Scriptures
Mosiya 14


Essuula 14

Isaaya ayogera mu ngeri ya masiya; Okuswazibwa kwa Masiya n’okubonaabona kwe abyogerako; Afuula emmeeme ye ekiweebwayo olw’ekibi era akola okuwolereza ku lw’abasobya; Geraageranya Isaaya 53. Nga mu mwaka gwa 148 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Weewaawo, ddala ne Isaaya tagamba nti: Ani akkirizza amawulire gaffe, Era ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama?

2 Kubanga alikula mu maaso ge ng’ekimera ekigonvu, era ng’ekikolo ekiva mu ttaka ekkalu; talina mbala wadde okulabika obulungi; era bwe tunaamulaba tewali kalungi ketulimwegombako.

3 Anyoomebwa era agaanibwa abantu; omuntu ow’ennaku, era eyamanyiira obuyinike; era kiringa abantu bwe twamukweka amaaso gaffe; yanyoomebwa, era tetwamuwa kitiibwa.

4 Mazima yeetikka obuyinike bwaffe, n’asitula ennaku yaffe; naye ate twamutwala ng’eyayigganyizibwa, akubibwa Katonda, era n’abonyaabonyezebwa.

5 Naye yafumitibwa olw’okusobya kwaffe, yabetentebwa olw’obutali butuukirivu bwaffe; okubonerezebwa okw’emirembe gyaffe kwali ku ye; era emiggo egy’amukubibwa gye gituwonya.

6 Ffe ffenna, ng’endiga, twawaba; twakyamira buli muntu mu kkubo lye ye; era Mukama atadde ku ye obubi bwaffe ffenna.

7 Yajoogebwa, era n’abonyaabonyezebwa, naye teyayasamya kamwa ke; aleetebwa ng’omwana gw’endiga ogutwalibwa okuttibwa, era ng’endiga mu maaso g’abasazi b’ebyoya bweetavamu wadde eddoboozi bw’atyo teyayasamya kamwa ke wadde.

8 Yaggibwa mu kkomera era n’okulamulwa; era ani aliyogera ku mulembe gwe? Kubanga yaboolebwa okuva mu nsi y’abalamu; olw’ebisobyo by’abantu bange yayigganyizibwa.

9 Era ne bamuziikira mu ntaana ye wamu n’ababi, era n’omugagga mu kufa kwe; newakubadde nga yali takoze kibi kyonna, wadde n’obulimba tebwali mu kamwa ke.

10 Naye kyasanyusa Mukama okumubetenta; amunakuwazizza; bw’ofuulanga emmeeme ye ekiweebwayo olw’ekibi aliraba ezzadde lye, alyongera ku nnaku ze, era n’ekigendererwa kya Mukama kirituukirizibwa mu mukono gwe.

11 Aliraba okulumwa kw’emmeeme ye, era alimatizibwa; olw’okumanya kwe, omuweereza wange omutukuvu aliwolereza abantu bangi; kubanga alyetikka obubi bwabwe.

12 N’olwekyo ndimugabira omugabo n’ab’ebitiibwa, era aligerekera omunyago n’ab’amaanyi; kubanga yafuka emmeeme ye okutuusa ku kufa; n’abalirwa wamu n’abasobya; era yeetikka ebibi by’abangi, era yawolereza abasobya.