Scriptures
Mosiya 4


Essuula 4

Kabaka Benyamini agenda mu maaso n’okwogera kwe; Obulokozi bujja olw’Omutango; Mukkiririze mu Katonda mulokolebwe; Musigaze okusonyiyibwa ebibi byammwe okuyita mu bukkiriza; Gabira abaavu kw’ekyo kye mulina; Mukole ebintu byonna mu magezi n’ennambika. Nga mu mwaka gwa 124 Kristo tannazaalibwa.

1 Era kaakano, olwatuuka kabaka Benyamini bwe yamala okwogera ebigambo ebyali bimuweereddwa malayika wa Mukama, n’ayisa amaaso ge okwetooloola enkuyanja y’abantu, era laba baali bagudde ku ttaka, kubanga okutya kwa Mukama kwali kubatuuseeko.

2 Era baali beerabye mu mbeera yaabwe ey’omubiri, ddala n’okusinga enfuufu y’ensi. Era bonna ne bawanjaga mu ddoboozi limu, nga bagamba nti: Ayi beera n’okusaasira, era okozese omusaayi gwa Kristo ogw’okutangirira tufune okusonyiyibwa ebibi byaffe, era n’emitima gyaffe giryoke girongoosebwe; kubanga tukkiririza mu Yesu Kristo, Omwana wa Katonda, eyatonda eggulu era n’ensi, era n’ebintu byonna; alikka mu baana b’abantu.

3 Era olwatuuka nga bamaze okwogera ebigambo bino Omwoyo wa Mukama n’abajjako, era baali bajjuziddwa essanyu, olw’okufuna okusonyiyibwa kw’ebibi byabwe, era nga bafunye emirembe mu ndowooza, olw’okukkiriza okuyitiridde kwe baalina mu Yesu Kristo eyali agenda okujja, okusinziira ku bigambo kabaka Benyamini bye yali ayogedde gye bali.

4 Era kabaka Benyamini nate n’ayasamya akamwa ke n’atandika okwogera nabo, ng’agamba nti: Mikwano gyange era ne baganda bange, ab’ekika kyange era n’abantu bange, nate nja kusaba okufaayo kwammwe, mulyoke muwulire era mutegeere ebigambo byange ebisigaddeyo bye n’abagamba.

5 Kubanga laba, singa okumanya obulungi bwa Katonda mu kiseera kino kubazuukusizza okutegeera nti temulina kye muli, era n’embeera yo ey’obutaba na mugaso era n’okugwa;

6 Mbagamba nti, oba nga mutuuse ku kumanya obulungi bwa Katonda, era n’amaanyi ge agatenkanika, era n’amagezi ge, era n’obugumiikiriza bwe, era n’okugumiikiriza kwe okugundiivu eri abaana b’abantu; era nate, omutango ogwategekebwa okuviira ddala ku musingi ogw’ensi, olwo obulokozi busobole okutuuka eri oyo anassa obwesige bwe mu Mukama, era alina okunyiikira okukuuma ebiragiro bye, era n’okunywerera mu kukkiriza ddala okutuusa ku nkomerero y’obulamu bwe, ntegeeza obulamu bw’omubiri ogufa;

7 Ngamba, nti ono ye muntu afuna obulokozi, okuyitira mu mutango ogwategekebwa okuviira ddala ku musingi ogw’ensi olw’abantu bonna, abaaliwo okuva ku kugwa kwa Adamu, oba abaliwo, oba yenna alibaawo, ddala okutuuka ku nkomerero y’ensi.

8 Era eno y’engeri obulokozi gye bujja. Era tewali bulokozi bulala okuggyako buno obwogeddwako; so tewali bukwakkulizo bwonna omuntu mw’ayinza okulokolebwa okuggyako obukwakkulizo bwe mbagambye.

9 Mukkirize mu Katonda; mukkirize nti ali, era nti yatonda ebintu byonna, wombi mu ggulu era ne mu nsi; mukkirize nti alina amagezi gonna, era n’amaanyi gonna, wombi mu ggulu era ne mu nsi; mukkirize nti omuntu tategeera bintu byonna Mukama by’asobola okutegeera.

10 Era nate, mukkirize nti mulina okwenenya ebibi byammwe era mubireke, era mwetoowaze mu maaso ga Katonda; era musabe mu bwesimbu mu mutima nti anabasonyiwa; era kaakano, singa mukkiriza ebintu bino byonna mulabe nti mubikola.

11 Era nate mbagamba nga bwe nnabagamba, nti nga bwe mutuuse ku kumanya ekitiibwa kya Katonda, oba singa mutegedde obulungi bwe era ne muloza ku kwagala kwe, era ne mufuna okusonyiyibwa kw’ebibi byammwe, ekireeta essanyu erisukkiridde bwe lityo mu myoyo gyammwe, ddala bwe ntyo bwe nandyagadde mujjukire, era bulijjo musigale mu kujjukira, obukulu bwa Katonda, n’okubeera kwammwe nga temulina kye muli, era n’obulungi bwe era n’okugumiikiriza kwe okugundiivu gye muli, mwe ebitonde ebitasaana, era mwetoowalize ddala mu bwetoowaze obunnyikidde, nga mukoowoola erinnya lya Mukama buli lunaku, era nga temulina kubuusabuusa mu kukkiriza kw’ebyo ebirijja, ebyo ebyayogerwa akamwa ka malayika.

12 Era laba, mbagamba nti singa munaakola kino mujja kusanyuka bulijjo, era mujjuzibwe okwagala kwa Katonda, era lubeerera musigaze okusonyiyibwa kw’ebibi byammwe; era mulikula mu kumanya ekitiibwa ky’oyo eyabatonda, oba mu kumanya ebyo eby’obwenkanya era ebituufu.

13 Era temuliba na kigendererwa kya kwetuusaako buvune, wabula okubeera mu mirembe, n’okuwa buli muntu okusinziira kw’ekyo ekimugwanidde.

14 Era temukkiriza baana bammwe kulumwa njala, oba okubeera obukunya; so temubalekanga kusobya mateeka ga Katonda, era n’okulwana era n’okuyombagana ne bannaabwe, era n’okuweereza setaani, oyo mukama w’ekibi, oba oyo omwoyo omubi ogwayogerwako bajjajjaffe, ye okubeera nga ye mulabe w’obutuukirivu bwonna.

15 Naye mmwe munaabayigiriza okutambulira mu makubo ag’amazima era n’obutebenkevu; munaabayigiriza okwagalana, era n’okuweerezagana.

16 Era nate, mmwe bennyini mujja kuyamba abo abali mu bwetaavu bw’obuyambi bwammwe; munaagabira oyo ali mu bwetaavu ku bintu byammwe; so temulikkiriza omusabirizi okuwaayo okusaba kwe gye muli nateganira obwerere, ne mumuleka okuzikirira.

17 Mpozzi munaŋŋamba nti: Omusajja ye yereetera ennaku ye; n’olwekyo sirigolola mukono gwange, era sirimuwa ku mmere yange, wadde okumugabira ku bintu byange nti aleme okubonaabona, kubanga ebibonerezo bye, bya bwenkanya;

18 Naye nze mbagamba, wattu abantu, buli akola bw’atyo alina ensonga ennene okwenenya; era okuggyako nga yenenyezza ekyo ky’aba akoze azikirira olubeerera, era talina mugabo mu bwakabaka bwa Katonda.

19 Kubanga laba, ffenna tetuli basabirizi? Ffenna tetwesigamye ku Kitonde kimu, ddala Katonda, olw’ebintu byonna bye tulina, olw’emmere era n’engoye, era ne zaabu, era ne ffeeza, era n’obugagga bwonna bwe tulina obwa buli ngeri?

20 Era laba, ne mu kiseera kino, mubadde mukoowoola erinnya lye, era nga musabirizza abasonyiwe ebibi byammwe. Era nti abalese musabirize nga muteganira bwerere? Nedda; abayiyeeko Omwoyo we, era n’aleetera emitima gyammwe okujjula essanyu, era yaleetera emimwa gyammwe okuziyizibwa nti mwalemererwa okwogera, bwe kityo essanyu lyammwe lyali ddene nnyo.

21 Era kaakano, singa Katonda, eyabatonda, gwe mwesigamyeko olw’obulamu bwammwe era n’ebyo byonna bye mulina era ne kye muli, abawa buli kye musaba ekituufu, mu kukkiriza, nga mukkiriza nti mujja kufuna, Wattu kale, nga musaanidde okugabana ku bintu bye mulina ne bannammwe.

22 Era singa mulamula omuntu awadeyo okusaba kwe gye muli olw’obuyambi bwammwe aleme okuzikirira, era ne mumusalira omusango, nga kinaaba kya bwenkanya nnyo n’okusingawo mmwe okusalirwa omusango olw’okulemera eby’obugagga byammwe, ebitali na byammwe wabula ebya Katonda, nga n’obulamu bwammwe ye nnyini bwo; so nga temussaayo kusaba, newakubadde okwenenya olw’ekintu kye mukoze.

23 Mbagamba nti, zimusanze omuntu oyo, kubanga ebintu bye birizikirira wamu naye; era kaakano, ebigambo bino mbigamba abo abagagga nga bwe kikwata ku bintu eby’ensi eno.

24 Era nate, ngamba abaavu, mmwe abatalina so nga ate mulina ekimala, nti mubeerawo lunaku ku lunaku; ntegeeza mmwe mwenna abeegaana omusabirizi, kubanga temulina; njagala mugambe mu mitima gyammwe nti: Sigaba kubanga sirina, naye singa mbadde nnina nandibadde ngaba.

25 Era kaakano, singa mwogera kino mu mitima gyammwe musigala nga temulina musango, bwe kitaba ekyo musalirwa omusango; era n’okusalirwa omusango kwammwe kwa bwenkanya kubanga mwegomba ebyo bye muttannafuna.

26 Era kaakano, olw’ebintu bino bye njogedde gye muli; kwe kugamba, olw’okusigaza okusonyiyibwa kw’ebibi byammwe lunaku ku lunaku, musobole okutambula nga temulina musango mu maaso ga Katonda; nandyagadde mugabane ku bintu byammwe n’abaavu, buli muntu okusinziira kw’ebyo by’alina, gamba ng’okuliisa abalumwa enjala, okwambaza abali obukunya, okulambula abalwadde era n’okubawa obuweerero, byombi mu by’omwoyo ne mu by’omubiri, okusinziira ku bye baagala.

27 Era mulabe ng’ebintu bino byonna bikolebwa mu magezi n’ennambika; kubanga tekyetaagisa muntu kudduka mangu okusinga amaanyi g’alina. Era nate, kimugwanidde okuba omunyiikivu, nti awo alyoke asobole okuwangula ekirabo; n’olwekyo, ebintu byonna birina okukolebwa mu nnambika.

28 Era nandyagadde mujjukire, nti oyo yenna mu mmwe eyeewola ku muliraanwa we, alina okuzzaayo ekyo kye yeewola, okusinziira nga bwe yalagaana, oba si ekyo gwe ojja kuba ng’oyononye; era mpozzi oleetere ne muliraanwa wo naye okwonoona.

29 Era ekisembayo, siyinza kubabuulira bintu byonna nga bwe muyinza okukola ekibi; kubanga waliwo empenda n’engeri ez’enjawulo, ddala nnyingi nnyo nti sisobola kuzibala.

30 Naye kino kye nsobola okubagamba, nti singa temwetambulizaako maaso, era n’ebirowoozo byammwe, era n’ebigambo byammwe, era n’ebikolwa byammwe, era ne mukuuma ebiragiro bya Katonda, era ne mweyongera mu kukkiriza ebyo bye muwulidde ebikwata ku kujja kwa Mukama waffe, ddala okutuuka ku nkomerero y’obulamu bwammwe, muteekwa okuzikirira. Era kaakano, wattu abantu, mujjukiranga, era muleme okuzikirira.