Scriptures
Mosiya 1


Ekitabo kya Mosiya

Essuula 1

Kabaka Benyamini ayigiriza batabani be olulimi n’obunnabbi bwa bakitaabwe; Eddiini yaabwe n’obugunjufu bwabwe bikuumiddwa olw’ebiwandiiko ebikuumiddwa ku mbaati ez’enjawulo; Mosiya alondebwa nga kabaka era n’aweebwa obuvunanyizibwa obw’okulabirira ebiwandiiko n’ebintu ebirala. Nga mu mwaka gwa 130–124 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Era kaakano tewaaliwo kunen󠅋eŋŋana nate mu nsi yonna ey’e Zalakemula, mu bantu bonna abaali aba kabaka Benyamini, bw’atyo kabaka Benyamini yalina emirembe egitatadde ennaku ze zonna ze yali asigazzawo.

2 Awo olwatuuka yazaala abaana basatu ab’obulenzi; n’abatuuma amannya gaabwe, Mosiya, era ne Kerolaamu, era ne Keramani. Era n’alagira nti balina okubayigiriza ku nnimi zonna eza bajjajjaabe, basobole okufuuka abasajja abategeevu; era balyoke bamanye ebikwata ku bunnabbi obwayogerwa emimwa gya bajjajjaabwe, obwabaweebwa omukono gwa Mukama.

3 Era nate yabayigiriza ebikwata ku biwandiiko ebyayolebwa ku mbaati ez’ekikomo, ng’agamba nti: Batabani bange, nandyagadde mujjukire nti singa si mbaati zino, eziriko ebiwandiiko bino n’ebiragiro bino, twandibonaabonedde mu butamanya, ddala mu kiseera kino, nga tetumanyi byekusifu bya Katonda.

4 Kubanga tekyandisobose kitaffe, Leki, okujjukira ebintu bino byonna, okubiyigiriza abaana be, okuggyako nga yayambibwako embaati zino; kubanga ye nga ayigiriziddwa ku lulimi lw’Abamisiri n’olwekyo yali asobola okusoma ebyoole bino, era n’abiyigiriza abaana be, nti mu ngeri eyo ne basobola okubiyigiriza abaana baabwe, era bwe batyo nga batuukiriza ebiragiro bya Katonda, n’okutuusa mu kiseera kino.

5 Mbagamba, batabani bange, singa si bintu bino, ebiterekeddwa era ne bikuumibwa omukono gwa Katonda, nti tusobole okusoma n’okutegeera ebyekusifu bye, era n’okubeera n’ebiragiro bye bulijjo mu maaso gaffe, nti ne bakitaffe bandibulidde mu butakkiriza, era twandibadde nga baganda baffe, Abalamani, abatalina kye bamanyi ku bintu bino, oba ddala abatabikkiriza nga bibayigirizibwa, olw’ennono za bakitaabwe, ezitali ntuufu.

6 Wattu abaana bange, nandyagadde mujjukire nti ebigambo bino bituufu, era nate nti ebiwandiiko bino bituufu. Era laba, nate embaati za Neefi, eziriko ebiwandiiko n’ebigambo bya bajjajjaffe okuva lwe baava e Yerusaalemi okutuusa kaakano, era ntuufu; era tusobola okumanya obukakafu bwazo kubanga tuzirina mu maaso gaffe.

7 Era kaakano, batabani bange, nandyagadde mujjukire okubinoonyereza n’obunyiikivu, mulyoke mubiganyulwemu; era nandyagadde mukuumenga ebiragiro bya Katonda, mulyoke mukulaakulane mu nsi okusinziira ku bisuubizo Mukama bye yakola eri bajjajjaffe.

8 Era n’ebintu ebirala bingi kabaka Benyamini bye yayigiriza batabani be, ebitawandiikiddwa mu kitabo kino.

9 Era olwatuuka kabaka Benyamini bwe yamaliriza okuyigiriza batabani be, yatuuka n’akaddiwa, n’alaba ng’anatera okugenda mu kkubo eriyingira ettaka; n’olwekyo, yalowooza nti kisaanidde okuwaayo obwakabaka eri omu ku batabani be.

10 N’olwekyo, yalagira Mosiya okuleetebwa mu maaso ge; era bino bye bigambo bye yamugamba, ng’agamba nti: Mutabani wange, nandyagadde olangirire mu nsi eno yonna wakati mu bantu bano bonna, oba abantu ba Zalakemula, era n’abantu ba Mosiya ababeera mu nsi, olwo basobole okukuŋŋaanyizibwa awamu; kubanga enkeera nja kulangirira eri abantu bange bano n’akamwa kange nti ggwe kabaka era omufuzi w’abantu bano, abo Mukama Katonda waffe batuwadde.

11 Era ate, nja kuwa abantu bano erinnya, basobole okwawulwa ku bantu bonna Mukama Katonda be yaggya mu nsi ey’e Yerusaalemi; era kino nkikola kubanga babadde bantu banyiikivu mu kukuuma ebiragiro bya Mukama.

12 Era mbawa erinnya eritalisangulwawo, okuggyako nga kuliba kuyita mu kusobya.

13 Weewaawo, era ate mbagamba, nti singa abantu ba Mukama bano abajjudde ennyo obuganzi banaagwa mu nsobi, ne bafuuka abantu ababi era abenzi, nti Mukama alibawaayo, nti olwo banafuwe nga baganda baabwe; era tajja kuddamu kubakuuma n’amaanyi ge agatenkanika era ag’ekitalo, nga bwe yakuuma n’okutuusa kati bajjajjaffe.

14 Kubanga mbagamba, nti singa teyagolola mukono gwe mu kukuuma bajjajjaffe mazima ddala bandigudde mu mikono gy’Abalamani, era ne bafuuka abakoseddwa olw’obukyayi bwabwe.

15 Era olwatuuka oluvannyuma kabaka Benyamini nga akoze okufundikira kw’ebigambo bino eri mutabani we, olwo n’amuwa obuvunanyizibwa ku bikwata ku nsonga zonna ez’obwakabaka.

16 Era ate, yamuwa nate obuvunanyizibwa ku biwandiiko ebyayolebwa ku mbaati ez’ekikomo; era n’embaati za Neefi; era nate, ekitala kya Labani, era n’omupiira oba endagabwolekero, eyakulembera bajjajjaffe okuyita mu lukoola, eyategekebwa omukono gwa Mukama olwo basobole okukulemberwa, buli muntu okusinziira ku kufaayo era n’obunyiikivu bye baamuwa.

17 N’olwekyo, nga bwe bataali beesigwa tebakulaakulana wadde okweyongerayo mu lugendo lwabwe, wabula bazibwa emabega, ne batusiibwaako obusungu bwa Katonda; era kyebaava bakubibwa n’enjala n’ebibonoobono ebizito ennyo, okubasiikuula bajjukire obuvunanyizibwa bwabwe.

18 Era kaakano, olwatuuka nti Mosiya yagenda n’akola nga kitaawe bwe yali amulagidde, era n’alangirira eri abantu bonna abaali mu nsi y’e Zalakemula basobole okwekuŋŋaanyiza awamu, okwambuka ku yeekaalu okuwulira ebigambo kitaawe by’alina okwogera gye bali.