw’ensonga eyo ababanja.
24 Era eky’okubiri, abeetaagisa nti mukole nga bwe yabalagira; olw’okuba singa ekyo mukikola, ng’abawa omukisa awatali kulwa; era n’olwekyo abasasudde. Era ne mubeera nga mukyabanjibwa ye, era muli mutyo, era muliba mutyo, olubeerera; n’olwekyo, kiki kye mulinawo ekibeewaanya?
25 Era kaakano mbuuza nti, muyinza okwogera ekintu kyonna mmwe? Mbaanukula nti, Nedda. Temuyinza nakugamba nti ddala muli bamugaso ng’enfuufu y’ensi; so nga mwatondebwa mu nfuufu y’ensi; naye mulabe, nnyini yo y’eyabatonda.
26 Era nze, ddala nze, gwe muyita kabaka wammwe, sibasingako mmwe nga bwe muli; kubanga nange ndi wa nfuufu. Era mulaba nti ndi mukadde, era nnaatera okuwaayo eŋŋumba zino ezifa eri ettaka oyo nnyina waazo.
27 N’olwekyo, nga bwe nnabagambye nti mbaweerezza, nga ntambula n’endowooza ennongoofu mu maaso ga Katonda, ddala era bwe ntyo mu kiseera kino ndagidde mukuŋŋaanire wamu, nti ndyoke nsangibwe nga sirina kabi, era nti omusaayi gwammwe guleme okubeera ku nze, bwe ndiyimirira okusalirwa Katonda omusango ku lw’ebyo bye yandagira ebikwata ku mmwe.
28 Mbagamba nti, ndagidde mukuŋŋaanire wamu, nsobole okwewala omusaayi gwammwe ku byambalo byange, mu kiseera kino nga nnaatera okukka mu ntaana yange, nti nsobole okukka mu mirembe, era n’omwoyo gwange ogutafa gusobole okwegatta ku bayimbi waggulu mu nnyimba ezitendereza Katonda ow’amazima.
29 Era ate, mbagamba nti, ndagidde mukuŋŋaanire wamu, nsobole okubategeeza nti sikyayinza kubeera musomesa wammwe, newakubadde kabaka wammwe;
30 Kubanga ne mu kiseera kino, omubiri gwange gwonna gukankana bya nsusso nga ngezaako okwogera nammwe; naye Mukama Katonda ampanirira, era anzikkirizza okwogerako gye muli, era andagidde okulangirira gye muli leero, nti mutabani wange Mosiya ye kabaka era omufuzi gye muli.
31 Era kaakano, baganda bange, nandyagadde mukole nga bwe mukoze okutuusa kati. Nga bwe mukuumye ebiragiro byange, era n’ebiragiro bya kitange, ne mukulaakulana, era ne mukuumibwa obutagwa mu mikono gy’abalabe bammwe, mu ngeri y’emu kasita munaakuumanga ebiragiro by’omwana wange, oba ebiragiro bya Katonda ebinabaweebwa ye, munaakulaakulana mu nsi, era n’abalabe bammwe tebaabe na buyinza gye muli.
32 Naye, Wattu abantu bange, mwegendereze waleme kubaawo kukaayana mu mmwe, era ne musalawo okugondera omwoyo omubi, ogwayogerwako kitange Mosiya.
33 Kubanga laba, waliwo ekibonerezo ekyalangirirwa eri oyo asalawo okugondera omwoyo ogwo; kubanga singa asalawo okumugondera, era n’asigala era n’afiira mu bibi bye, mu ngeri y’emu anywa okukomezebwa eri emmeeme ye, ye kennyini; kubanga afuna ng’empeera ye ekibonerezo ekitaggwaawo, olw’okusobya amateeka ga Katonda ekikontana n’okumanya kwe.
34 Mbagamba nti tewali mu mmwe, okuggyako abaana bammwe abato abatayigiriziddwa bikwata ku bintu bino, naye ekimanyiddwa nti mubanjibwa Kitammwe ow’omu ggulu emirembe gyonna, okuwaayo gy’ali byonna bye mulina era n’ekyo kye muli; era nate muyigiriziddwa ebikwata ku biwandiiko ebirimu obunnabbi obwogeddwa bannabbi abatuukirivu, okutuukira ddala mu kiseera kitaffe, Leki, lwe yava e Yerusaalemi;
35 Era nate, ebyo byonna ebyogeddwa bajjajjaffe okutuusa kaakano. Era laba, nate, baayogera ebyo ebyabalagirwa Mukama; n’olwekyo, bya bwenkanya era bya mazima.
36 Era kaakano, mbagamba, baganda bange, nti oluvannyuma lw’okumanya n’okuyigirizibwa ebintu bino byonna, singa munaasobya era ne mugenda mu maaso okukontana n’ebyo ebyayogerwa, nti olwo ne mweggya ku Mwoyo wa Mukama, aleme okubeera n’ekifo mu mmwe okubaluŋŋamya mu makubo ag’amagezi mulyoke muweebwe omukisa, mukulaakulanyizibwe, n’okubeezebwawo;
37 Mbagamba nti omuntu akola ekyo, y’oyo avaayo mulwatu n’ajeemera Katonda; n’olwekyo asalawo okugondera omwoyo omubi, era afuuka omulabe w’obutuukirivu bwonna; n’olwekyo, Mukama talina kifo mu ye, kubanga tabeera mu yeekaalu zitali ntukuvu.
38 N’olwekyo omuntu oyo bwatenenya, n’asigala era n’afa nga mulabe wa Katonda, ebyetaago eby’obwenkanya obw’obwakatonda bizuukusa emmeeme ye etafa okutuuka ku kulumirizibwa okw’amaanyi okw’ebibi bye, ekimuleetera okwebwaalabwaala okuva mu maaso ga Mukama, era n’okujjuza ekifuba kye okulumirizibwa okw’ebibi, era n’obulumi, era n’obuyinike, obulinga omuliro ogutazikira, ennimi zaagwo ezitumbiira waggulu emirembe gyonna.
39 Era kaakano mbagamba nti okusaasira tekulina buyinza ku muntu oyo; n’olwekyo ekibonerezo kye ekisembayo kwe kugumira okulumizibwa okutakoma.
40 Abange, mmwe abasajja abakadde mwenna, era nammwe abavubuka, era nammwe abaana abato abasobola okutegeera ebigambo byange, kubanga njogedde nammwe mu bwerufu mulyoke mutegeere, nsaba nti muzuukuke okujjukira embeera ey’entiisa ey’abo abagudde mu nsobi.
41 Era ate, nandyagadde mulowooze ku mbeera ey’obwesiimi n’essanyu ey’abo abakuuma ebiragiro bya Katonda. Kubanga laba, baweereddwa omukisa mu byonna, eby’ekiseera era n’eby’omwoyo; era singa banagumiikiriza nga beesigwa okutuuka ku nkomerero baanirizibwa mu ggulu, bwe batyo babeerenga ne Katonda mu mbeera ey’essanyu eritakoma. Abange, mujjukire, mujjukire nti ebintu bino bituufu; kubanga Mukama Katonda y’abyogedde.