Scriptures
Mosiya 15


Essuula 15

Engeri Kristo gy’alimu nga Kitaffe n’Omwana; Ajja kuwolereza n’okwetikka okusobya kw’abantu be; Bo ne bannabbi abatuukirivu bonna ly’ezzadde lye; Atuukiriza okuzuukira; Abaana abato balina obulamu obutaggwaawo. Nga mu mwaka gwa 148 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Era kaakano Abinadi n’abagamba nti: Nandyagadde mutegeere nti Katonda kennyini alikka wansi mu baana b’abantu, era alinunula abantu be.

2 Era kubanga abeera mu mubiri aliyitibwa Omwana wa Katonda, era ng’amaze okuwaayo omubiri eri okwagala kwa Kitaffe, nga ye Kitaffe era Omwana;

3 Kitaffe, kubanga yazaalibwa amaanyi ga Katonda; era Omwana, olw’omubiri; bw’atyo kwe kufuuka Kitaffe era n’Omwana;

4 Era bali Katonda omu, weewaawo, Kitaffe ow’olubeerera yennyini ow’eggulu era n’ensi.

5 Era bwe gutyo omubiri gugondera Omwoyo, oba Omwana eri Kitaawe, ababeera Katonda omu, ayita mu kukemebwa, era n’atagwa mu kukemebwa, naye agumira okusekererwa, era n’okukubwa, era n’agobebwa, era ne yeegaanibwa abantu be.

6 Era oluvannyuma lwa bino byonna, oluvannyuma lw’okukola ebyamagero bingi eby’amaanyi mu baana b’abantu, alikulemberwa, weewaawo, ddala nga Isaaya bwe yagamba, ng’endiga bwe tanyega mu maaso g’omusazi w’ebyoya, bw’atyo teyayasamya kamwa ke.

7 Weewaawo, wadde kiri kityo balimukulembera, akomererwe, era attibwe, omubiri gugondere ddala eri okufa, ekigendererwa eky’Omwana nga kubulidde mu kigendererwa ekya Kitaawe.

8 Era bw’atyo Katonda akutula emiguwa egy’okufa, ng’awangudde okufa; naawa omwana obuyinza okwegayirira ku lw’abaana b’abantu;

9 Ng’amaze okulinnya mu ggulu, ng’alina enda ey’ekisa; ng’ajjudde obusaasizi eri abaana b’abantu; ng’ayimiridde wakati waabwe n’obwenkanya; ng’amaze okukutula emiguwa egy’okufa, nga yeetisse obubi bwabwe n’okusobya kwabwe, ng’abanunudde, era nga atuukirizza ebyetaago eby’obwenkanya.

10 Era kaakano mbagamba nti, ani anaalangirira omulembe gwe? Laba, mbagamba, ng’omwoyo gwe gufuuliddwa ekiweebwayo olw’ekibi anaalaba ezzadde lye. Era kaakano mugamba ki mmwe? Era b’ani abaliba ezzadde lye?

11 Laba mbagamba, nti oyo yenna awulidde ebigambo bya bannabbi, weewaawo, bannabbi bonna abatuukirivu abawadde obunnabbi ku kujja kwa Mukama; mbagamba, nti abo bonna abawulidde ebigambo byabwe, era ne bakkiriza nti Mukama alinunula abantu be, era nga balindiridde olunaku olwo olw’okuggibwako ebibi byabwe, mbagamba, nti bano lye zzadde lye, oba be basika b’obwakabaka bwa Katonda.

12 Kubanga bano beebo ebibi byabwe bye yeetikka; bano beebo beyafiirira, okubanunula okuva mu kusobya kwabwe. Era kaakano, abo si zzadde lye?

13 Weewaawo, era si be bannabbi, buli omu eyayasamya akamwa ke okuwa obunnabbi, oyo atagudde mu nsobi, ntegeeza bannabbi abatuukirivu bonna okuva ensi lwe yatandika? Mbagamba nti abo zzadde lye.

14 Era bano be bo abalangiridde emirembe, abaleese amawulire amalungi ag’obulungi, abalangiridde obulokozi; era ne bagamba Sayuuni nti: Katonda wo afuga!

15 Era ddala nga byaali birungi ku nsozi ebigere byabwe!

16 Era nate, nga birungi ku nsozi ebigere by’abo abakyalangirira emirembe!

17 Era nate, nga birungi ku nsozi ebigere by’abo oluvannyuma lwa wano abalirangirira emirembe, weewaawo, okuva mu kiseera kino era n’oluberera!

18 Era laba, mbagamba nti, bino si bye byonna. Kubanga ddala nga birungi ku nsozi ebigere by’oyo aleeta amawulire amalungi, oyo ye mutandisi w’emirembe, weewaawo, ddala Mukama, anunudde abantu be; weewaawo, oyo awadde abantu be obulokozi;

19 Kubanga singa si lwa kununulibwa kw’akoledde abantu be, okwategekebwa okuva ku musingi gw’ensi, mbagamba nti, singa si lwa kino, abantu bonna bandizikiridde.

20 Naye laba, emiguwa egy’okufa girikutulibwa, era Omwana afuge, era alina obuyinza ku bafu; n’olwekyo, atuukiriza okuzuukira okw’abafu.

21 Era wajjawo okuzuukira, ddala okuzuukira okw’olubereberye ; weewaawo, ddala okuzuukira kw’abo ababaddewo, era n’abaliwo, era n’abo abalibaawo, ddala n’okutuuka ku kuzuukira kwa Kristo; kubanga bw’atyo bw’aliyitibwanga.

22 Era kaakano, okuzuukira kwa bannabbi bonna, era n’abo bonna abakkiririzza mu bigambo byabwe, oba abo bonna abakuumye ebiragiro bya Katonda, balizuukira mu kuzuukira okw’olubereberye; n’olwekyo, bo kwe okuzuukira okw’olubereberye.

23 Bazuukizibwa okubeera ne Katonda oyo abanunudde; bwe batyo balina obulamu obutaggwaawo okuyitira mu Kristo, oyo akuttudde emiguwa egy’okufa.

24 Era bano bebo abalina ekitundu mu kuzuukira okw’olubereberye ; era bano bebo abafudde nga Kristo tannajja, mu butamanya bwabwe, ng’obulokozi tebulangiriddwa gye bali. Era bw’atyo Mukama n’aleeta okuzzibwawo kwa bano; era balina ekitundu mu kuzuukira okw’olubereberye, oba okuba n’obulamu obutaggwaawo, nga banunuliddwa Mukama.

25 Era abaana abato nabo balina obulamu obutaggwaawo.

26 Naye mulabe, era mutye, era mukankane mu maaso ga Katonda, kubanga mulina okukankana; kubanga Mukama talinunula abo bonna ab’amujeemera era ne bafiira mu bibi byabwe; weewaawo, ddala abo bonna abaazikiridde mu bibi byabwe okuva ensi lwe yatandika, abo abajeemedde Katonda mu bugenderevu, abategedde ebiragiro bya Katonda, era tebabikuumye; bano bebo abatalina kitundu mu kuzuukira okw’olubereberye.

27 N’olwekyo tekisaanidde mmwe okukankana? Kubanga obulokozi tebujja eri ab’alinga abo; kubanga Mukama tanunundde balinga abo; weewaawo, era Mukama tasobola kununula balinga abo; kubanga tayinza kwegaana ki kyali; kubanga tasobola kugaana bwenkanya nga bwetaagisibwa.

28 Era kaakano mbagamba nti ekiseera kirituuka obulokozi bwa Mukama bulirangirirwa eri buli ggwanga, ekika, olulimi, n’abantu.

29 Weewaawo, Mukama, abakuumi bo baliyimusa eddoboozi lyabwe; baliyimbira wamu mu ddoboozi; kubanga baliraba maaso ku maaso, Mukama nate bw’alikomyawo Sayuuni.

30 Mubagukire waggulu mu sanyu, muyimbire wamu, mmwe ebifo eby’e Yerusaalemi ebyazika; kubanga Mukama akubagizza abantu be, anunudde Yerusaalemi.

31 Mukama afungizizza omukono gwe omutukuvu mu maaso g’amawanga gonna; era enkomerero zonna ez’ensi ziriraba obulokozi bwa Katonda waffe.