Essuula 20
Abamu ku bawala b’Abalamani bawambibwa bakabona ba Nuuwa; Abalamani balwanyisa Limuki n’abantu be; Eggye ly’Abalamani ligobwa era ne likkakkanyizibwa mu busungu. Nga mu mwaka gwa 145–123 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Kaakano waaliwo ekifo mu Semuloni bawala b’Abalamani gye baakuŋŋaaniranga okuyimba, n’okuzina, n’okwesanyusa.
2 Era olwatuuka olunaku lumu abatono ku bo baakuŋŋaana awamu okuyimba n’okuzina.
3 Era kaakano bakabona ba kabaka Nuuwa, olw’okuswala okuddayo mu kibuga kya Neefi, weewaawo, era olw’okutya nti abantu bandibatta, n’olwekyo tebeetaantala kudda eri bakazi baabwe n’abaana baabwe.
4 Era olw’okusigala mu lukoola, era n’okuzuula bawala b’Abalamani, baabateega era n’okubagobereza amaaso;
5 Era bwe baali baakuŋŋaanye awamu okuzina naye nga batono, ne bakukunuka mu bifo byabwe eby’ekusifu era baabettikka era baabatwala mu lukoola; weewaawo, amakumi abiri mu bana ku bawala b’Abalamani be baatwala mu lukoola.
6 Era olwatuuka Abalamani bwe baalaba nga bawala baabwe tebalabikako, ne banyiigira abantu ba Limuki, kubanga balowooza nti baali bantu ba Limuki abaababba.
7 N’olwekyo baaweereza eggye lyabwe; weewaawo, ddala kabaka yennyini yakulembera abantu be; era ne bambuka mu nsi ya Neefi okuzikiriza abantu ba Limuki.
8 Era kaakano Limuki yali abazudde okuva ku munaala, ddala n’enteekateeka zaabwe zonna ez’olutalo yazizuula; n’olwekyo yakuŋŋaanya abantu be wamu, ne babateegera mu nnimiro era ne mu bibira.
9 Era olwatuuka Abalamani bwe batuuka, abantu ba Limuki ne batandika okubagwako mu bulumbaganyi okuva mu bifo mwe baali babalindiriridde, era baatandika okubatta.
10 Era olwatuuka olutalo ne lunyinyittira, kubanga baalwana ng’empologoma ku muyiggo gwazo.
11 Era olwatuuka abantu ba Limuki ne batandika okugoba Abalamani mu maaso gaabwe; newakubadde nga omuwendo gwabwe gwali teguwera kitundu ky’Abalamani. Naye balwanirira obulamu bwabwe, era n’obw’abakazi baabwe, era n’abaana baabwe; n’olwekyo baluubirira nnyo era ng’agasota baalwana.
12 Era olwatuuka ne basanga kabaka w’Abalamani mu muwendo gw’abafu baabwe; nga yali tannafa, yali afunnye ebisago era nga alekeddwa ku ttaka, abantu be baali mu bwangu okudduka.
13 Era baamutwala ne basiba ebiwundu bye, ne bamuleeta mu maaso ga Limuki, era ne bagamba nti: Laba, wuuno kabaka w’Abalamani; olw’okufuna ekisago agudde mu bafu baabwe, era bamulese; era laba, tumuleese mu maaso go; era kaakano tuleke tumutte.
14 Naye Limuki n’abagamba nti: Temumutta, wabula mumuleete wano ndyoke mulabe. Era ne bamuleeta. Era Limuki n’amugamba nti: Nsonga ki ebaviriddeko okujja wano okulwana n’abantu bange? Laba, abantu bange tebannamenya kirayiro kye nnakola naawe; n’olwekyo, lwaki omenye ekirayiro kye wakola eri abantu bange?
15 Era kaakano kabaka n’agamba nti: Mmenye ekirayiro kubanga abantu bo baatwala bawala b’abantu bange; n’olwekyo, mu busungu bwange nnalagira abantu bange okujja wano okulwana n’abantu bo.
16 Era kaakano Limuki yali talina kye yaawulidde ku nsonga eno; n’olwekyo yagamba nti: Nja kunoonya mu bantu bange era oyo yenna akoze ekintu kino anaazikirira. N’olwekyo n’alagira okunoonya kukolebwe mu bantu be.
17 Kaakano Gidiyoni bwe yawulira ebigambo ebyo, ye olw’okuba omukulu ow’ggye erya kabaka, n’avaayo era n’agamba kabaka nti: Nkusaba olindeko, era tonoonyeza mu bantu bano, era tobavunaana olw’ensonga eno.
18 Kubanga tojjukira ggwe bakabona ba kitaawo, abantu bano be baafuba okuzikiriza? Era tebali mu lukoola? Era si be babbye bawala b’Abalamani?
19 Era kaakano, laba, era tegeeza kabaka ebintu bino, alyoke abuulire abantu be balyoke bakkakkanye obusungu eri ffe; kubanga laba bali mu kwetegeka okujja okutulwanyisa; era laba nate tuli batono nnyo.
20 Era laba, bajja n’eggye lyabwe eddene; era okuggyako nga kabaka a’kkakkanyizza obusungu bwabwe, ffe tuli baakuzikirira.
21 Kubanga ebigambo bya Abinadi tebituukiridde, bye yawaako obunnabbi ku ffe; era ne bino byonna kubanga tetwawuliriza bigambo bya Mukama, era n’okukyuka okuva mu butali butuukirivu bwaffe?
22 Era kaakano ka tukkakkanye obusungu bwa kabaka, era tutuukirize ekirayiro kye twakola na ye; kubanga wakiri okubeera mu buddu okusinga okufiirwa obulamu bwaffe; n’olwekyo, ka tukomye okuyiwa omusaayi omungi bwe gutyo.
23 Era kaakano Limuki n’abuulira kabaka ebintu byonna ebikwata ku kitaawe, era ne bakabona abaali baddukidde mu lukoola, era n’agamba nti okutwalibwa kwa bawala baabwe kwali ku bo.
24 Era olwatuuka kabaka n’akkakkanya obusungu eri abantu be; era n’abagamba nti: Tugende okusisinkana abantu bange, nga tetulina byakulwanyisa; era mbalayirira n’ekirayiro nti abantu bange tebajja kutta bantu bo.
25 Era olwatuuka ne bagoberera kabaka, era baagenda nga tebalina byakulwanyisa okusisinkana Abalamani. Era olwatuuka ne basisinkana Abalamani; era kabaka w’Abalamani n’avuunama mu maaso gaabwe, era ne yegayirira ku lw’abantu ba Limuki.
26 Era Abalamani bwe baalaba abantu ba Limuki, nga tebalina byakulwanyisa, ne babasaasira era ne bakkakkanya obusungu eri bo, era ne baddayo ne kabaka waabwe mu mirembe mu nsi yaabwe.