Essuula 13
Neefi alaba mu kwolesebwa ekkanisa ya setaani nga eteekebwawo mu Bamawanga, okuzuula n’okufuga amatwale g’Amerika, okubuzibwa kw’ebitundu bingi ebyangu okutegeera era eby’omuwendo ebya Baibuli, embeera eyava mu Bamawanga okusuula enzikiriza mu Katonda, okuzzaawo enjiri, okujja kw’ebyawandiikibwa eby’ennaku ez’oluvannyuma, era n’okuzimba Sayuuni. Nga 600–592 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era olwatuuka nti malayika yayogera gye ndi, ng’agamba nti: Tunula! Era nnatunula era nnalaba amawanga mangi n’obwakabaka.
2 Era malayika n’aŋŋamba: Kiki ggwe kyolaba? Era ne ŋŋamba: Ndaba amawanga mangi n’obwakabaka.
3 Era n’aŋŋamba: Gano ge mawanga n’obwakabaka bw’Abamawanga.
4 Era olwatuuka nti nnalaba mu mawanga g’Abamawanga okutondebwawo kw’ekkanisa ey’amaanyi.
5 Era malayika n’aŋŋamba: Laba okutondebwawo kw’ekkanisa esinga okuzira mu kkanisa endala zonna, etta abatukuvu ba Katonda, weewaawo, n’ebatulugunya era n’okubasibira wansi, era n’okubasiba ekikoligo ky’ekyuma, era n’ebatwaala mu buwambe.
6 Era olwatuuka nti nnalaba ekkanisa eno ey’amaanyi era ezira; era nnalaba setaani nti ye yali omutandisi waayo.
7 Era nnalaba zaabu, era ne ffeeza, era ne ssirika, era ne engoye emmyufu, era ne bafuta eziriko amabala amalungi, era n’engoye ez’omuwendo eza buli ngeri; era nnalaba abenzi bangi.
8 Era malayika n’ayogera gye ndi, ng’agamba: Laba zaabu, era ne ffeeza, era ne ssirika omungi, era ebyambalo ebimyufu, era ne bafuta eziriko amabala amalungi, era n’engoye ez’omuwendo, era n’abenzi, bye by’okwegomba kw’ekkanisa eno ey’amaanyi era ezira.
9 Era nate olw’okutenderezebwa ensi bazikiriza abatukuvu ba Katonda, era ne babazza wansi mu buwambe.
10 Era olwatuuka nti nnatunula era nnalaba amazzi amangi; era gaali gaawudde Abamawanga okuva ku zzadde lya baganda bange.
11 Era olwatuuka malayika n’aŋŋamba nti: Laba obusungu bwa Katonda buli ku zzadde lya baganda bo.
12 Era nnatunula era nnalaba omusajja mu Bamawanga, eyayawulwa ku b’ezzadde lya baganda bange n’amazzi amangi; era nnalaba Omwoyo wa Katonda, nti y’akka wansi ku musajja; era n’asabala amazzi amangi, ddala ng’adda eri enzadde lya baganda bange, abaali mu nsi ensuubize.
13 Era olwatuuka nti nnalaba Omwoyo wa Katonda, nti y’akka ku Bamawanga abalala; era ne bava mu buwambe, ku mazzi amangi.
14 Era olwatuuka nti nnalaba ebibinja ebinene eby’Abamawanga bingi ku nsi ensuubize; era nnalaba obusungu bwa Katonda, nti bwaali ku zzadde lya baganda bange; era nga baagobaganyizibwa Abamawanga era baakubibwa.
15 Era nnalaba Omwoyo wa Mukama, nti yali ku Bamawanga, era bakulaakulana era baafuna ensi olw’obusika bwabwe; era nnalaba nga baali beeru, era nga banyirivu nnyo era nga balungi, nga abantu bange bwe baali nga tebannattibwa.
16 Era olwatuuka nti nze, Neefi, nnalaba nti Abamawanga abaali bavudde mu buwambe beetoowaza mu maaso ga Mukama; era amaanyi ga Mukama gaali nabo.
17 Era nnalaba nti bannyaabwe Abamawanga abo baali bakuŋŋaanidde wamu ku mazzi, era ne ku ttaka nate, okulwanagana nabo.
18 Era nnalaba nti amaanyi ga Katonda gaali nabo, era n’obusungu bwa Katonda bwali kw’abo bonna abaali bakuŋŋaanidde awamu okubalwanyisa mu lutalo.
19 Era nze, Neefi, nnalaba nti Abamawanga abaali bavudde mu buwambe baanunulibwa n’amaanyi ga Katonda okuva mu mikono gy’amawanga amalala gonna.
20 Era olwatuuka nti nze, Neefi, nnalaba nti baakukulaakulana mu nsi; era nnalaba ekitabo, era ne kitwalibwa mu bo.
21 Era malayika n’aŋŋamba: Omanyi ggwe amakulu g’ekitabo?
22 Era ne mugamba: Simanyi.
23 Era n’agamba: Laba kifuluma okuva mu kamwa k’Omuyudaaya. Era nze, Neefi, nnakilaba; era n’aŋŋamba: Ekitabo ekyo gwe ky’olaba ky’ekiwandiiko ky’ebyafaayo by’Abayudaaya, ekirimu endagaano za Mukama, zeyakola eri ennyumba ya Isiraeri; era kirimu obunnabbi bungi obwa bannabbi abatukuvu; era kiwandiiko ekifaanana ebyawandiikibwa ku mbaati ez’ekikomo, newankubadde nga sibingi nnyo; wabula, birimu endagaano za Mukama, zeyakola eri ennyumba ya Isiraeri; n’olwekyo, za muwendo mungi nnyo eri Abamawanga.
24 Era malayika wa Mukama n’agamba: Ggwe olabye nti ekitabo kiva mu kamwa k’Omuyudaaya; era bwe kyafuluma okuva mu kamwa k’Omuyudaaya kyalimu obujjuvu bw’enjiri ya Mukama, oyo abatume ekkumi n’ababiri gwe bawako obujulizi; era bawa obujulizi okusinziira ku mazima agali mu Mwana gw’endiga.
25 N’olwekyo, ebintu bino biva mu Bayudaaya mu bulongoofu eri Abamawanga, okusinziira ku mazima agali mu Katonda.
26 Era bwe byeyoongera mu maaso n’omukono gw’abatume ekkumi n’ababiri ab’Omwana gw’endiga, okuva mu Bayudaaya eri Abamawanga, gwe olaba okutondebwawo kw’ekkanisa ey’amaanyi era ezira, esinga okuzira mu makkanisa amalala gonna; kubanga laba, baggye okuva mu njiri y’Omwana gw’endiga ebitundu bingi ebitegeerekeka era ebisinga okuba eby’omuwendo; era n’endagaano nyingi eza Mukama zebattutte.
27 Era bino byonna babikoze nti basobole okwonoona amakubo amatuufu aga Mukama, olwo bisobole okuziba amaaso n’okukakanyaza emitima gy’abaana b’abantu.
28 N’olwekyo, gw’olaba nti oluvannyuma lw’ekitabo nga kigenze maaso okuyita mu mikono gy’ekkanisa ey’amaanyi era ezira, nti waliwo ebintu bingi ebitegeerekeka era eby’omuwendo ebyaggibwa mu kitabo, nga kye kitabo ky’Omwana gw’endiga gwa Katonda.
29 Era oluvannyuma lw’ebintu bino ebitegeerekeka era eby’omuwendo nga bitwaalibwa ne kigenda eri amawanga gonna ag’Abamawanga; era oluvannyuma nga kibunye amawanga gonna ag’Abamawanga, weewaawo, era n’okusaabala amazzi amangi ago g’olabye n’Abamawanga abo abaava mu busibe, gwe olaba; kubanga ebigambo biingi era eby’omuwendo byagibwa mu kitabo, ebyali ebyaangu eri okutegeera kw’abaana b’abantu, okusinziira ku butangaavu obuli mu Mwana gw’endiga gwa Katonda; ku lw’ebintu bino ebyaggyibwa okuva mu ngiri y’Omwana gw’endiga, abangi ennyo beesittala, weewaawo, okutuuka nti Setaani alina amaanyi mangi ku bo.
30 Wadde nga kiri kityo, ggwe olaba nti Abamawanga abavudde mu buwambe, era ne bayimussibwa amaanyi ga Katonda okusinga amawanga amalala gonna, ku nsi ey’enkizo okusinga ensi endala zonna, nga eno y’ensi Mukama Katonda gye yalagaana ne kitaawo nti abaana be gye balifuna ng’ensi ey’obusika bwabwe; n’olwekyo, ggwe olaba nti Mukama Katonda talireka Abamawanga basaannyizeewo ddala ezzadde lyo ettabulettabule, abali mu baganda bo.
31 Era talireka wadde Abamawanga okusaanyaawo ab’ezzadde lya ba baganda bo.
32 So Mukama Katonda talireka Bamawanga okusigala mu mbeera ey’obuzibe bw’amaaso, eyo gy’olaba gye balimu, olw’ebitundu ebyangu okutegeera era eby’omuwendo omungi eby’enjiri y’Omwana gw’endiga ebyakukulibwa ekkanisa eyo ezira, okutondebwa kwaayo gwe kw’olabye.
33 N’olwekyo ayogera Omwana gw’endiga gwa Katonda: Ndibeera wakisa eri Abamawanga, okutuuka okukyalira abaasigala kw’abo ab’ennyumba ya Isiraeri mu musango omunene.
34 Era olwatuuka nti malayika wa Mukama n’ayogera gye ndi, ng’agamba: Laba, bw’ayogera Omwana gw’endiga gwa Katonda, oluvannyuma nga maze okukyalira abaasigala kw’abo ab’ennyumba ya Isiraeri; era bano abaasigala benjogerako be baana ba kitaawo; n’olwekyo, oluvannyuma nga maze okubakyalira mu kubasalira omusango, era n’okubakuba n’omukono gw’Abamawanga, era oluvannyuma nga Abamawanga bessittadde ekisusse, ku lw’ebitundu ebyangu okutegeera era eby’omuwendo omungi eby’enjiri y’Omwana gw’endiga ebibadde byakwekebwa ekkanisa eyo ezira, eyo nnyina w’abenzi, bw’ayogera Omwana gw’endiga; Ndibeera wa kisa eri Abamawanga mu lunaku olwo, okutuuka nti ndibaleetera, mu maanyi gange, enjiri yange mu bungi, eribeera enyangu okutegeera era ey’omuwendo omungi, bw’ayogera Omwana gw’endiga.
35 Kubanga, laba, bw’ayogera Omwana gw’endiga: Ndyeeyoleka eri ezzadde lyo, nti baliwaandiika ebintu biingi byendiweereza gye bali, ebiriba ebyangu okutegeera era eby’omuwendo omungi; era oluvannyuma ezzadde lyo okuzikirizibwa, era ne babula mu butakukiriza, era ezzadde lya baganda bo, laba, ebintu bino birikwekebwa, okujja eri Abamawanga, olw’ekirabo n’amaanyi g’Omwana gw’endiga.
36 Era mu bo enjiri yange eriwandiikibwa, bw’ayogera Omwana gw’endiga, era olwazi lwange era obulokozi bwange.
37 Era bamukisa abo abalifuba okuleta nate Sayuuni yange ku lunaku olwo, kubanga bo baliba n’ekirabo era n’amaanyi ag’Omwoyo Omutukuvu; era bwe baliguminkiriza okutuuka ku nkomerero baliyimusibwa ku lunaku olusembayo, era balirokolebwa mu bwakabaka obw’olubeerera obw’Omwana gw’endiga; era buli alilangirira emirembe, weewaawo, amawuulire amalungi ag’esannyu eringi, nga kilungi ku nsozi nti baliba.
38 Era olwatuuka nti nnalaba abaasigala ku b’ezzadde lya baganda bange, era n’ekitabo ky’Omwana gw’endiga, ekyali kivudde mu kamwa k’Omuyudaaya, nti kyajja okuva mu Bamawanga eri abaasigala ku b’ezzadda lya baganda bange.
39 Era bwe kyamala okujja gye bali nnalaba ebitabo ebirala, ebyajja olw’amaanyi ag’Omwana gw’endiga, okuva eri Abamawanga okutuuka gye bali, n’okutuuka okukirizisa Abamawanga era n’abasigala ab’ezzadde lya baganda bange, era nate n’Abayudaaya abali basasanye wonna munsi yonna, nti ebiwandiiko bya bannabbi era n’abatume ekkumi n’ababiri ab’Omwana gw’endiga bituufu.
40 Era malayika n’ayogera nange ng’agamba: Bino ebiwandiiko ebisembayo, gwe by’olabye mu Bamawanga, binaateekawo amazima g’ebyo ebyasooka, eby’abatume ekkumi n’ababiri ab’Omwana gw’endiga, era birimanyisa ebintu ebyangu okutegeera era eby’omuwendo omungi ebyabiggyibwaamu; era birikola okumanyisa eri ebika byonna, ennimi, era n’abantu, nti Omwana gw’endiga gwa Katonda ye Mwana wa Kitaffe Abeerera era Omulokozi w’ensi; era nti abantu bonna balina okujja gy’ali, oba si ekyo tebayinza kulokolebwa.
41 Era balina okujja okusinziira ku bigambo ebiriteekebwaawo okuva mu kamwa k’Omwana gw’endiga; era ebigambo by’Omwana gw’endiga birimanyika mu biwandiiko by’ezzadde lyo, era ne mu biwandiiko by’abatume ekkumi n’ababiri ab’Omwana gw’endiga; n’olwekyo byombi biriteekebwaawo mu kimu; kubanga waliwo Katonda omu n’omusumba omu ku nsi yonna.
42 Era ekiseera kijja nti alyeeyoleka eri amawanga gonna, gombi eri Abayudaaya era nate n’eri Abamawanga; era oluvannyuma nga amaze okweyoleka eri Abayudaaya era n’eri Abamawanga, olwo alyoke yeyoleke eri Abamawanga era n’eri Abayudaaya, era nate eri Abayudaaya, era ab’oluvannyuma balibeera ab’olubereberye, era ab’olubereberye baliba ab’oluvannyuma.