Scriptures
1 Neefi 2


Essuula 2

Leki atwala ab’omu maka ge mu lukoola ku mabbali g’Ennyanja Emmyufu; Baleka ebintu byabwe; Leki awaayo ssaddaaka eri Mukama era n’ayigiriza batabani be okukuuma ebiragiro; Lamani ne Lemweri beemulugunya eri kitaabwe; Neefi muwulize era asaba mu kukkiriza; Mukama ayogera naye, era amulonda okufuga baganda be. Nga mu mwaka gwa 600 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Kubanga laba, olwatuuka Mukama n’ayogera eri kitange, weewaawo, ddala mu kirooto, n’amugamba nti: Olina omukisa ggwe Leki, kubanga olw’ebintu by’okoze; era kubanga obadde mwesigwa era n’olangirira eri abantu bano ebintu bye nnakulagira, laba, banoonya okukuggyako obulamu bwo.

2 Era olwatuuka Mukama n’alagira kitange, ddala mu kirooto, nti atwale ab’enju ye agende mu lukoola.

3 Era olwatuuka nti yali muwulize eri ekigambo kya Mukama, n’olwekyo kyeyava akola nga Mukama bwe yamulagira.

4 Era olwatuuka n’agenda mu lukoola. Era n’aleka ennyumba ye, era n’ensi ey’obusika bwe, era ne zaabu we, era ne ffeeza we, era n’ebintu bye eby’omuwendo, era n’atatwala kintu kyonna, wabula amaka ge, era n’emmere, era ne weema, era n’agenda mu lukoola.

5 Era n’aserengeta ku nsalo okumpi n’olubalama lw’Ennyanja Emmyufu; era n’atambula mu lukoola ku nsalo ezisemberedde Ennyanja Emmyufu; era n’atambula mu lukoola n’ab’omu maka ge, omwaali maama wange, Sariya, ne baganda bange abakulu, abaali Lamani, Lemweri, era ne Samu.

6 Era olwatuuka bwe yali atambudde ennaku ssatu mu lukoola, n’asimba weema ye mu kiwonvu ku mabbali g’omugga ogw’amazzi.

7 Era olwatuuka nti n’azimba ekyoto eky’amayinja, era n’awaayo ekiweebwayo eri Mukama, era ne yeebaza Mukama Katonda waffe.

8 Era olwatuuka omugga n’agutuuma erinnya Lamani, era gwali nga guyiwa mu Nnyanja Emmyufu; era n’ekiwonvu kyali ku nsalo okumpi n’omugga gye guyiwa.

9 Era olwo kitange bwe yalaba ng’amazzi g’omugga gakulukutidde mu nsulo y’Ennyanja Emmyufu, yayogera eri Lamani, ng’agamba nti: Ayi singa oyinza okufaanana omugga guno, nga gukulukuta bulijjo mu nsulo y’obutuukirivu bwonna!

10 Era n’ayogera eri Lemweri nti: Ayi watya singa oyinza okufaanana nga ekiwonvu kino, atakyuka era omunywevu, era atasagaasagana mu kukuuma ebiragiro bya Mukama!

11 Kakaano kino yakyogera olw’obukakanyavu bwa Lamani ne Lemweri; kubanga laba beemulugunya mu bintu bingi eri kitaabwe, kubanga yali musajja wa kwolesebwa, era yali abakulembedde okuva mu nsi ya Yerusaalemi, okwabulira ensi ey’obusika bwabwe, era ne zaabu waabwe, era ne ffeeza waabwe, era n’ebintu byabwe eby’omuwendo, bazikirire mu nkoola. Era kino ne bagamba nti yakikola olw’ebirowoozo eby’obusirusiru eby’omutima gwe.

12 Era bwe batyo Lamani ne Lemweri, nga be baali abakulu, ne beemulugunya ku kitaabwe. Era ne beemulugunya kubanga tebaamanya nkola ya Katonda oyo eyabatonda.

13 Era tebakkiriza nti Yerusaalemi, ekibuga ekyo ekikulu, kyali kisobola okuzikirizibwa ng’ebigambo bya bannabbi bwe byali. Ne bafaanana ng’Abayudaaya abaali mu Yerusaalemi, abaayagala okuggyawo obulamu bwa kitange.

14 Era olwatuuka kitange n’ayogera nabo mu kiwonvu kya Lemweri, n’amaanyi, ng’ajjudde Omwoyo, okutuusa entegetege lwe zabafamba mu maaso ge. Era ddala yabasirisa ne bibabulira ku matama, ne batamwanukula; n’olwekyo, baakola nga bwe yabalagira.

15 Era kitange n’abeeranga mu weema.

16 Era olwatuuka nze, Neefi, olw’okubeera omuto ennyo, wabula nga ndi wa kiwago, era nga negwanyiza nnyo okumanya ebyekusifu bya Katonda, n’olwekyo, nawanjagira Mukama; era laba yankyalira, n’agonza omutima gwange ddala ne nzikiriza ebigambo byonna ebyayogerwa kitange; n’olwekyo, saamujeemera nga baganda bange.

17 Era ne njogera eri Samu, nga mmutegeeza ebintu Mukama bye yali andaze okuyita mu Mwoyo we Omutukuvu. Era olwatuuka y’akkiriza ebigambo byange.

18 Naye, laba, Lamani ne Lemweri tebaawuliriza bigambo byange; era nga nnakuwadde olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe ne mpanjagira Mukama ku lwabwe.

19 Era olwatuuka Mukama n’ayogera nange, ng’agamba nti: Olina omukisa ggwe, Neefi, olw’okukkiriza kwo, kubanga onnoonyezza n’obunyiikivu, n’obukkakkamu bw’omutima.

20 Era kasita munaakuumanga ebiragiro byange, mujja kukulaakulana, era mulikulemberwa okutuuka mu nsi ensuubize; weewaawo, ddala ensi gye mbategekedde; weewaawo, ensi ey’enkizo okusinga ensi endala zonna.

21 Era baganda bo bwe banaakujeemera, balisalibwako okuva mu maaso ga Mukama.

22 Era kasita onookuumanga ebiragiro byange, olifuulibwa omufuzi era omuyigiriza wa baganda bo.

23 Kubanga laba, mu lunaku olwo lwe balinjeemera, ndibakolimira n’ekikolimo ekinene, era tebalibeera na buyinza ku zzadde lyo okuggyako nga nabo balinjeemera.

24 Era bwe banaanjeemera, balibeera ekikoligo eri ezzadde lyo, okubasasamazanga mu makubo ag’okujjukira.