Ekitabo kya Neefi Ekisooka
Obufuzi bwe era n’Obuweereza
Ennyinyonnyolwa y’ebikolwa bya Leki era ne mukyala we Saliya, era ne batabani be abana, nga bayitibwa, (okutandikira ku mukulu) Lamani, Lemweri, Samu, era ne Neefi. Mukama alabula Leki okuva mu nsi ya Yerusaalemi, kubanga awa obunnabbi eri abantu ku bikwata ku butali butuukirivu bwabwe era bafuba okusaanyaawo obulamu bwe. Atambula olugendo lwa nnaku ssatu mu lukoola n’abo mu maka ge. Neefi atwala baganda be era ne baddayo mu nsi ya Yerusaalemi okufuna ekiwandiiko ky’Abayudaaya. Ennyinyonnyolwa y’okubonaabona kwabwe. Bawasa bawala ba Isimayiri. Batwala ab’omu maka gaabwe era ne bagenda mu lukoola. Obuyinike n’ebibonoobono byabwe mu lukoola. Ekkubo ly’entambula zaabwe. Bajja ku mazzi amangi. Baganda ba Neefi bamujeemera. Abawakanya, era n’azimba ekyombo. Ekifo kino bakituuma erinnya Kyengera. Basomoka amazzi amangi ne bayingira mu nsi ensuubize, era n’ebirala. Bino byesigamiziddwa ku nnyinyonnyolwa ya Neefi; oba mu ngeri endala, nze, Neefi, nnawandiika ekiwandiiko kino.
Essuula 1
Neefi atandika ekiwandiiko ky’abantu be; Leki alaba mu kwolesebwa empagi ey’omuliro era n’asoma okuva mu kitabo eky’obunnabbi; Atendereza Katonda, alanga okujja kwa Masiya, era alanga okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi; Ayigganyizibwa Abayudaaya. Nga mu mwaka gwa 600 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Nze, Neefi, olw’okuba nnazaalibwa abazadde abalungi, n’olwekyo nnasomesebwaako mu kuyiga kwa kitange kwonna; era nga ndabye okubonaabona kungi mu biro byange, wabula, olw’okusiimibwa ennyo Mukama mu biro byange byonna; weewaawo, olw’okubeera n’okumanya okussukkulumye ku bulungi n’ebyekusifu bya Katonda, n’olwekyo nkola ekiwandiiko ky’ebikolwa byange mu biro byange.
2 Weewaawo, nkola ekiwandiiko mu lulimi lwa kitange, olulimu okuyiga okw’Abayudaaya era n’olulimi lw’Abamisiri.
3 Era mmanyi nti ekiwandiiko kye nkola kya mazima; era nkikola n’omukono gwange; era nkikola okusinziira ku kumanya kwange.
4 Kubanga olwatuuka ku ntandikwa y’omwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa Zeddekiya, kabaka w’Abayudaaya, (kitange, Leki, yali abeera mu Yerusaalemi mu biro bye byonna); era mu mwaka ogwo gwe gumu ne wajja bannabbi bangi, nga bawa obunnabbi eri abantu nti balina okwenenya, oba ekibuga ekikulu Yerusaalemi kirina okuzikirizibwa.
5 N’olwekyo olwatuuka nti kitange, Leki, bwe yali agenda n’asaba Mukama, weewaawo, n’omutima gwe gwonna, ku lw’abantu be.
6 Era olwatuuka bwe yali ng’asaba Mukama, empagi ey’omuliro n’ejja n’etuula ku lwazi mu maaso ge; n’alaba era n’awulira bingi; era olw’ebintu bye yalaba n’ebyo bye yawulira n’akankana nnyo n’entegetege okumufamba.
7 Era olwatuuka nti n’addayo mu nnyumba ye Yerusaalemi; era ne yeesuula ku kitanda kye, olw’ekimenyomenyo eky’okujjuzibwa Omwoyo era n’ebintu bye yali alabye.
8 Era bw’atyo nga ajjuziddwa Omwoyo, n’atwalibwa mu kwolesebwa, ddala n’alaba eggulu nga liggule, n’alowooza nti yalaba Katonda ng’atudde ku namulondo ye, nga yeetooloddwa ebibinja bya bamalayika ebitabalika mu mbeera ey’okuyimba n’okutendereza Katonda waabwe.
9 Era olwatuuka nti n’alaba Omu ng’akka okuva wakati mu ggulu, era n’alaba ng’okwaakayakana kwe kusinga okw’enjuba emisana mu ttuntu.
10 Era nate n’alaba abalala ekkumi n’ababiri nga bamugoberera, era n’okumasamasa kwabwe kwali kusukka okw’emmunyeenye eziri mu bbanga.
11 Era ne bakka ne bagenda ku nsi; era eyasooka n’ajja n’ayimirira mu maaso ga kitange, n’amukwasa ekitabo, n’amulagira asome.
12 Era olwatuuka nti bwe yali asoma, n’ajjuzibbwa Omwoyo wa Mukama.
13 Era n’asoma ng’agamba nti: Zikusanze, zikusanze, gwe Yerusaalemi, kubanga ndabye ebikolobero byo! Weewaawo, era n’ebintu bingi kitange bye yasoma ebikwata ku Yerusaalemi; nti kirina okizikirizibwa, n’abatuuze baakyo; bangi bakuzikirizibwa n’ekitala, era n’abangi batwalibwe mu buwambe mu Babulooni.
14 Era olwatuuka nti kitange bwe yasoma n’okulaba ebintu ebingi ebissukkulumu era ebyewuunyisa, n’ayogera ebintu bingi eri Mukama; gamba nga: Nga bissukkulumu era byewuunyisa bye wakola, Ayi Mukama Katonda Ayinza byonna! Namulondo yo eri waggulu mu ggulu, era n’amaanyi go, era n’obulungi bwo, era n’okusaasira biri ku bantu bonna abo ku nsi; era, kubanga oli musaasizi, tolikkiriza abo abajja gy’oli okuzikirira!
15 Era oluvannyuma lw’engeri eno bwe byali ebigambo bya kitange mu kutendereza Katonda we; kubanga emmeeme ye yasanyuka, era n’omutima gwe gwonna ne gujjuzibwa, olw’ebintu bye yali alabye, weewaawo, Mukama bye yali amulaze.
16 Era kaakano nze, Neefi, sinnyonnyola mu bujjuvu ebintu kitange bye yawandiika, kubanga awandiise ebintu ebingi bye yalaba mu kwolesebwa ne mu birooto; era nate yawandiika ebintu ebingi eby’obunnabbi era bye yayogera eri abaana be, bye sijja kunnyonnyola mu bujjuvu.
17 Naye nja kuwa ennyinyonnyolwa ey’ebikolwa byange mu biro byange. Laba, nkola mu bufunze ekiwandiiko kya kitange, ku mbaati ze nakoze n’emikono gyange; n’olwekyo, oluvannyuma lw’okufunza ekiwandiiko kya kitange olwo ndiwa ennyinyonnyolwa ey’obulamu bwange.
18 N’olwekyo, nnandyagadde nti mmwe mumanye, nti Mukama bwe yamala okulaga ebintu ebyewuunyisa ebingi nnyo eri kitange, Leki, weewaawo, ebikwata ku kuzikirizibwa kwa Yerusaalemi, laba yagenda mu bantu, era n’atandika okuwa obunnabbi n’okulangirira gye bali ebikwata ku bintu bye yali alabye era bye yali awulidde.
19 Era olwatuuka Abayudaaya ne bamuŋŋoola olw’ebintu ebibakwataako bye y’awako obujulizi; kubanga ddala y’awa obujulizi ku bibi byabwe era n’ebikolobero byabwe; era n’awa obujulizi nti ebintu bye yalaba era ne bye yawulira, era n’ebintu bye yasoma mu kitabo, byayoleka bulungi okujja kwa Masiya, era n’okununulibwa kw’ensi.
20 Era Abayudaaya bwe baawulira ebintu bino ne bamusunguwalira; weewaawo, ddala nga bwe kiri eri bannabbi ab’edda, be baagobera ebweru, era ne babakuba amayinja, era ne battibwa; era nabo bwe balondoola obulamu bwe, balyoke babuggyewo. Naye laba, nze, Neefi, nja kubalaga nti okusaasira kwa Mukama okw’ekisa kuli ku abo bonna be yalonda, olw’okukkiriza kwabwe, okubafuula abassukkulumu ddala okutuuka ku maanyi ag’okununulibwa.