Scriptures
Mosiya 23


Enyinnyonnyolwa y’ebya Aluma n’abantu ba Mukama, abaagoberwa mu lukoola abantu ba kabaka Nuuwa.

Erimu essuula 23 ne 24.

Essuula 23

Aluma agaana okubeera kabaka; Aweereza nga kabona omukulu; Mukama akangavvula abantu be, era Abalamani bafuna ensi ey’e Keramu; Amuloni, omukulembeze wa bakabona ba kabaka Nuuwa ababi, afugira wansi wa kabaka w’Abalamani. Nga mu mwaka gwa 145–121 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Kaakano Aluma, bwe yamala okulabulwa Mukama nti amagye ga kabaka Nuuwa gajja kubalumba, era nga amaze okukimanyisa abantu be, n’olwekyo bakuŋŋaanya ebisibo byabwe awamu, era ne batwala ne ku mmere yaabwe ey’empeke, era ne bagenda mu lukoola okuviira amagye ga kabaka Nuuwa.

2 Era Mukama yabawa amaanyi, abantu ba kabaka Nuuwa ne balemererwa okubatuukako okubazikiriza.

3 Era badduka olugendo lwa nnaku munaana mu lukoola.

4 Era batuuka mu nsi, weewaawo, ensi ennungi ennyo era esikiriza, ensi ey’amazzi amayonjo.

5 Era ne basimba weema zaabwe, ne batandika okukabala ettaka, era ne batandika okuzimba ebizimbe; weewaawo, baali bayiiya, era baakola bya nsusso.

6 Era abantu baali bayayaana Aluma abeere kabaka waabwe, kubanga yali ayagalibwa abantu be.

7 Naye n’abagamba nti: Laba, tekigwanidde ffe okuba ne kabaka; kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti: Temutwalanga mubiri gumu okusinga omulala, oba omuntu omu teyeerowoozanga kusinga mulala; n’olwekyo kyenva mbagamba nti tekibagwanidde kuba na kabaka.

8 Wabula, singa kisoboka bulijjo okuba n’abasajja abenkanya okubeera bakabaka bammwe kyandibadde kirungi mmwe okuba ne kabaka.

9 Naye mujjukire obutali butuukirivu bwa kabaka Nuuwa ne bakabona be; era nze kennyini nnakwatibwa mu mutego, ne nkola ebintu bingi ebizira mu maaso ga Mukama, ebyandeetera okwenenya okw’amaanyi;

10 Wabula, oluvannyuma lw’okubonaabona okungi, Mukama yawulira emiranga gyange, n’addamu essaala zange, era n’anfuula ekikozesebwa mu mikono gye mu kuleeta bangi nnyo ku mmwe okumanya amazima ge.

11 Wabula, mu ekyo seegulumiza, kubanga sisaanidde kwegulumiza.

12 Era kaakano mbagamba nti munyigiriziddwa kabaka Nuuwa, era mubadde mu buddu eri ye ne bakabona be, era ne muleetebwa bo mu butali butuukirivu; n’olwekyo mwali musibiddwa n’emiguwa egy’obutali butuukirivu.

13 Era kaakano nga bwe muwonyezeddwa amaanyi ga Katonda okuva mu miguwa gino; weewaawo, ddala okuva mu mikono gya kabaka Nuuwa era n’abantu be, era nate okuva mu miguwa egy’obutali butuukirivu, era bwe ntyo njagala muyimirirewo nnyo mu mirembe gino mulyoke mufuulibwe ab’eddembe, era nti temukiriza muntu yenna kuba kabaka wa mmwe.

14 Era nate temukiriza muntu yenna kuba musomesa wammwe wadde omuweereza wammwe, okuggyako nga musajja wa Katonda, atambulira mu makubo ge era akuuma ebiragiro bye.

15 Bw’atyo Aluma bwe yayigiriza abantu be, nti buli muntu ayagale muliraanwa we nga ye, nti waleme kubaawo nnyombo mu bo.

16 Era kaakano, Aluma yali kabona waabwe omukulu, ye olw’okuba omutandisi w’ekkanisa yaabwe.

17 Era olwatuuka tewaali n’omu yafuna buyinza kubuulira oba okuyigiriza okuggyako nga bwava eri Katonda. N’olwekyo kyeyava atongoza bakabona baabwe bonna era n’abasomesa baabwe bonna; era tewaali n’omu kubatongozebwa okuggyako nga baali basajja benkanya.

18 N’olwekyo baakuuma abantu baabwe, era n’abaliisa ekigambo n’ebintu ebyekuusa ku butuukirivu.

19 Era olwatuuka ne batandika okukulaakulana ennyo mu nsi; era ensi ne bagituuma Keramu.

20 Era olwatuuka ne beeyongera nnyo obungi era ne bakulakulana bya nsusso mu nsi ey’e Keramu; era ne bazimba ekibuga, kye baayita ekibuga Keramu.

21 Wabula Mukama yalaba nga kisaanidde okukangavvula abantu be; weewaawo, agezesa obugumiikiriza bwabwe n’okukkiriza kwabwe.

22 Wabula; buli assa obwesige bwe mu ye oyo alisitulibwa ku lunaku olw’enkomerero. Weewaawo, era bwe kityo bwe kyali n’abantu bano.

23 Kubanga laba, nja kubalaga nti baleetebwa mu buddu, era tewali ayinza kubanunula wabula Mukama Katonda waabwe, weewaawo, ddala Katonda wa Ibulayimu ne Isaaka era owa Yakobo.

24 Era olwatuuka yabanunula, era yabalaga amaanyi ge amangi, era essanyu lyabwe lyali lingi.

25 Kubanga laba, kyatuuka bwe baali mu nsi ey’e Keramu, weewaawo, mu kibuga Keramu, nga balima ensi okwetooloola, laba eggye ly’Abalamani nalyo lyali mu nsalo z’ensi.

26 Kaakano olwatuuka baganda ba Aluma ne badduka okuva mu nnimiro zaabwe, era ne bakuŋŋaanira mu kibuga Keramu; era baatya nnyo olw’okulabikako kw’Abalamani.

27 Naye Aluma yagenda n’ayimirira wakati mu bo, n’abakubiriza nti tebalina kutya, wabula nti bajjukire Mukama Katonda waabwe era ajja kubanunula.

28 N’olwekyo bakkakkanya okutya kwabwe, ne batandika okuwanjagira Mukama nti agonze emitima gy’Abalamani, babasonyiwe, era ne bakazi baabwe, era n’abaana baabwe.

29 Era olwatuuka Mukama n’agonza emitima gy’Abalamani. Era Aluma era ne baganda be baafuluma ne beewaayo mu mikono gyabwe; era Abalamani ne batwala ensi ey’e Keramu.

30 Kaakano amagye g’Abalamani, agaali gagoberedde abantu ba kabaka Limuki, gaali gabulidde mu lukoola okumala ennaku nnyingi.

31 Era laba, baali basanze bakabona ba kabaka Nuuwa abo, mu kifo kye baayita Amuloni; era baali batandise okutwala ensi ya Amuloni era nga batandise okukabala ettaka.

32 Kaakano erinnya ly’omukulembeze wa bakabona abo yali Amuloni.

33 Era olwatuuka Amuloni ne yeegayirira Abalamani; era nate yatumayo abakazi baabwe, abaali bawala b’Abalamani, okwegayirira baganda baabwe, baleme okuzikiriza babbaabwe.

34 Era Abalamani baafuna okusaasira eri Amuloni ne baganda be, era tebabazikiriza, olw’abakazi baabwe.

35 Era Amuloni ne baganda be beegatta ku Balamani, era baali batambula mu lukoola nga banoonya ensi ey’e Neefi kwe kuzuula ensi ey’e Keramu, eyali etwalibwa Aluma ne baganda be.

36 Era olwatuuka Abalamani ne basuubiza Aluma ne baganda be, nti bwe banaabalaga ekkubo erigenda mu nsi ey’e Neefi nti baali bakubalekera obulamu bwabwe n’eddembe lyabwe.

37 Naye Aluma bwe yamala okubalaga ekkubo eryali ligenda mu nsi ey’e Neefi Abalamani tebatuukiriza kisuubizo kyabwe; naye ne bateeka abakuumi okwetooloola ensi ey’e Keramu, n’abawa obuyinza ku Aluma ne baganda be.

38 Era abaasigalawo ne bagenda mu nsi ey’e Neefi; era ekitundu ku bo ne baddayo mu nsi ey’e Keramu, era ne baleeta abakazi era n’abaana b’abakuumi abaali basigadde mu nsi.

39 Era kabaka w’Abalamani yali akkirizza Amuloni okuba kabaka era omufuzi eri abantu be, abaali mu nsi ey’e Keramu; wabula nga talina buyinza kukola kintu kyonna ekikontana n’ekigendererwa kya kabaka w’Abalamani.