Scriptures
1 Neefi 6


Essuula 6

Neefi awandiika ku bintu bya Katonda; Ekigendererwa kya Neefi kwe kusendasenda abantu okujja eri Katonda wa Ibulayimu n’okulokolebwa. Nga mu mwaka gwa 600–592 nga Kristo tannazaalibwa.

Era kaakano nze, Neefi, siwa kulambikibwa kw’abuzaale bwa bajjajjaange mu kitundu kino eky’ebiwandiiko byange; so sijja kubuwaayo mu kiseera kyonna ku mbaati zino ze mpandiikako; kubanga buweereddwa mu kiwandiiko ekikuumiddwa kitange; n’olwekyo, sibuwandiika mu mulimu guno.

Kubanga kimala okugamba nti tuli bazzukulu ba Yusufu.

Era si kikulu gye ndi nti ndi mwegendereza okuwa enyinnyonnyolwa enzijjuvu ey’ebintu bya kitange byonna, kubanga tebiyinzika kuwandiikibwa ku mbaati zino, kubanga njagala omwagaanya nsobole okuwandiika ku bintu bya Katonda.

Kubanga ekigendererwa kyange mu bujjuvu kwe kusikiriza abantu okujja eri Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo, era balokolebwe.

N’olwekyo, ebintu ebisanyusa ensi sibiwandiika, wabula ebintu ebisanyusa Katonda n’abo abatali ba nsi.

N’olwekyo, nja kuwa ekiragiro eri ezzadde lyange, baleme kujjuza mbaati zino n’ebintu ebitali bya mugaso eri abaana b’abantu.