Scriptures
Mosiya 25


Essuula 25

Bazzukulu ba Muleki e Zalakemula bafuuka Abaneefi; Bamanya ku bantu ba Aluma n’aba Zeniffu; Aluma abatiza Limuki n’abantu be bonna; Mosiya awa Aluma obuyinza okutandika Ekkanisa ya Katonda. Nga mu mwaka gwa 120 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Era kaakano kabaka Mosiya yalagira abantu bonna okukuŋŋaanira awamu.

2 Kaakano tewaali bangi nnyo ku baana ba Neefi, oba bangi nnyo ku abo abaali abazzukulu ba Neefi, nga bwe kyali ku bantu ba Zalakemula, eyali muzzukulu wa Muleki, n’abo abajja naye mu lukoola.

3 Era tewaali bangi nnyo ku bantu ba Neefi n’ab’abantu ba Zalakemula nga bwe kyali ku Balamani; weewaawo, tebaali kitundu kya bungi bwe butyo.

4 Era kaakano abantu ba Neefi bonna baakuŋŋaana awamu, era n’abantu bonna aba Zalakemula, era beekuŋŋaanyiza awamu mu bibinja bibiri.

5 Era olwatuuka Mosiya n’asoma, era n’alagira bisomebwe, ebiwandiiko bya Zeniffu eri abantu be; weewaawo, yasoma ebiwandiiko by’abantu ba Zeniffu, okuva ekiseera lwe baava mu nsi y’e Zalakemula okutuusa lwe baakomawo nate.

6 Era n’asoma enyinnyonnyolwa ya Aluma ne baganda be, n’ebonoobono byabwe byonna, okuva ekiseera lwe baava mu nsi ey’e Zalakemula okutuusa lwe bakomawo nate.

7 Era kaakano, Mosiya bwe yamaliriza okusoma ebiwandiiko, abantu be abaasigala mu nsi ne bawuniikirira nnyo era n’okwewuunya.

8 Kubanga ebirowoozo byabaggwako; kubanga bwe baalaba abo abaali banunuddwa okuva mu buddu ne bajjula essanyu ery’ensusso.

9 Era nate, bwe balowooza ku baganda baabwe abaali battiddwa Abalamani ne bajjula ennaku, era ddala baayiwa amaziga mangi ag’ennaku.

10 Era nate, bwe balowooza ku bulungi bwa Katonda obw’embagirawo, n’amaanyi ge mu kununula Aluma ne baganda be okuva mu mikono gy’Abalamani era ne mu buddu, baayimusa amaloboozi gaabwe era ne beebaza Katonda.

11 Era nate, bwe balowooza ku Balamani, abaali baganda baabwe, ku mbeera yaabwe ey’ekibi era encaafu, baajjula obulumi era n’ennaku ku lw’obulungi bw’emyoyo gyabwe.

12 Era olwatuuka abo abaali abaana ba Amuloni ne baganda be, abaali bawasizza bawala b’Abalamani, tebaasanyukira mpisa za bakitaabwe, era ne bateyongera kuyitibwa mannya ga bakitaabwe, n’olwekyo ne beetwalira erinnya lya Neefi, balyoke bayitibwe abaana ba Neefi era babalibwe mu abo abaali bayitibwa Abaneefi.

13 Era kaakano abantu bonna aba Zalakemula baabalirwa wamu n’Abaneefi, era kino kubanga obwakabaka tebwaweebwa muntu yenna wabula abo abaali abazzukulu ba Neefi.

14 Era kaakano olwatuuka Mosiya nga afundikidde okwogera era n’okusoma eri abantu, yayagala ne Aluma ayogereko eri abantu.

15 Era Aluma yayogera gye bali, bwe baali nga bakuŋŋaanye awamu mu bibinja ebinene, era n’agenda okuva ku kibinja kimu okudda ku kirala, ng’abuulira abantu okwenenya n’okukkiriza Mukama.

16 Era yakubiriza abantu ba Limuki ne baganda be, abo bonna abaali banunuddwa okuva mu buddu, nti balina okujjukira nti Mukama ye yabawonya.

17 Era olwatuuka oluvannyuma Aluma nga amalirizza okuyigiriza abantu ebintu bingi, era nga amalirizza okwogera gye bali, nti kabaka Limuki n’ayagala okubatizibwa; era n’abantu be bonna nabo ne baagala okubatizibwa.

18 N’olwekyo, Aluma yagenda mu mazzi n’ababatiza; weewaawo, yababatiza mu ngeri y’emu nga gye yabatiza baganda be mu mazzi ga Momoni; weewaawo, era bonna nga bwe yababatiza baali ba Kkanisa ya Katonda; era kino olw’okukkiriza kwabwe eri bigambo bya Aluma.

19 Era olwatuuka kabaka Mosiya n’akkiriza Aluma asobole okutandikawo ekkanisa mu nsi yonna ey’e Zalakemula; n’amuwa obuyinza okutongoza bakabona n’abasomesa babe n’obuyinza ku buli kkanisa.

20 Kaakano kino kyakolebwa kubanga abantu baali bangi nnyo nga bonna tebasobola kukulemberwa musomesa omu; wadde bonna okusobola okuwulira ekigambo kya Katonda mu kibinja kimu;

21 N’olwekyo baakuŋŋaanira awamu mu bibinja eby’enjawulo, nga biyitibwa amakanisa; buli kkanisa nga erina bakabona baabwe era n’abasomesa baabwe, era nga buli kabona abuulira ekigambo nga bwe kyamuweebwa okuva mu kamwa ka Aluma.

22 Era bwe kityo, newakubadde nga waaliwo ekkanisa nnyingi zonna zaali kkanisa emu, weewaawo, ddala Ekkanisa ya Katonda; kubanga tewaali kintu kyonna ekyabuulirwa mu kkanisa ezo zonna okuggyako okwenenya n’okukkiririza mu Katonda.

23 Era kaakano mu nsi ey’e Zalakemula mwalimu ekkanisa musanvu. Era olwatuuka buli eyayayaana okwetwalira erinnya lya Kristo, oba erya Katonda, beegattanga ku Kkanisa za Katonda;

24 Era baayitibwa abantu ba Katonda. Era Mukama n’abayiwako Omwoyo we, era ne baweebwa omukisa, era ne bakulaakulana mu nsi.