Essuula 7
Amoni asanga ensi ya Leki-Neefi, Limuki gye yali kabaka; Abantu ba Limuki bali mu buddu eri Abalamani; Limuki annyonnyola ebyafaayo byabwe; Nnabbi (Abinadi) yali awadde obujulizi nti Kristo ye Katonda era Taata w’ebintu byonna; Abo abasiga obucaafu bakungula empewo, era n’abo abateeka obwesige bwabwe mu Mukama bajja kulokolebwa. Nga mu mwaka gwa 121 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era kaakano, olwatuuka kabaka Mosiya oluvannyuma lw’okufuna emirembe egitatadde okumala emyaka esatu, yali ayayaana okumanya ebikwata ku bantu abaayambuka okubeera mu nsi ya Leki-Neefi, oba mu kibuga Leki-Neefi; kubanga abantu be baali tebabawulizanga okuva lwe baava mu nsi ya Zalakemula; n’olwekyo, bamweraliikiriza n’okwemulugunya kwabwe.
2 Era olwatuuka kabaka Mosiya n’akkiriza abasajja baabwe ab’amaanyi kkumi na mukaaga okwambuka mu nsi ya Leki-Neefi, okubuuliriza ebikwata ku baganda baabwe.
3 Era olwatuuka enkeera ne batandika okulinnya, nga bali wamu ne Amoni, eyali omusajja ow’amaanyi era ow’ekiwago, era nga muzzukulu wa Zalakemula; era ye yali omukulembeze waabwe.
4 Era kaakano, baali tebamanyi kkubo ki lye balina okukwata mu lukoola okwambuka mu nsi ya Leki-Neefi; n’olwekyo baataambula ennaku nnyingi mu lukoola, era baaweza ennaku amakumi ana nga batambula.
5 Era bwe baali batambudde okumala ennaku amakumi ana ne batuuka ku lusozi, oluli mu bukiika obwa kkono obw’ensi y’e Siromu, era eyo gye baasimba weema zaabwe.
6 Amoni n’atwala baganda be basatu, era amannya gaabwe gaali Amaleki, Keremu, ne Keemu, ne bakkirira mu nsi ya Neefi.
7 Era laba, basisinkana kabaka w’abantu abaali mu nsi ya Neefi, ne mu nsi ya Siromu; era nga baali beetooloddwa abakuumi ba kabaka, era ne batwalibwa, era ne basibibwa, era ne bateekebwa mu kkomera.
8 Era olwatuuka bwe baali nga bamaze mu komera ennaku bbiri baddamu nate okuleetebwa mu maaso ga kabaka, era emiguwa gyaabwe ne gisumululwa; era ne bayimirira mu maaso ga kabaka, era ne bakkirizibwa, oba ŋŋambe babalagira, nti balina okuddamu ebibuuzo by’alina okubabuuza.
9 Era n’abagamba nti: Laba, nze Limuki, mutabani wa Nuuwa, eyali mutabani wa Zeniffu, eyava mu nsi ey’e Zalakemula okusikira ensi eno, eyali ensi ya bakitaabwe, eyafuulibwa kabaka olw’eddoboozi ly’abantu.
10 Era kaakano, njagala okumanya ensonga eyakuwadde obuvumu obungi ennyo okusembera okumpi ne bbugwe w’ekibuga, nga nze, kennyini, naliwo n’abakuumi bange wa bweru wa wankaaki?
11 Era kaakano, ku lw’ensonga eno nnakkiriza mukuumibwe, olwo nsobole okubabuulirizaako, oba si ekyo nandibadde nalagidde dda abakuumi bange okubatta. Mukkiriziddwa okwogera.
12 Era kaakano, Amoni bwe yalaba ng’akkiriziddwa okwogera, n’agenda mu maaso n’avuunnama mu maaso ga kabaka; era mu kusituka nate n’agamba nti: Ayi kabaka, nneebaza nnyo Katonda ku lunaku luno nti nkyali mulamu, era nzikkiriziddwa okwogera; era nja kufuba okwogera n’obuvumu;
13 Kubanga nkakasa nti singa wabadde ontegedde tewaalikkiganyizza nti nsibibwe emiguwa gino. Kubanga nze Amoni, era ndi muzzukulu wa Zalakemula, era nzize okuva mu nsi ey’e Zalakemula okubuuliriza ku bikwata ku baganda baffe, abo Zeniffu be yaleeta okuva mu nsi eyo.
14 Era kaakano, olwatuuka oluvannyuma lwa Limuki okuwulira ebigambo bya Amoni, yasanyuka nnyo eby’ensusso, era n’agamba nti: Kaakano, mmanyi amazima ddala nti baganda bange abaali mu nsi y’e Zalakemula bakyali balamu. Era kaakano, nja kujjaguza; era enkeera nja kukunga abantu bange nabo bajjaguze.
15 Kubanga laba, tuli mu buddu eri Abalamani, era tusoloozebwako omusolo omukakali okusasulwa. Era kaakano, laba, baganda baffe bajja kutununula okuva mu buddu bwaffe, oba okuva mu mikono gy’Abalamani, era tujja kuba baddu baabwe; kubanga kisingako okubeera abaddu eri Abaneefi okusinga okusassula omusolo eri kabaka w’Abalamani.
16 Era kaakano, kabaka Limuki n’alagira abakuumi be obutaddamu kusiba Amoni wadde baganda be, naye n’abagamba bagende ku lusozi olwali mu bukiika obwa kkono bwa Siromu, era baleete baganda baabwe mu kibuga, mu ngeri eyo basobole okulya, era n’okunywa, era bawummule okuva mu bukoowu olw’olugendo lwabwe; kubanga baali ba bonyaabonyezeddwa ebintu bingi; baabonyaabonyezebwa enjala, ennyonta era n’obukoowu.
17 Era kaakano, olwatuuka enkeera kabaka Limuki n’asindika ekirangiriro mu bantu be bonna, mu ngeri eyo balyoke bakuŋŋaanire wamu ku yeekaalu, okuwulira ebigambo bye yalina okubagamba.
18 Era olwatuuka bwe baali bakuŋŋaanidde awamu n’ayogera gye bali mu ngeri eno, ng’agamba nti: Abange mmwe, abantu bange, muyimuse emitwe gyammwe waggulu era mugume emitima; kubanga laba, ekiseera kiri kumpi, oba tekiri wala nnyo, lwe tunabeera nga tetukyali wansi w’omukono gw’abalabe baffe, wadde nga tuyise mu kubonaabona okungi, okubadde okuteganira obwereere; naye nzikiriza nti wakyaliwo okulwana okw’amaanyi ennyo okukyalina okolebwa.
19 N’olwekyo, muyimuse emitwe gyammwe waggulu, era musanyuke, era muteeke obwesige bwammwe mu Katonda, mu Katonda eyali Katonda wa Ibulayimu, era ne Isaaka, era ne Yakobo; era nate, Katonda oyo eyaggya abaana ba Isiraeri mu nsi ey’e Misiri, era n’abasobozesa okutambula okuyita mu nnyanja emmyufu ku ttaka ekkalu, era n’abaliisa emaanu baleme okusaanawo mu lukoola; era n’ebintu ebirala bingi bye yabakolera.
20 Era nate, Katonda oyo y’omu aleese bakitaffe okuva mu nsi y’e Yerusaalemi, era akuumye era n’ataliza abantu be n’okutuusa kati; era laba, olw’obubi bwaffe era n’ebizira kyavudde atuleeta mu buddu.
21 Era mmwe mwenna muli bajulizi ku lunaku luno, nti Zeniffu, eyafuulibwa kabaka eri abantu bano, ye olw’okuyayaana okungi ennyo okusikira ensi ya bakitaabe, n’olwekyo nga alimbibwalimbibwa obukodyo n’obukujjukujju bwa kabaka Lamani, oluvannyuma lw’okulagaana endagaano ne kabaka Zeniffu, era nga amaze okuwaayo mu mikono gye ekitundu ky’ensi, oba ddala ekibuga kya Leki-Neefi; era n’ekibuga Siromu; era n’ettaka okubyetoloola;
22 Era bino byonna yabikola, olw’ekigendererwa kimu kyokka eky’okuleeta abantu bano mu buwambe oba mu buddu. Era laba, ffe mu kiseera kino tusasula omusolo eri kabaka w’Abalamani, ku muwendo gw’ekitundu kimu ekya kasooli waffe, era n’omuweemba gwaffe, era ddala n’emmere yaffe ey’empeke eza buli ngeri, era n’ekitundu kimu ekyeyongerako mu bungi bw’ebisibo era n’amagana gaffe; era ddala n’ekitundu kimu ku byonna bye tulina oba bye tulinako obwannannyini kabaka w’Abalamani byatugerekedde, oba okufiirwa obulamu bwaffe.
23 Era kaakano, kino si kya bulumi bungi okugumiikirizika? Era kino si, kwe kubonyaabonyezebwa kwaffe, okukambwe? Kaakano laba, nga nsonga nkulu gye tulina okukungubaga.
24 Weewaawo, mbagamba nti, ensonga ze tulina okukungubaga nkulu nnyo; kubanga laba baganda baffe bameka abattiddwa, era ng’omusaayi gwabwe guyiiriddwa nga buteerere, era olwo lwonna ku lw’obutali butuukirivu.
25 Kubanga singa abantu bano baali tebagudde mu kwonoona Mukama teyandiganyiza ekibi kino ekinene okubatuukako. Naye laba, tebaawuliriza bigambo bye; naye wabalukawo enkaayana mu bo, ddala ez’amaanyi ennyo nti waaliwo okuyiwa omusaayi wakati mu bo bennyini.
26 Era basse nnabbi wa Mukama; weewaawo, omusajja omulonde wa Katonda, eyabagamba ku bubi bwabwe n’ebizira, era n’awa obunnabbi ku bintu bingi ebigenda okujja, weewaawo, ddala okujja kwa Kristo.
27 Era olw’okuba yabagamba nti Kristo ye Katonda, Taata w’ebintu byonna, era n’agamba alyambala ekifaananyi ky’omuntu, era kirina okubeera ekifaananyi omuntu mweyatondebwa ku lubereberye; oba mu ngeri endala, yagamba nti omuntu yatondebwa mu kifaananyi kya Katonda, era nti Katonda alikka mu baana b’abantu, era n’ayambala omubiri n’omusaayi, era n’atambula ku lukalu lw’ensi;
28 Era kaakano, kubanga yayogera bino, ne bamutta; era ebintu ebirala bingi bye baakola eby’aleeta obusungu bwa Katonda okubakkako. N’olwekyo, ani yeewuunya nti bali mu buddu, era nti bakubiddwa n’ebibonoobono ebizito ennyo?
29 Kubanga laba, Mukama agaambye nti: Sijja kuyamba bantu bange ku lunaku olw’okusobya kwabwe; naye nja kuziyiza amakubo gaabwe baleme okukulaakulana; era ebikolwa byabwe biriba nga ejjinja ery’okwesittala mu maaso gaabwe.
30 Era nate, agamba nti: Singa abantu bange banaasiga obucaafu bajja kukungula ebisusunku bwe batyo mu kibuyaga; era ekiriva mw’ekyo bwe butwa.
31 Era nate agamba: Singa abantu bange banaasiga obucaafu bajja kukungula empewo ey’ebuvanjuba, ereeta okuzikirizibwa okw’embagirawo.
32 Era kaakano, laba, ekisuubizo kya Mukama kituukiriziddwa, era mukubiddwa era n’okubonyaabonyezebwa.
33 Naye singa munadda eri Mukama n’obumalirivu obujjuvu mu mutima, era ne muteeka obwesige bwammwe mu ye, era mumuweereze n’obunyiikivu bwonna obw’endowooza, singa munaakola kino, bw’atyo, okusinziira ku kwagala era n’okusiima kwe, alibanunula okuva mu buddu.