Essuula 18
Aluma abuulira mu kyama; Assaawo endagaano y’okubatizibwa era nabatiza mu mazzi ga Momoni; Ategeka ekkanisa ya Kristo era n’atongoza bakabona; Bayambagana era bayigiriza abantu; Aluma n’abantu be badduka okuva eri kabaka Nuuwa ne bagenda mu lukoola. Nga mu mwaka gwa 147–145 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era kaakano, olwatuuka Aluma, eyali addusse okuva ku baweereza ba kabaka Nuuwa, yeenenya ebibi bye n’obwonoonefu bwe, era n’agenda mu kyama mu bantu, n’atandika okuyigiriza ebigambo bya Abinadi;
2 Weewaawo, ebikwata ku ekyo ekyali kigenda okujja, era n’ebikwata ku kuzuukira kw’abafu, era n’okununulibwa kw’abantu, okwali okw’okutuukirizibwa okuyitira mu maanyi, era n’okubonaabona, era n’okufa kwa Kristo, era n’okuzuukira kwe era n’okulinnya mu ggulu.
3 Era abangi nga bwe baawuliranga ekigambo kye yabayigiriza. Era yabayigirizanga mu kyama, kireme okumanyibwa kabaka. Era bangi bakkiriza ebigambo bye.
4 Era olwatuuka abangi nga bwe baamukiririzamu bagenda mu kifo ekyali kiyitibwa Momoni, nga kyali kifunye erinnya lyakyo okuva eri kabaka, nga kyali mu nsalo ez’ensi ezali zizindiddwa, mu biseera ebimu oba ebiro, n’ensolo ez’omu nsiko.
5 Kaakano, waaliwo e Momoni ensulo y’amazzi amayonjo, era Aluma n’addukira eyo, nga waaliwo okumpi n’amazzi ekisaka ky’emiti emitono, gyeyeekwekangamu emisana okuva eri okunoonyezebwa kwa kabaka.
6 Era olwatuuka nti abangi nga bwe baamukkiriza bagendayo okuwulira ebigambo bye.
7 Era olwatuuka oluvannyuma lw’ennaku ennyingi waliwo omuwendo omulungi ogwakuŋŋaanyizibwa awamu mu kifo kya Momoni, okuwulira ebigambo bya Aluma. Weewaawo, bonna baali bakuŋŋaanidde wamu abaali bakkiririza mu kigambo kye, okumuwulira. Era yabayigiriza, era n’ababuulira okwenenya, era n’okununulibwa, n’okukkiriza mu Mukama.
8 Era olwatuuka n’abagamba nti: Laba, amazzi ga Momoni gaagano (kubanga bwe gatyo bwe gali gayitibwa) era kaakano, nga bwe muyaayaana okujja mu kisibo kya Katonda, era n’okuyitibwa abantu be, era nga muli beetegefu okwetikka buli omu emigugu gya munne, gibeere miwewufu;
9 Weewaawo, era nga muli beetegefu okukungubaga n’abo abakungubaga; weewaawo, era n’okukubagiza abo abeetaaga okukubagizibwa, era n’okuyimirira ng’abajulizi ba Katonda ekiseera kyonna era ne mu bintu byonna, era ne mu bifo byonna gye munabeeranga, ddala okutuusa okufa, olwo mulyoke mununulibwe Katonda, era mubalibwe wamu n’abo ab’okuzuukira okw’olubereberye, mulyoke mubeere n’obulamu obutaggwaawo;
10 Kaakano mbagamba nti, kino bwe kiba nga kwe kuyaayaana okw’emitima gyammwe, kiki kye mulina ekikontana n’okubatizibwa mu linnya lya Mukama, ng’obujulizi mu maaso ge nti mulagaanye endagaano naye, nti mujja kumuweerezanga era n’okukuuma ebiragiro bye, olwo alyoke ayiwe Omwoyo we mu bungi ku mmwe?
11 Era kaakano abantu bwe baali bawulidde ebigambo bino, ne bakuba mu ngalo olw’essanyu, era ne bakuba obuluulu nti: Kino kwe okuyaayaana kwe emitima gyaffe.
12 Era kaakano olwatuuka Aluma yatwala Keramu, nga yali omu ku baasooka, era n’agenda n’ayimirira mu mazzi, era n’ayimusa eddoboozi, nga agamba nti: Ayi Mukama, yiwa Omwoyo wo ku muweereza wo, akole omulimu guno n’obutukuvu obw’omutima.
13 Era bwe yayogera ebigambo bino, Omwoyo wa Mukama yali ku ye, era n’agamba nti: Keramu, nkubatiza, nga nnina obuyinza okuva eri Katonda Ayinza byonna, ng’obujulizi nti olagaanye endagaano okumuweereza okutuusa okufa kwo okw’omubiri; era Omwoyo wa Mukama akuyiibweko; era akuwe obulamu obutaggwaawo, okuyitira mu kununulibwa kwa Kristo, oyo gwe yategeka okuvira ddala ku musingi ogw’ensi.
14 Era oluvannyuma Aluma ng’amaze okwogera ebigambo bino, Aluma ne Keramu bombi baanyikibwa mu mazzi; era bayimuka ne bava mu mazzi nga basanyuka, nga bajjuziddwa Omwoyo.
15 Era nate, Aluma n’atwala omulala, n’agenda omulundi ogw’okubiri mu mazzi, n’amubatiza okusinziira ku oli eyaasooka, okuggyako nti ye teyaddamu kwenyika mu mazzi nate.
16 Era oluvannyuma olw’engeri eno yabatizanga buli omu eyagenda mu kifo kya Momoni; era baali mu muwendo kumpi nga emyoyo ebikumi bibiri mu bana; weewaawo, era babatizibwa mu mazzi ga Momoni, era ne bajjuzibwa ekisa kya Katonda.
17 Era ne bayitibwa ekkanisa ya Katonda, oba ekkanisa ya Kristo, okuva mu kiseera ekyo n’okweyongera mu maaso. Era olwatuuka buli yenna eyabatizibwa n’amaanyi era n’obuyinza bwa Katonda yagattibwanga ku kkanisa ye.
18 Era olwatuuka Aluma, ng’alina obuyinza okuva eri Katonda, yatongoza bakabona; ddala kabona omu ku buli makumi ataano ag’omuwendo gwabwe beyatongoza okubuulira gye bali, era n’okubayigiriza ebikwata ku bintu ebyekuusa ku bwakabaka bwa Katonda.
19 Era yabalagira nti tebalina kuyigiriza kintu kyonna okuggyako ebintu bye yali ayigirizza, era ebyali byayogerwa akamwa ka bannabbi abatuukirivu.
20 Weewaawo, ddala yabalagira nti tebalina kubuulira kintu kirala kyonna okuggyako okwenenya era n’okukkiriza mu Mukama, eyali anunudde abantu be.
21 Era yabalagira nti tewalina kubeerawo kukaayana wakati w’omuntu omu n’omulala, wabula nti balina okutunula n’eriiso limu, nga balina okukkiriza kumu era n’okubatizibwa kumu, ng’emitima gyabwe gigatiddwa wamu mu bumu era ne mu kwagala buli omu eri omulala.
22 Era bw’atyo yabalagira okubuuliranga. Era bwe batyo ne bafuuka abaana ba Katonda.
23 Era yabalagira okujjukiranga olunaku lwa ssabbiiti, era balukuume nga lutukuvu, era na buli lunaku okuwangaayo okwebaza eri Mukama Katonda waabwe.
24 Era n’abalagira nti bakabona be yali atongozza baali baakukola n’emikono gyabwe olw’ebyetaago byabwe.
25 Era waaliwo olunaku lumu mu buli wiiki olw’ateekebwawo kwe balina okwekuŋŋaanyiza awamu okuyigiriza abantu, era n’okusinza Mukama Katonda waabwe, era nate, buli kiseera nga bwe baali basobola, okwekuŋŋaanyizanga awamu.
26 Era bakabona baali tebesigamye ku bantu olw’ebyetaago byabwe; naye olw’emirimu gyabwe baali baakufuna ekisa kya Katonda, basobole okuba ab’amaanyi mu mwoyo, nga balina okumanya kwa Katonda, olwo basobole okuyigiriza n’amaanyi era n’obuyinza okuva eri Katonda.
27 Era nate Aluma yalagira abantu b’ekkanisa okugaba ku bintu byabwe, buli omu okusinziira ku ekyo kye yalina; bw’aba nga alina bingi mu bungi yalina okugaba mu bungi; era n’eri oyo eyalina ekitono, naye yetaagisibwa kitono; era eri oyo atalina yasaanidde okuweebwa.
28 Era bwe batyo basaanidde okugaba ku bintu byabwe nga tebakakkiddwa era n’okuyayaana okulungi eri Katonda, n’eri abo bakabona abaali mu bwetaavu, weewaawo, era n’eri buli yenna ali mu bwetaavu, omwoyo oguli obukunya.
29 Era kino yakibagamba, nga yali alagiddwa Katonda; era baatambulira mu bwesimbu mu maaso ga Katonda, nga bagabana buli omu eri munne mu bintu eby’omubiri wamu ne eby’omwoyo okusinziira ku byetaago byabwe era n’ebyo bye baagala.
30 Era kaakano olwatuuka bino byonna byakolebwa e Momoni, weewaawo, okulinaana amazzi ga Momoni, mu kibira ekyali okumpi n’amazzi ga Momoni; weewaawo, ekifo kya Momoni, amazzi ga Momoni, ekibira kya Momoni, nga balungi nnyo eri amaaso g’abo abajja mu kifo kino abaatuuka ku kumanya ku Mununuzi waabwe; weewaawo, era nga balina omukisa, kubanga baliyimba okumutendereza oluberera.
31 Era ebintu bino byakolebwanga mu nsalo ez’ensi, bireme okumanyibwa kabaka.
32 Naye laba, olwatuuka kabaka, ng’amaze okumanya ku keebugo mu bantu, yatuma abaddu be okubatambulizaako amaaso. N’olwekyo ku lunaku lwe baalina okuŋŋaanira awamu okuwulira ekigambo kya Mukama lwe bamanyisibwa eri kabaka.
33 Era kaakano kabaka yagamba nti Aluma yali asasamaza abantu okumujeemera; n’olwekyo yatuma eggye lye okubazikiriza.
34 Era olwatuuka Aluma n’abantu ba Mukama baategeezebwa ku kujja kw’eggye lya kabaka; n’olwekyo baatwala weema zaabwe era n’abenju zaabwe ne bagenda mu lukoola.
35 Era baali mu muwendo nga gwa myoyo ebikumi bina mu atano.