Essuula 5
Saliya yeemulugunya ku Leki; Bombi basanyuka olw’okudda kwa batabani baabwe; Bawaayo ssaddaaka; Embaati ez’ekikomo zirimu ebiwandiiko bya Musa era ne bannabbi; Embaati ziraga Leki ng’omuzzukulu wa Yusufu; Leki awa obunnabbi ku bikwata ku zzadde lye era n’okukuuma embaati. Nga mu mwaka gwa 600–592 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era olwatuuka nga tukiridde mu lukoola eri kitaffe, laba, yajjula essanyu, era ne mmange, Saliya, yasanyuka bya nsusso, kubanga ddala yali akungubaze ku lwaffe.
2 Kubanga yali alowoozezza nti twazikiririra mu lukoola; era nate yali yeemulugunyizza ku kitange, ng’amugamba nti yali musajja wa kwolesebwa; ng’agamba nti: Laba otukulembedde okuva mu nsi ey’obusika bwaffe, ne batabani bange tebakyaliwo, era tuzikirira mu nkoola.
3 Era okusinziira ku lulimi olw’engeri eno mmange yeemulugunya eri kitange.
4 Era olwatuuka kitange n’ayogera gy’ali, ng’agamba nti: Mmanyi nga ndi musajja wa kwolesebwa; kubanga singa nnali ssilabye bintu bya Katonda mu kwolesebwa, ssanditegedde bulungi bwa Katonda, naye nnandibadde e Yerusaalemi, era ne nzikirira wamu ne baganda bange.
5 Naye laba, nfunye ensi ensuubize, by’ebintu mmwe nsanyukira; weewaawo, era nkimanyi nti Mukama ajja kununula batabani bange okuva mu mikono gya Labani, era abaserengese gye tuli mu lukoola.
6 Era okusinziira ku lulimi olw’engeri eno kitange, Leki, yabudaabuda mmange, Saliya, ku bikwata ku ffe, bwe twaali tutambula mu lukoola okutuuka mu nsi ya Yerusaalemi, okufuna ekiwandiiko ky’Abayudaaya.
7 Era bwe twaddayo mu weema ya kitange, laba babugaana essanyu, era ne mmange n’abudaabudibwa.
8 Era n’ayogera ng’agamba nti: Kaakano nkimanyi bulungi nti Mukama alagidde baze okuddukira mu lukoola; weewaawo, era nate nkimanyi bulungi nti Mukama akuumye batabani bange, n’abanunula okuva mu mikono gya Labani, era n’abawa amaanyi mwebasoboledde okutuukiriza ekintu Mukama kye yabalagira. Era mu bigambo eby’engeri eno bwe yayogera.
9 Era olwatuuka ne basanyuka nnyo, era ne bawaayo ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama; era ne beebaza Katonda wa Isiraeri.
10 Era bwe baamala okwebaza Katonda wa Isiraeri, kitange, Leki, n’atwala ebiwandiiko ebyayolebwa ku mbaati ez’ekikomo, era na by’ekkaanya okuva ku lubereberye.
11 Era n’alaba nga birimu ebitabo bya Musa ebitaano, ebyawa enyinnyonnyolwa y’okutondebwa kw’ensi, era ne ku Adamu ne Kaawa, abaali bazadde baffe abaasooka;
12 Era n’ekiwandiiko ekikwata ku Bayudaaya okuva ku lubereberye, okutuukira ddala ku ntandikwa y’obufuzi bwa Zeddekiya kabaka wa Buyudaaya;
13 Era n’obunnabbi bwa bannabbi abatukuvu, okuva ku lubereberye, okutuukira ddala ku ntandikwa y’obufuzi bwa Zeddekiya; era nate n’obunnabbi bungi obwogerwa akamwa ka Yeremiya.
14 Era olwatuuka nti kitange, Leki, nate yasanga ku mbaati ez’ekikomo okulambikibwa kw’obuzaale bwa bajjajjaabe; n’olwekyo yamanya nti yali muzzukulu wa Yusufu; weewaawo, ddala Yusufu oyo eyali mutabani wa Yakobo, eyatundibwa mu Misiri, era eyakuumibwa omukono gwa Mukama, asobole okutaasa kitaawe, Yakobo, n’ennyumba ye yonna obutazikirizibwa na njala.
15 Era bakulemberwa okuva mu buwaŋŋanguse era ne mu nsi ye Misiri, Katonda oyo yennyini eyabakuuma.
16 Era bwe kityo kitange, Leki, yazuula okulambikibwa kw’obuzaale bwa bajjajjaabe. Era ne Labani yali muzzukulu wa Yusufu, n’olwekyo ye ne bajjajjaabe kyebaava baakuuma ebiwandiiko.
17 Era kaakano kitange bwe yalaba ebyo byonna, n’ajjula Omwoyo, n’atandika okuwa obunnabbi obukwata ku zzadde lye;
18 Nti embaati zino ez’ekikomo zibunyisibwe eri amawanga gonna, n’ebika byonna, n’ennimi zonna, n’abantu abava mu zzadde lye.
19 N’olwekyo, yagamba nti embaati zino ez’ekikomo tezirina kuzikirizibwa; era tezirina kuddamu kuzigama olw’ebiro. Era n’awa obunnabbi ku bintu bingi ebikwata ku zzadde lye.
20 Era olwatuuka okutuusa kaakati nze era ne kitange twakwatanga ebiragiro nga Mukama bwe yali atulagidde.
21 Era twali tufunye ebiwandiiko Mukama bye yali atulagidde, era ne tubyekenneenya netuzuula nga byagalibwa; weewaawo, nga bya muwendo mungi gye tuli, okutuuka nti tusobola okukuuma ebiragiro bya Mukama eri abaana baffe.
22 N’olwekyo, gaali magezi mu Mukama okubitwala naffe, nga tutambula mu lukoola nga twolekera ensi ensuubize.