Scriptures
Mosiya 17


Essuula 17

Aluma akkiriza era awandiika ebigambo bya Abinadi; Abinadi bw’atyo afa omuliro; Awa obunnabbi ku bulwadde n’okufa okw’omuliro ku bamutemula. Nga mu mwaka gwa 148 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Era kaakano olwatuuka Abinadi bwe yali amaze okwogera bino, kabaka n’alagira bakabona bamutwale alyoke attibwe.

2 Naye mu bo mwalimu omu eyali ayitibwa Aluma, naye nga muzzukulu wa Neefi. Era yali muvubuka muto, era y’akkiriza ebigambo Abinadi bye yali ayogedde, kubanga yali amanyi ebikwata ku bubi Abinadi bwe yali abawaddeko obujulizi; n’olwekyo yatandika okwegayirira kabaka obutabeera munyiivu eri Abinadi, wabula amuleke asobole okugenda mu mirembe.

3 Naye kabaka yali musunguwavu nnyo, era n’alagira Aluma okugobebwa okubavamu, era n’atuma abaddu be okumugoberera basobole okumutta.

4 Naye y’abaddukako era ne yeekweka baleme okumuzuula. Era bwe yali yekweese okumala ennaku nnyingi yawandiika ebigambo byonna Abinadi bye yali ayogedde.

5 Era olwatuuka kabaka n’alagira abakuumi be okwetooloola Abinadi era bamutwale; era bamusiba ne bamukasuka mu kkomera.

6 Era oluvannyuma olw’ennaku ssatu, nga amalirizza okwebuuza ku bakabona be, n’alagira addemu okuleetebwa mu maaso ge.

7 Era n’amugamba nti: Abinadi, tukizudde nga ovunaanibwa omusango, era ogwaanidde okufa.

8 Kubanga ogambye nti Katonda yennyini alina okukka mu baana b’abantu; era kaakano, olw’ensonga eno ogenda kuttibwa okuggyako ng’omenyewo ebigambo byonna by’oyogedde ebibi ebikwata ku nze n’abantu bange.

9 Kaakano Abinadi yamugamba nti: Nkugamba nti, sijja kumenyawo bigambo bye njogeddeko gye muli ebikwata ku bantu bano, kubanga bituufu; era mmwe olw’okusobola okumanya obutuufu bwabyo kyenvudde newaddeyo mu mikono gyammwe.

10 Weewaawo, era nja kubonaabona ddala okutuusa okufa, era sijja kumenyawo bigambo byange, era binayimirirawo ng’obujulizi gye muli. Era singa munanzita mujja kuba muyiye omusaayi ogutalina musango, era kino nakyo kinaayimirirawo ng’obujulizi gye muli ku lunaku olusembayo.

11 Era kaakano kabaka Nuuwa yali anaatera okumuleka agende, kubanga yali atidde ekigambo kye; kubanga yatya nti ebibonerezo bya Katonda byandimutuukako.

12 Naye bakabona ne bayimusa waggulu amaloboozi gaabwe nga bamuwakanya, era ne batandika okumulumiriza, nga bagamba nti: Avodde kabaka. N’olwekyo kabaka yasiikulwa mu busungu gy’ali, era n’amuwaayo attibwe.

13 Era olwatuuka ne bamutwala era ne bamusiba, era ne bakuba olususu lwe n’ensekese z’enku, weewaawo, ddala okutuusa okufa.

14 Era kaakano ennimi ez’omuliro bwe zaatandika okumuyokya, n’abakaabira ng’agamba nti:

15 Laba, ddala nga bwe mukinkoze, bwe kityo bwe kirituukirira nga ezzadde lya mmwe lirireetera bangi okubonaabona obulumi bwembonaabona, ddala obulumi obw’okufa omuliro; era kino kubanga bakkiririza mu bulokozi bwa Mukama Katonda waabwe.

16 Era kijja kutuukirira nti mulibonaabona n’endwadde ez’engeri zonna olw’obubi bwammwe.

17 Weewaawo, era mulikubibwa ku buli mukono, era muligobebwa era ne musaasaanyizibwa ebuvo n’ebuddo, nga ekisibo eky’omu nsiko bwe kigobebwa ensolo ez’omu nsiko era enkambwe ddala.

18 Era mu lunaku olwo mujja kuyiggibwa, era mulitwalibwa omukono gw’abalabe bammwe, era olwo mulibonaabona, nga bwembonaabona, obulumi obw’okufa omuliro.

19 Bw’atyo Katonda atuukiriza okuwoolera ku abo abazikiriza abantu be. Ayi Katonda, yaniriza omwoyo gwange.

20 Era kaakano, Abinadi bwe yali ayogedde ebigambo bino, n’agwa, nga yafa omuliro; weewaawo, nga yattibwa kubanga yagaana okwegaana biragiro bya Katonda, ng’amaze okukakasa amazima g’ebigambo bye n’okufa kwe.