Scriptures
Mosiya 19


Essuula 19

Gidiyoni agezaako okutta kabaka Nuuwa; Abalamani balumba ensi; Kabaka Nuuwa afa omuliro; Limuki afuga nga kabaka w’emisolo. Nga mu mwaka gwa 145–121 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Era olwatuuka eggye lya kabaka ne likomawo, nga baali banoonyezza abantu ba Mukama nga buteerere.

2 Era kaakano laba, amagye ga kabaka gaali matono, kubanga gaali gakendeezeddwa, era watandika okubaawo okwawukana mu bantu abaali basigaddewo.

3 Era ekitundu ekisinga obutono ne kitandika okwogera ebitiisatiiisa eri kabaka, era watandika okubaawo okukaayana okw’amaanyi ennyo mu bo.

4 Era kaakano mu bo mwalimu omusajja nga erinnya lye lyali Gidiyoni, era ye okubeera omusajja ow’amaanyi era omulabe eri kabaka, n’olwekyo yajjayo ekitala kye, era n’alayira mu busungu bwe nti ajja kutta kabaka.

5 Era olwatuuka n’alwana ne kabaka; era kabaka bwe yalaba nga anaatera okumuwangula, n’adduka n’agenda waggulu ku munaala ogwali okumpi ne yeekaalu.

6 Era Gidiyoni n’amugoba era yali anaatera okutuuka ku munaala okutta kabaka, awo kabaka n’ayisa amaaso ge okwetooloola ensi ya Semuloni, era laba, eggye ly’Abalamani lyali mu nsalo ez’ensi.

7 Era kaakano kabaka naalaajana mu bulumi obungi ennyo obw’omwoyo gwe, ng’agamba nti: Gidiyoni, nsonyiwa, kubanga Abalamani bazze okutulumba, era bajja kutuzikiriza; weewaawo, bajja kusaanyawo abantu bange.

8 Era kaakano kabaka yali tafaayo nnyo ku bantu be nga bwe kyali ku bulamu bwe; wabula, Gidiyoni yataliza obulamu bwe.

9 Era kabaka n’alagira abantu okudduka baviire Abalamani, era ye kennyini n’abakulemberamu, era ne baddukira mu lukoola, ne bakyala baabwe era n’abaana baabwe.

10 Era olwatuuka Abalamani babagoba, ne babatuukako, era ne batandika okubatta.

11 Kaakano olwatuuka kabaka n’abalagira nti abasajja bonna baleke bakazi baabwe n’abaana baabwe, badduke okuviira Abalamani.

12 Kaakano waaliwo bangi abatayinza kubalekerera, naye baasalawo okusigala era bazikirizibwe wamu nabo. Era abalala baaleka bakazi baabwe n’abaana baabwe ne badduka.

13 Era olwatuuka abo abaali basigadde ne bakazi baabwe era n’abaana baabwe ne balagira bawala baabwe abalungi okuyimirira beegayirire Abalamani baleme okubatta.

14 Era olwatuuka Abalamani ne babakwatirwa ekisa, kubanga baali basikiriziddwa n’obulungi bw’abakazi baabwe.

15 N’olwekyo Abalamani baataliza obulamu bwabwe, era ne batwalibbwa mu buwambe ne babazzayo mu nsi ya Neefi, era ne bakkirizibwa okubeera n’ettaka, wansi w’obukwakkulizo nti balina okuwaayo kabaka Nuuwa mu mikono gy’Abalamani, era baweeyo n’ebintu byabwe, ddala ekitundu ekimu ku byonna bye baalina, n’ekitundu ekimu ku zaabu waabwe, era ne ffeeza waabwe, era n’ebintu byabwe byonna eby’omuwendo, era bwe batyo baalina okusasula omusolo eri kabaka w’Abalamani buli mwaka ku mwaka.

16 Era kaakano waliwo omu ku batabani ba kabaka mu abo abaatwalibwa mu buwambe, nga erinnya lye lyali Limuki.

17 Era kaakano Limuki yali ayayaana mbu kitaawe aleme okuzikirizibwa; kyokka, Limuki yali amanyi ku butali butuukirivu bwa kitaawe, ye kennyini olw’okubeera omusajja omwenkanya.

18 Era olwatuuka Gidiyoni n’asindika abasajja mu lukoola mu kyama, okunoonya kabaka era n’abo abaali naye. Era olwatuuka ne basisinkana abantu mu lukoola, bonna okuggyako kabaka ne bakabona be.

19 Kaakano baali balayidde mu mitima gyabwe nti baalina okudda mu nsi ya Neefi, era singa abakazi baabwe n’abaana baabwe baali battiddwa, era n’abo abaali babeera nabo, nti baali bakuwoolera, era nabo bazikirire nabo.

20 Kabaka n’abalagira nti tebalina kudda; era ne banyiigira kabaka, ne basalawo nti alina okubonaabona, ddala n’okutuusa okufa omuliro.

21 Era baali banaatera okutwala bakabona nabo babatte, era ne badduka okuva gye bali.

22 Era olwatuuka nga banaatera okudda mu nsi ya Neefi, ne basisinkana abasajja ba Gidiyoni. Era abasajja ba Gidiyoni ne bababuulira byonna ebyali bituuse ku bakazi baabwe n’abaana baabwe; era nti Abalamani baali babawadde ettaka awokubeera naye nga balina okusassula omusolo eri Abalamani ogw’ekitundu ekimu ku byonna bye baali balina.

23 Era abantu ne bagamba abasajja ba Gidiyoni nti baali basse kabaka, era ne bakabona be ne baddukira e wala mu lukoola.

24 Era olwatuuka oluvannyuma nga bamaliriza omukolo, ne baddayo mu nsi ye Neefi, nga basanyuka, kubanga abakazi baabwe n’abaana baabwe tebattibwa; era ne bategeeza Gidiyoni kye baali bakoze kabaka.

25 Era olwatuuka kabaka w’Abalamani n’akuba ekirayiro eri bo, nti abantu be tebalina kubatta.

26 Era ne Limuki, olw’okubeera omwana wa kabaka, nga n’obwakabaka bwali bumuweereddwa abantu, yakuba ekirayiro eri kabaka w’Abalamani nti abantu be baali bateekeddwa okusassula omusolo gy’ali, era n’ekitundu kimu ku byonna bye baalina.

27 Era olwatuuka Limuki n’atandikawo obwakabaka era n’okuteekawo emirembe mu bantu be.

28 Era kabaka w’Abalamani n’ateeka abakuumi okwetooloola ensi yonna, asobole okukuumira abantu ba Limuki mu nsi, olwo baleme okugenda mu lukoola; era yayimirizaawo abakuumi be ng’akozesa omusolo gwe yakuŋŋanyanga okuva mu Baneefi.

29 Era kaakano kabaka Limuki yalina emirembe egitatadde mu bwakabaka bwe okumala emyaka ebiri, nti Abalamani tebaabasumbuwa wadde okugezaako okubazikiriza.