Essuula 10
Leki alagula nti Abayudaaya bajja kutwalibwa Abababulooni mu buwambe; Ayogera ku kujja mu Bayudaaya okwa Masiya, omulokozi, omununuzi; Leki ayogera ne ku kujja kw’oyo alina okubatiza Omwana gw’endiga gwa Katonda; Leki ayogera ku kufa era n’okuzuukira kwa Masiya; Agerageranya okusaasaana era n’okukuŋŋaana kwa Isiraeri ku muti omuzabibu; Neefi ayogera ku Mwana wa Katonda, ku kirabo eky’Omwoyo Omutukuvu, era n’obwetaavu bw’obutuukirivu. Nga 600–592 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era kaakano nze, Neefi, ŋŋenda mu maaso n’okuwa enyinnyonnyolwa ku mbaati zino ebikolwa byange, n’obufuzi bwange era n’obuweereza bwange; n’olwekyo, okugenda mu maaso n’enyinnyonnyolwa yange, nnina okwogera mu ngeri emu ku bintu bya kitange, era ne bya baganda bange.
2 Kubanga laba, era olwatuuka nga kitange amaze okwogera ebigambo by’ekirooto kye, era n’eby’okubabuulirira mu bunyiikivu bwonna, n’ayogera gye bali ku bikwata ku Bayudaaya;
3 Nti oluvannyuma lw’okuzikirizibwa, ddala n’ekibuga ekyo ekikulu Yerusaalemi, era bangi batwalibwe mu buwambe mu Babulooni, okusinziira ku kiseera kyennyini ekituufu ekya Mukama, balidayo nate, weewaawo, ddala bakomezebwawo okuva mu buwambe; era oluvannyuma lw’okukomezebwawo okuva mu buwambe badizibwe nate ensi ey’obusika bwabwe.
4 Weewaawo, ddala emyaka lukaaga okuva ekiseera kitange lwe yava e Yerusaalemi, olwo Mukama Katonda aliyimusa nnabbi mu Bayudaaya; ddala Masiya, oba, mu ngeri endala, Omulokozi w’ensi.
5 Era n’ayogera ne ku bannabbi, engeri omuwendo omunene gye gwali guwadde obujulizi ku bintu bino, ebikwata ku Masiya, gwe yali ayogedde ko, oba ono Omununuzi w’ensi.
6 N’olwekyo, abantu bonna baali mu mbeera ey’okubula era n’okuwaba, era bulijjo banabeeranga okujjako nga besigamye ku Mununuzi ono.
7 Era n’ayogera ne ku nnabbi alina okujja nga Masiya tannajja, okuteekateeka ekkubo lya Mukama.
8 Weewaawo, ddala yalina okugenda mu lukoola awanjage nti: Mutegeke ekkubo lya Mukama, era mugolole amakubo ge; kubanga waliwo omu ayimiridde mu mmwe gwe mutamanyi; era ye w’amaanyi okusinga nze, obuguwa bw’engatto ze bwe sisaanira kusumulula. Era bingi nnyo kitange bye yayogera ku kintu kino.
9 Era kitange n’agamba nti alibatiza mu Bessaniya, okussukka Yoludaani; era yagamba alibatiza n’amazzi; ddala nti alina okubatiza Masiya n’amazzi.
10 Era bw’anaamala okubatiza Masiya n’amazzi, alina okulaba era awe obujulizi nti yali abatiza Omwana gw’endiga, oyo alina okuggyawo ebibi by’ensi.
11 Era olwatuuka oluvannyuma nga kitange amaze okwogera ebigambo bino yayogera eri baganda bange ebikwata ku njiri erina okubuulirwa mu Bayudaaya, era n’ebikwata ku kubula kw’Abayudaaya mu butakkiriza. Era bwe balimala okutta Masiya, oyo alijja, era oluvannyuma lw’okuttibwa alizuukira okuva mu bafu, era alyeeyoleka, n’amaanyi ag’Omwoyo Omutukuvu, eri Abamawanga.
12 Weewaawo, ddala kitange yayogera bingi ebikwata ku Bamawanga, era n’ebikwata ku nnyumba ya Isiraeri, nti bigeraageranyizibwe ku muti gw’omuzabibu, amatabi gaagwo agalina okumenyebwako era gasaasaanyizibwe ku nsi yonna.
13 N’olwekyo, yagamba nti kiteekwa okuba nga tusaanidde okukulemberwa n’endowooza emu mu nsi ensuubize, eri okutuukiriza ekigambo kya Mukama, nti tulina okusaasaanira ku nsi yonna.
14 Era oluvannyuma lw’ennyumba ya Isiraeri okusaasaanyizibwa baddemu okukuŋŋaanyizibwa nate; oba, mu kumaliriza, oluvannyuma Abamawanga nga bamaze okufuna obujjuvu bw’Enjiri, amatabi ag’obutonde ag’omuzabibu, oba abaafikkawo ku b’ennyumba ya Isiraeri, balina okusimbibwamu ng’ettabi, oba bafune okumanya kwa Masiya omutuufu, Mukama waabwe era Omununuzi waabwe.
15 Era mu lulimi olw’engeri eno kitange yawa obunnabbi eri baganda bange, era n’ebintu ebirala bingi bye siwandiika mu kitabo kino; kubanga mpandiise bingi ku byo nga bwe kiŋŋwanidde mu kitabo kyange ekirala.
16 Era ebintu bino byonna, bye njogeddeko, byakolebwa nga kitange abeera mu weema, mu kiwonvu kya Lemweri.
17 Era olwatuuka oluvannyuma nze, Neefi, nga mmaze okuwuulira ebigambo bya kitange byonna, ebikwata ku bintu bye yalaba mu kwolesebwa, era n’ebintu bye yayogera n’amaanyi ag’Omwoyo Omutukuvu, amaanyi ge yafuna olw’okukkiririza mu mwana wa Katonda; era Omwana wa Katonda ye yali Masiya alijja; nze, Neefi, nali negwanyiza nate nti nsobole okulaba, era mpulire, era mmanye ebintu bino, n’amaanyi ag’Omwoyo Omutukuvu, nga ky’ekirabo kya Katonda eri abo abamunoonya n’obunyiikivu, nga bwe kyali mu biseera eby’edda era ne mu kiseera kye yalina okweyoleka eri abaana b’abantu.
18 Kubanga y’omu jjo, leero, era n’emirembe gyonna; era ekkubo litegekeddwa ku lw’abantu bonna okuva ku musingi gw’ensi, singa kiba nti beenenya ne bajja gy’ali.
19 Kubanga oyo anoonya n’obunyiikivu alizuula; era ebyekusifu bya Katonda ebitamanyikiddwa biribabikkulirwa, n’amaanyi ag’Omwoyo Omutukuvu, nga bwe kiri mu biseera bino nga era bwe kyali ne mu biseera eby’edda, era nga bwe kiri mu biseera eby’edda nga mu biseera ebijja; n’olwekyo, enkola ya Mukama gwe mweetoloolo gumu ogw’olubeerera.
20 N’olwekyo jjukira, Ayi omuntu, kubanga olw’ebikolwa byo byonna olileetebwa mu kulamulwa.
21 N’olwekyo, bwe muba nga munoonya okukola obubi mu nnaku z’okugezesebwa kwammwe, olwo mmwe musangibwe nga temuli balongoofu mu maaso g’entebbe ey’obulamuzi eya Katonda; era tewali kintu kitali kilongoofu kiyinza kubeera ne Katonda; n’olwekyo, muteekwa okusuulibwa ebbali emirembe gyonna.
22 Era Omwoyo Omutukuvu awa obuyinza nti njogere ebintu bino, era sibyegaana.