Scriptures
Mosiya 6


Essuula 6

Kabaka Benyamini awandiika amannya g’abantu era n’alonda bakabona okubayigiriza; Mosiya afuga nga kabaka omutuukirivu. Nga mu mwaka gwa 124–121 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Era kaakano, kabaka Benyamini yalowooza kyali kya magezi, oluvannyuma ng’amaze okwogera eri abantu, okuwandiika amannya g’abo bonna abaali balagaanye endagaano ne Katonda okukuuma ebiragiro bye.

2 Era olwatuuka nti tewali mwoyo n’ogumu, okuggyako baali baana bato, abaali tebalagaanyizza ndagaano era n’okuyitibwa erinnya lya Kristo.

3 Era nate, olwatuuka, kabaka Benyamini bwe yamala okukola bino byonna, era nga yatongoza mutabani we Mosiya okuba omufuzi era kabaka w’abantu be, era nga amuwadde obuvunanyizibwa bwonna ku bwakabaka, era ng’alonze bakabona okuyigirizanga abantu, olwo basobole okuwulira era n’okumanya ebiragiro bya Katonda, era n’okubasiikula okujjukiranga endagaano gye baali baakola, n’asiibula enkuyanja y’abantu, era ne baddayo, buli omu, okusinziira ku maka gaabwe, eri ennyumba zaabwe.

4 Era Mosiya n’atandika okufuga mu kifo kya kitaawe. Era yatandika okufuga mu mwaka ogw’amakumi asatu ogw’emyaka gye, olwo omugatte ogw’awamu, emyaka nga ebikumi bina mu nsanvu mu mukaaga okuva mu kiseera ekyo Leki lwe yava e Yerusaalemi.

5 Era kabaka Benyamini yawangaala emyaka esatu era n’afa.

6 Era olwatuuka kabaka Mosiya yatambulira mu mpenda za Mukama, era n’akuumanga ennamula era n’amateeka ge, era n’akuuma ebiragiro bye mu bintu byonna bye yamulagira.

7 Era kabaka Mosiya n’alagira abantu be okulima. Era naye, ye kennyini, bw’atyo yalima, mu ngeri eyo aleme okufuuka omugugu eri abantu be, asobole okukola okusinziira ku ebyo kitaawe bye yakola mu bintu byonna. Era tewaaliwo nkaayana mu bantu be bonna okumala ebbanga lya myaka esatu.