Scriptures
Mosiya 26


Essuula 26

Bangi ku bantu b’ekkanisa bawubisibwa abatali bakkiriza okugwa mu kibi; Aluma asuubizibwa obulamu obutaggwaawo; Abo abenenya era ne babatizibwa bafuna okusonyiyibwa; Abantu b’ekkanisa mu kibi abenenya era ne bayatula eri Aluma n’eri Mukama bajja kusonyiyibwa; bwe kitaba ekyo, tebajja kubalibwa mu bantu b’ekkanisa. Nga mu mwaka gwa 120–100 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Kaakano olwatuuka waaliwo bangi ab’omulembe omuto abatasobola kutegeera bigambo bya kabaka Benyamini, olw’okuba nti baali baana bato mu kiseera kye yayogera eri abantu be; era tebakkiriza nnono ya bajjajjaabwe.

2 Tebakkiriza ebyo ebyayogerwa ku kuzuukira kw’abafu, so tebakkiriza ebikwata ku kujja kwa Kristo.

3 Era kaakano olw’obutakkiriza bwabwe tebaasobola kutegeera kigambo kya Katonda; era emitima gyabwe gyali gikakanyadde.

4 Era tebakkiriza kubatizibwa; newakubadde okwegatta ku kkanisa. Era baali bantu ba njawulo okusinziira ku kukkiriza kwabwe, era ne basigala bwe batyo emirembe gyonna, ddala ne mu mbeera yaabwe ey’obw’omubiri n’ekibi; kubanga tebaayinza kukowoola Mukama Katonda waabwe.

5 Era kaakano ku mulembe gwa Mosiya tebaali kitundu kya bungi bw’abantu ba Katonda; naye olw’enjawukana wakati w’ab’oluganda ne beeyongera obungi.

6 Kubanga olwatuuka baalimbalimba bangi n’ebigambo byabwe eby’okunyumiikiriza, abaali mu kkanisa, ne kibaviirako okukola ebibi ebingi; n’olwekyo kyali kigwanidde nti abo abaakolanga ekibi, ate nga baali mu kkanisa, okubeera nga babuulirirwa ekkanisa.

7 Era olwatuuka ne baleetebwa mu maaso ga bakabona, era abasomesa ne babakwasa bakabona; era bakabona ne babaleeta mu maaso ga Aluma, eyali kabona asinga obukulu.

8 Kaakano kabaka Mosiya yali awadde Aluma obuyinza ku kkanisa.

9 Era olwatuuka Aluma teyamanya bibakwatako; naye waaliwo abajulirwa bangi okubalumiriza; weewaawo, abantu baayimirira ne bajulira obutali butuukirivu bwabwe mu bungi.

10 Kaakano tewaaliwo kintu kyonna ng’ekyo kyali kibaddewo mu kkanisa; n’olwekyo Aluma yasoberwa mu mwoyo gwe, era n’alagira baleetebwe mu maaso ga kabaka.

11 Era n’agamba kabaka nti: Laba, baabano bangi be tuleese mu maaso go, abavunaanibwa baganda baabwe; weewaawo, era batwaliddwa mu bubi obw’enjawulo. Era tebeenenya bubi bwabwe; n’olwekyo tubaleese mu maaso go, olyoke obalamule ng’emisango gyabwe bwe giri.

12 Naye kabaka Mosiya n’agamba Aluma nti: Laba, sibalamula; n’olwekyo mbawaayo mu mikono gyo okusalirwa omusango.

13 Era kaakano omwoyo gwa Aluma gwaddamu okusoberwa; n’agenda n’abuuza Mukama ky’alina okukola ku nsonga eno, kubanga yali atya nti yandikola ekikyamu mu maaso ga Katonda.

14 Era olwatuuka bwe yamala okuwaayo emmeeme ye yonna eri Katonda, eddoboozi lya Mukama ne lijja gy’ali nga ligamba nti:

15 Olina omukisa ggwe, Aluma, era balina omukisa abo abaabatizibwa mu mazzi ga Momoni. Olina omukisa olw’okukkiriza kwo okw’ensusso mu bigambo ebyo byokka eby’omuweereza wange Abinadi.

16 Era balina omukisa olw’okukkiriza kwabwe okw’ensusso mu bigambo ebyo byokka bye wayogedde gye bali.

17 Era oli wa mukisa kubanga otandiseewo ekkanisa mu bantu bano; era banabeezebwawo, era banaaba bantu bange.

18 Weewaawo, balina omukisa abantu bano abeetegefu okutwala erinnya lyange; kubanga mu linnya lyange banayitibwanga; era bange.

19 Era olw’okumbuuza ebyekuusa ku musobya, oli wa mukisa.

20 Oli muweereza wange; era ndagaana naawe nti on’ofuna obulamu obutaggwaawo; era onompeereza era n’ogenda mu linnya lyange, era on’okuŋŋaanya endiga zange.

21 Era oyo anaawulira eddoboozi lyange aliba endiga yange; era ye gw’olisembeza mu kkanisa, era nange gwe ndisembeza nate.

22 Kubanga laba, eno y’ekkanisa yange; buli yenna anaabatizibwa alina okubatizibwa olw’okwenenya. Era buli gwe munasembezanga alina okukkiririza mu linnya lyange; era oyo gwe ndisonyiyira obwereere.

23 Kubanga ye nze eyeteekako ebibi by’ensi; kubanga nze yabatonda; era nze mpa oyo akkiriza okutuukira ddala ku nkomerero ekifo ku mukono gwange ogwa ddyo.

24 Kubanga laba, mu linnya lyange bayitibwa; era bwe baba nga bammanyi balivaayo, era balifuna ekifo olubeerera ku mukono gwange ogwa ddyo.

25 Era kinaatuuka nti ekkondeere ery’okubiri bwe linaavuga olwo abo abatammanya balivaayo ne bayimirira mu maaso gange.

26 Era awo balimanya nti nze Mukama Katonda waabwe, nti nze Mununuzi waabwe; naye ne batanunulibwa.

27 Era awo naayatula gye bali nti sibamanyangako; era baligenda mu muliro ogutazikira ogwategekebwa setaani ne bamalayika be.

28 N’olwekyo mbagamba nti oyo ataawulire ddoboozi lyange, y’omu gwe mutaasembeze mu kkanisa yange, kubanga oyo gwe sirisembeza ku lunaku olw’enkomerero.

29 N’olwekyo nkugamba nti, Genda; era buli ansobya, oyo gw’on’olamula okusinziira ku bibi by’akoze; era bw’anayatula ebibi bye mu maaso go era nange, neyenenya n’obwesimbu bw’omutima gwe, oyo gw’onosonyiwa, era nange naamusonyiwa nate.

30 Weewaawo, era nga abantu bange buli lwe banenenya naabasonyiwa ebyonoono byabwe gye ndi.

31 Era nammwe munasonyiwagananga ebyonoono byammwe; kubanga mazima mbagamba nti, oyo atasonyiwa bisobyo bya muliraanwa we bw’agamba nti yeenenya, oyo y’omu eyeetuusizzaako omusango.

32 Kaakano nkugamba nti, Genda; era buli ateenenye bibi bye y’omu atalibalibwa mu bantu bange; era kino kyakukuumibwa okuva mu kiseera kino n’okweyongerayo.

33 Era olwatuuka Aluma bwe yawulira ebigambo bino n’abiwandiika asobole okubijjukira, era alyoke alamule abantu b’ekkanisa eyo okusinziira ku biragiro bya Katonda.

34 Era olwatuuka Aluma n’agenda n’alamula abo abaali batwaliddwa mu butali butuukirivu, okusinziira ku kigambo kya Mukama.

35 Era buli ab’eneenenya ebibi byabwe ne babyatula, abo be yabalanga mu bantu b’ekkanisa;

36 Era n’abo abatayatulanga bibi byabwe n’okwenenya obutali butuukirivu bwabwe, beebo abataabalibwa mu bantu b’ekkanisa, n’amannya gaabwe ne gasazibwamu.

37 Era olwatuuka Aluma n’aluŋŋamya ensonga zonna ez’ekkanisa; era baatandika nate okuba n’emirembe n’okukulaakulana eby’ensusso mu nsonga ez’ekkanisa, nga batambula n’obwegendereza mu maaso ga Katonda, nga basembeza bangi, era nga babatiza bangi.

38 Era kaakano ebintu bino byonna Aluma ne bakozi banne baabikola abaalabiriranga ekkanisa, nga batambulira mu bunyiikivu bwonna, nga bayigiriza ekigambo kya Katonda mu bintu byonna, nga bayita mu bibonoobono eby’engeri zonna, nga bayigganyizibwa abo bonna abataali ba Kkanisa ya Katonda.

39 Era baabuulirira baganda baabwe; era nabo baabuulirirwa nate, buli omu n’ekigambo kya Katonda, okusinziira ku bibi bye, oba ebibi bye yakola, nga balagirwa Katonda okusaba awatali kulekeraawo, era n’okwebaza mu bintu byonna.