Scriptures
Mosiya 27


Essuula 27

Mosiya agaana okuyigganyizibwa era alagira wabeerewo obwenkanya; Aluma omuto ne batabani ba Mosiya abana bafuba okuzikiriza ekkanisa; Malayika abalabikira era abalagira okukomya enneyisa yaabwe ey’obubi; Aluma afuulibwa kasiru; Abantu bonna balina okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri okufuna obulokozi; Aluma ne batabani ba Mosiya balangirira amawulire ag’essanyu. Nga mu mwaka gwa 100–92 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Era kaakano olwatuuka okuyigganyizibwa okwali kutuusiddwa ku kkanisa olw’abatali bakkiriza kweyongera okuba okw’amaanyi ennyo ekkanisa n’etandika okwemulugunya, era n’okuloopa eri abakulembeze baabwe ku nsonga eno; era bemulugunya eri Aluma. Era Aluma n’atwala omusango mu maaso ga kabaka waabwe, Mosiya. Era Mosiya ne yeebuuza ku bakabona be.

2 Era olwatuuka kabaka Mosiya n’aweereza ekirangiriro mu nsi yonna okwetooloola nti tewalina kuba muntu yenna atali mukkiriza kuyigganya muntu yenna ku abo ab’Ekkanisa ya Katonda.

3 Era waaliwo ekiragiro ekikakali mu makanisa gonna nti tewajja kubeerawo kuyigganyizibwa mu bo, nti waalina okubeerawo obwenkanya mu bantu bonna;

4 Nti tebalina kuleka amalala wadde okwegulumiza bitaataaganye emirembe gyabwe; nti buli muntu yalina okuwa muliraanwa we ekitiibwa nga naye bwe yandyagadde bakimuwe, ng’abakola n’emikono gyabwe olw’okwebeezaawo kwabwe.

5 Weewaawo, era bakabona baabwe bonna n’abasomesa balina okukola n’emikono gyabwe olw’okubeerawo kwabwe, mu mbeera yonna okuggyako mu bulwadde, oba mu bwetaavu obungi; era mu kukola ebintu bino, baakumirwa mu kisa kya Katonda.

6 Era ne watandika okubeerawo emirembe mingi nate mu nsi; abantu ne batandika okuba abangi ennyo, era ne batandika okusaasaana ebweru w’eggwanga ku nsi, weewaawo, mu bukiika obwa kkono era ne ku luuyi olw’obukiika obwa ddyo mu buvanjuba era n’ebugwanjuba, nga bazimba ebibuga ebinene n’ebyalo mu bitundu byonna eby’ensi.

7 Era Mukama yabakyalira era n’okubakulaakulanya, era bafuuka abantu abangi era abagagga.

8 Kaakano batabani ba Mosiya baabalirwa mu batali bakkiriza; era n’omu ku batabani ba Aluma yabalirwa mu bo, nga yali ayitibwa Aluma, nga yabbulwa mu kitaawe; wabula, yafuuka omusajja omubi ennyo era omusinza w’ebifaananyi. Era yali musajja wa bigambo bingi, era yayogera eby’okunyumiikiriza bingi nnyo eri abantu; n’olwekyo yaleetera bangi ku bantu okukola obubi nga balabira ku ye.

9 Era n’afuuka omuzzizziko omunene ennyo eri okukulaakulana kw’Ekkanisa ya Katonda; ng’abba emitima gy’abantu; ekyaleetawo obutakkaanya bungi mu bantu; ne kiwa omukisa omulabe wa Katonda okukozesa amaanyi ge ku bo.

10 Era kaakano olwatuuka bwe yali atalaaga ebifo eby’enjawulo okuzikiriza Ekkanisa ya Katonda, kubanga yatalaaganga mu kyama n’abaana ba Mosiya ng’afuba okuzikiriza ekkanisa, era n’okubuzaabuza abantu ba Mukama, okwawukana ku biragiro bya Katonda, oba ddala ne kabaka.

11 Era nga bwe nnabagamba nti, bwe baali bagenda mu maaso n’okujeemera Katonda, laba, malayika wa Mukama nabalabikira gye bali; era n’akka ng’alinga ali mu kire; era n’ayogera nga liringa eddoboozi ery’okubwatuka, ekyaleetera ettaka kwe baali bayimiridde okukankana;

12 Era kwali kw’amaanyi nnyo okwewuunya kwabwe, nti baagwa ku ttaka, era ne batategeera bigambo bye yayogera gye bali.

13 Wabula yakowoola nate, ng’agamba nti: Aluma, situka era oyimirire, kubanga lwaki oyigganya ggwe Ekkanisa ya Katonda? Kubanga Mukama agambye nti: Eno y’ekkanisa yange, era nja kugiteekawo; era tewali kijja kugisuula, okuggyako okusobya kw’abantu bange.

14 Era nate, malayika n’agamba nti: Laba, Mukama awulidde essaala z’abantu be, era n’essaala z’omuddu we, Aluma, oyo kitaawo; kubanga asabye n’okukkiriza okungi ku lulwo osobole okutuusibwa ku kumanya okw’amazima; n’olwekyo, olw’ekigendererwa kino nzize okukukakasa amaanyi n’obuyinza bwa Katonda, nti okusaba kw’abaweereza be kusobole okuddibwamu okusinziira ku kukkiriza kwabwe.

15 Era kaakano laba, muyinza okuwakanya amaanyi ga Katonda? Kubanga laba, eddoboozi lyange terikankanya nsi? Era mmwe nate temundaba mu maaso gammwe? Era ntumiddwa okuva eri Katonda.

16 Kaakano nkugamba nti: genda, era jjukira obusibe bwa bakitammwe mu nsi ey’e Keramu, era ne mu nsi ey’e Neefi; era ojjukire ebintu ebikulu by’abakoledde; kubanga baali mu busibe, era abanunudde. Era kaakano nkugamba, Aluma, genda mu kkubo lyo, era ttoddamu okufuba okuzikiriza ekkanisa nate, nti essaala zaabwe ziryoke ziddibweemu, ne bw’oba ddala nga ggwe ku lulwo oyagala okusuulibwa.

17 Era kaakano kyatuuka nga bino bye bigambo ebyasembayo malayika bye yayogera eri Aluma, era n’agenda.

18 Era kaakano Aluma n’abo abaali naye ne baddamu okugwa ku ttaka, kubanga okuwuniikirira kwabwe kwali kw’amaanyi nnyo; kubanga n’amaaso gaabwe gennyini baali balabye malayika wa Mukama; era eddoboozi lye lyali nga okubwatuka, eryakankanya ensi; era baamanya nti tewali kintu kyonna okuggyako amaanyi ga Katonda agaali gayinza okunyeenya ensi era ne gagireetera okukankana nga eyali egenda okwabulukukamu.

19 Era kaakano okuwuniikirira kwa Aluma kwali kw’amaanyi nnyo nti yafuuka kasiru, nti yali tasobola kwasamya akamwa ke; weewaawo, era yanafuwa, ddala nti yali tasobola wadde okuyimusa emikono gye; n’olwekyo yatwalibwa abo abaali naye, era y’asitulwa nga taliimu geyamba, ddala okutuusa lwe yateekebwa mu maaso ga kitaawe.

20 Era ne battottolera kitaawe ebyo byonna ebyali bibatuuseko; era kitaawe n’ajaganya, kubanga yakimanya nti gaali maanyi ga Katonda.

21 Era n’alagira nti enkuyanja y’abantu esaana okukuŋŋaanira awamu basobole okulaba ekyo Mukama kye yali akoledde mutabani we, era n’abo abaali naye.

22 Era n’alagira bakabona okukuŋŋaanira awamu; era ne batandika okusiiba, era n’okusaba Mukama Katonda waabwe ayasamye akamwa ka Aluma, nti asobole okwogera, era n’ebitundu bye byonna eby’omubiri biddemu amaanyi gaabyo; n’amaaso g’abantu gasobole okugguka okulaba n’okumanya obulungi n’ekitiibwa kya Katonda.

23 Era olwatuuka oluvannyuma nga bamaze okusiiba era n’okusaba akabanga ka nnaku bbiri n’ebiro bibiri, ebitundu eby’omubiri gwa Aluma ne bifuna amaanyi gaabyo, era n’ayimirira n’atandika okwogera gye bali, ng’abasaba bagume emitima:

24 Kubanga, yagamba, nneenenyezza ebibi byange, era nnunuddwa Mukama; laba nzaaliddwa mu Mwoyo.

25 Era Mukama n’aŋŋamba nti: teweewuunya nti abantu bonna, weewaawo, abasajja era n’abakazi, amawanga gonna, ebika, ennimi era n’abantu, balina okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri; weewaawo, okuzaalibwa Katonda, okukyusibwa okuva mu mbeera yaabwe ey’obw’omubiri era ey’okugwa mu kibi, okudda mu mbeera ey’obutuukirivu, nga banunuddwa Katonda, okufuuka batabani be era ne bawala be;

26 Era bwe batyo bafuuka ebitonde ebigya; era okuggyako nga bakoze kino, tewali ngeri ndala yonna gye bayinza kusikira obwakabaka bwa Katonda.

27 Mbagamba nti, okuggyako nga kino kiba bwe kityo, balina okuboolebwa; era kino nkimanyi, kubanga kyenkana nnali mbooleddwa.

28 Wabula, oluvannyuma lw’okuyita mu kubonaabona okungi, n’okwenenya kumpi okufa, Mukama mu kusaasira alabye ng’agwanidde okunkwakkula okuva mu kwokebwa okw’olubeerera, era nzaaliddwa Katonda.

29 Emmeeme yange enunuddwa okuva mu mususa ogukaawa era n’emiguwa egy’obutali butuukirivu. Nnali mu bunnya obusinga okuba obw’ekizikiza; naye kaakano ndaba ekitangaala ekyewuunyisa ekya Katonda. Emmeeme Omwoyo yange yali etulugunyiziddwa n’okulumizibwa okw’olubeerera; naye nkwakkuliddwa, era emmeeme yange tekyali mu bulumi.

30 Nnagaana Omununuzi wange, era ne nneegaana ebyo ebyayogerwanga bakitaffe; naye kaakano nti basobole okulengera nti ajja kujja, era nti ajjukira buli kitonde eky’okutonda kwe, ajja kweyoleka eri byonna.

31 Weewaawo, buli viivi lirivunnama, era nabuli lulimi lwatule mu maaso ge. Weewaawo, ddala ku lunaku olusembayo, abantu bonna lwe banaayimirira okulamulwa ye, olwo banayatula nti ye Katonda; olwo banayatula, ababeera mu nsi nga tebalina Katonda, nti ennamulwa y’ekibonerezo eky’olubeerera ya bwenkanya gye bali; era balijjugumira, era n’okukankana, era n’okwebwalabwala wansi w’eriiso lye eriraba byonna.

32 Era kaakano olwatuuka Aluma yatandika okuva mu kiseera kino n’okweyongerayo okuyigiriza abantu, era n’abo abaali ne Aluma mu kiseera malayika we yabalabikira, baatambula nga bayita mu nsi yonna, nga balangirira eri abantu bonna ebintu bye baali bawulidde era n’okulaba, era ne babuulira ekigambo kya Katonda mu kubonaabona okungi, nga bayigganyizibwa nnyo abo abaali batakkiriza, nga bangi ku bo bakubibwa.

33 Newakubadde bino byonna, baakola okugumyaŋŋana okuyitirivu eri ekkanisa, nga bakakasa okukkiriza kwabwe, era nga babakubiriza okugumiikiriza n’obugundiivu era n’obulumi obungi ennyo okukuuma ebiragiro bya Katonda.

34 Era abana ku bo baali batabani ba Mosiya; era amannya gaabwe gaali Amoni, era ne Alooni, era ne Omuna, era ne Kimuni; gano ge gaali amannya g’abatabani ba Mosiya.

35 Era baatambula mu nsi yonna ey’e Zalakemula, era ne mu bantu bonna abaali wansi w’obufuzi bwa kabaka Mosiya, n’obunyiikivu nga baluubirira okuddaabiriza obuvune bwonna bwe baali bakoze ku Kkanisa, nga baatula ebibi byabwe byonna, era nga balangirira ebintu byonna bye baali balabye, era nga bannyonnyola obunabbi n’ebyawandiikibwa eri bonna abaali bayayaana okubiwulira.

36 Era bwe batyo bwe baali ebikozesebwa mu mikono gya Katonda mu kuleeta bangi mu kumanya amazima, weewaawo, mu kumanya Omununuzi waabwe.

37 Era nga bamukisa! Kubanga baalangirira emirembe; babunyisa wonna amawulire amalungi ag’obulungi; era baalangirira eri abantu nti Mukama afuga.