Scriptures
Mosiya 3


Essuula 3

Kabaka Benyamini agenda mu maaso n’okwogera kwe; Mukama Omuyinza w’ebintu byonna ajja kuweereza mu bantu mu weema ey’ebbumba; Omusaayi guliva mu buli katuli ak’omubiri ng’atangirira ebibi by’ensi; Erirye ly’erinnya lyokka obulokozi mwe bujjira; Abantu basobola okweggyako omuntu ow’obutonde era banaafuuka abatuukirivu nga bayitira mu Mutango; Okubonyaabonyezebwa kw’ababi kujja kuba ng’ennyanja ey’omuliro n’obuganga. Nga mu mwaka gwa 124 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Era nate baganda bange, nandyagadde musseeyo omwoyo, kubanga nnina ebirala bye njagala okwogera gye muli; kubanga laba, nnina eby’okubagamba ebikwata kw’ebyo ebinajja.

2 Era ebintu bye naababuulira byantegeezebwa malayika okuva eri Katonda. Era n’aŋŋamba nti: Zuukuka; era ne nzuukuka, era laba, ng’ayimiridde mu maaso gange.

3 Era n’aŋŋamba nti: Zuukuka, era wulira ebigambo bye n’akugamba; kubanga laba, nzize gy’oli okulangirira obubaka obulungi obw’essanyu eringi.

4 Kubanga Mukama awulidde okusaba kwo, era yeekennenyezza ebikwata ku butuukirivu bwo, n’antuma okulangirira gy’oli olwo olyoke ojjaguze; era nti olyoke otegeeze abantu bo, nabo balyoke bajjuzibwe essanyu.

5 Kubanga laba, ekiseera kijja, era tekiri wala, nti n’amaanyi, Mukama Omuyinza w’ebintu byonna oyo afuga, eyaliwo, era aliwo okuva emirembe gyonna okutuuka emirembe gyonna, alikka okuva mu ggulu wakati mu baana b’abantu, era anaabeera mu weema ey’ebbumba, era anaagenda mu bantu, ng’akola ebyamagero eby’amaanyi, gamba ng’okuwonya abalwadde, okuzuukiza abafu, okutambuza abalema, bamuzibe okulaba, bakiggala okuwulira, era n’okuwonya endwadde eza buli ngeri yonna.

6 Era aligoba emizimu, oba emyoyo emibi egibeera mu mitima gy’abaana b’abantu.

7 Era laba, aliyita mu bikemo, era n’obulumi bw’omubiri, enjala, ennyonta, n’obukoowu, ddala n’okusinga omuntu bw’ayinza okubonaabona, okuggyako okufa; kubanga laba, omusaayi guva mu buli katuli ak’omubiri, obuyinike bwe buliba bw’amaanyi nnyo olw’obubi era n’ebivve by’abantu be.

8 Era aliyitibwa Yesu Kristo, Omwana wa Katonda, Taata w’eggulu n’ensi, Omutonzi w’ebintu byonna okuva ku lubereberye; era nnyina aliyitibwa Maliyamu.

9 Era laba, ajja eri ababe, nti obulokozi bulyoke butuuke eri abaana b’abantu, ddala okuyita mu kukkiriza mu linnya lye; era ddala oluvannyuma lwa bino byonna balimulaba ng’omuntu, era bagambe nti aliko omuzimu, era bamubonyeebonye, era balimukomerera.

10 Era ku lunaku olwokusatu alizuukira mu bafu; era laba, ayimiridde okulamula ensi; era laba, ebintu bino byonna bikoleddwa nti okula ennamula entuukirivu kulyoke kujje eri abaana b’abantu.

11 Kubanga laba, era nate omusaayi gwe gutangirira ebibi by’abo abaagwa olw’okusobya kwa Adamu, abaafa nga tebamanyi kigendererwa kya Katonda gye bali, oba abaayonoona mu butamanya.

12 Naye zimusanze, zimusanze oyo amanyi nti ajeemera Katonda! Kubanga obulokozi tebujja eri omuntu yenna bw’atyo okuggyako okuyita mu kwenenya n’okukkiriza Mukama Yesu Kristo.

13 Era Mukama Katonda yatuma bannabbi be abatuukirivu mu baana b’abantu bonna, okulangirira ebigambo bino eri buli kika, eggwanga, era n’olulimi, era mu ngeri eyo abo abanaakkiriza nti Kristo alijja, basobole okufuna okusonyiyibwa kw’ebibi byabwe, era basanyuke n’essanyu erisukkiridde, ddala nga bwe kyalibadde ng’eyali yajja edda mu bo.

14 Naye ate Mukama Katonda yalaba ng’abantu be baali bantu ba nsingo nkakanyavu, era n’abateerawo etteeka, ddala etteeka lya Musa.

15 Era obubonero bungi, era n’ebyewunyisa, era n’ebyefaananyiriza, era n’ebisiikirize yabibalaga, ebyekuusa ku kujja kwe; era nate bannabbi abatuukirivu ne boogera gye bali ebyekuusa ku kujja kwe; era naye baakakanyaza emitima gyabwe, ne batategeera nti etteeka lya Musa teririna mugaso gwonna okuggyako okuyitira mu mutango ogw’omusaayi gwe.

16 Era singa kyalibadde nti abaana abato basobola okwonoona tekyalisobose kulokolebwa; naye mbagamba nti balina omukisa; kubanga laba, nga mu Adamu, oba mu butonde, bagwa, ddala bwekityo omusaayi gwa Kristo gutangirira ebibi byabwe.

17 Era ate, mbagamba, nti tewajja kubaawo linnya ddala liweebwa wadde ekkubo eddala lyonna wadde engeri obulokozi mwe buyinza okujja eri abaana b’abantu, okuggyako mu linnya lya Kristo era n’okuyita mu lyo, Mukama Omuyinza w’ebintu byonna.

18 Kubanga laba alamula, era ennamula ye ya bwenkanya; era omwana omuwere tazikirira oyo afa ng’akyali bbujje; naye abantu bereeseko okusalirwa omusango eri emyoyo gyabwe okuggyako nga beetoowaza ne bafuuka ng’abaana abato, era ne bakkiriza nti obulokozi bwaliwo, era webuli, era bwa kujja, mu kuyita mu musaayi gwa Kristo ogw’okutangirira, Mukama Omuyinza w’ebintu byonna.

19 Kubanga omuntu w’obutonde mulabe wa Katonda, era bwabadde okuva ku kugwa kwa Adamu, era bwaliba, emirembe n’emirembe, okuggyako nga yeewaddeyo eri okusendasendebwa kw’Omwoyo Omutukuvu, n’eyeggyako omuntu ow’obutonde n’afuuka omutuukirivu okuyitira mu mutango gwa Kristo Mukama, n’afuuka ng’omwana omuto, omugonvu, omuwombeefu, omwetoowaze, omugumiikiriza, ajjudde okwagala, omweteefuteefu okugondera ebintu byonna Mukama by’alaba nga bisaanidde okutuukiriza gy’ali, ddala ng’omwana bw’agondera kitaawe.

20 Era ate, mbagamba, nti ekiseera kijja kutuuka okumanyisibwa kw’Omulokozi bwe kulibuna mu buli ggwanga, ekika, olulimi, era n’abantu.

21 Era laba, ekiseera ekyo bwe kinaatuuka, tewali n’omu alisangibwa nga talina musango mu maaso ga Katonda, ng’oggyeeko abaana abato, okuggyako nga bayise mu kwenenya n’okukkiriza erinnya lya Mukama Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.

22 Era ddala mu kiseera kino, bwoliba omalirizza okuyigiriza abantu bo ebintu Mukama Katonda wo bye yakulagira, ddala olwo tebalisangibwa n’akatono nga tebalina musango mu maaso ga Katonda, okuggyako okusinziira ku bigambo bye nkugambye.

23 Era kaakano njogedde ebigambo Mukama Katonda bye yandagidde.

24 Era bw’ati bw’ayogera Mukama nti: Balibeera obujulizi obutangaavu ku bantu bano, ku lunaku olw’okulamulwa; olw’awo baliramulwa, buli muntu ng’ebikolwa bye bwe biri, oba birungi oba bibi.

25 Era bwe baba nga babi basindikibwa mu kulumirizibwa kw’ebibi era n’ebivve byabwe bennyini, ekibaleetera okwebwaalabwaala okuva mu maaso ga Mukama ne bayingira mu mbeera ey’ennaku n’okubonyaabonyezebwa okutakoma, gye batasobola kuva nate; n’olwekyo banywedde okukomezebwa eri emyoyo gyabwe.

26 N’olwekyo, banywedde ku kikompe ky’obusungu bwa Katonda, obwenkanya bwali tebukyayinza kukyegaana gye bali nga bwe butayinza kwegaana nti Adamu yalina okugwa olw’okulya kwe ku kibala ekyagaanibwa; n’olwekyo, okusaasira kwali tekukyalina kya kuddamu ku bo olubeerera.

27 Era okubonyaabonyezebwa kwabwe kuli ng’ennyanja ey’omuliro n’obuganga, ennimi zaayo ezitazikirizika, era omukka gwayo ogutumbiira emirembe n’emirembe. Bw’atyo Mukama bw’andagidde. Amiina.