Scriptures
1 Neefi 9


Essuula 9

Neefi akola ebiwandiiko bya mirundi ebiri; Buli kimu kiyitibwa embaati za Neefi; Embaati ennene zirimu ebyafaayo eby’ensi; entono zikwaata okusingira ddala ku bintu ebitukuvu. Nga 600–592 nga Kristo tannazaalibwa.

Era ebintu bino byonna kitange yabiraba, era n’abiwulira, era n’abyogera, nga abeera mu weema, mu kiwonvu kya Lemweri, era nate n’ebintu ebirala bingi nnyo, ebitayinzika kuwandiikibwa ku mbaati zino.

Era kaakano, nga bwe njogedde ku bikwata ku mbaati zino, laba si ze mbaati kwentadde enyinnyonnyolwa enzijjuvu ey’ebyafaayo by’abantu bange; kubanga embaati kwe mpandiise enyinnyonnyolwa mu bujjuvu ku bikwata ku bantu bange nziwadde erinnya lya Neefi; n’olwekyo, ziyitibwa embaati za Neefi, okusinziira ku linnya lyange; era na zino embaati nazo ziyitibwa embaati za Neefi.

Wabula, nfunye ekiragiro kya Mukama nti nkole embaati zino, olw’ekigendererwa eky’enjawulo nti wabeewo enyinnyonnyolwa eyoleddwa ey’obuweereza bw’abantu bange.

Ku mbaati endala kulina okwoolwako enyinnyonnyolwa y’obufuzi bwa bakabaka, era n’entalo n’enkaayana z’abantu bange; n’olwekyo embaati zino za kitundu ekisinga ku buweereza; era embaati endala za kitundu ekisinga ku bufuzi bwa bakabaka era n’entalo era n’enkaayana z’abantu bange.

N’olwekyo, Mukama andagidde okukola embaati zino olw’ekigendererwa eky’amagezi mu ye, ekigendererwa kye simanyi.

Naye Mukama amanyi byonna okuva ku lubereberye; n’olwekyo, ategeka engeri y’okutuukirizaamu emirimu gye gyonna mu baana b’abantu; kubanga laba, alina obuyinza bwonna eri okutuukiriza kw’ebigambo bye byonna. Era bwe kityo bwe kiri. Amiina.