Essuula 22
Isiraeri eri saasaanyizibwa ku maaso g’ensi yonna; Abamawanga bajja kubudabuda era n’okuliisa Isiraeri enjiri mu nnaku ez’oluvannyuma; Isiraeri ejja kukuŋŋaanyizibwa n’okulokolebwa, era ababi bajja kwokebwa nga essubi; Obwakabaka bwa setaani bujja kuzikirizibwa, era ne Setaani alisibibwa. Nga 588–570 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era kaakano olwatuuka nti oluvannyuma nga nze, Neefi, nnali nsomye ebintu bino ebyali biwandiikiddwa ku mbaati ez’ekikomo, baganda bange ne bajja gye ndi era ne baŋŋamba nti: Bitegeezaki ebintu bino gwe by’osomye? Laba, byakutegeerebwa okusinziira nga bwe kiri ku bintu eby’omwoyo, ebiribaawo okusinziira ku Mwoyo so si mubiri?
2 Era nze, Neefi, nnabagamba nti: Laba byabikkulibwa eri nnabbi n’eddoboozi ly’Omwoyo; kubanga olw’Omwoyo ebintu byonna bimanyisibwa eri bannabbi, ebijja okutuuka ku baana b’abantu okusinziira ku mubiri.
3 N’olwekyo, ebintu ebyo bye nsomye bye bintu ebikwata ku bintu byombi eby’omubiri era n’eby’omwoyo; kubanga kirabika nti ennyumba ya Isiraeri, amangu oba edda, eri saasaanyizibwa ku lukalu lw’ensi yonna, era ne mu mawanga gonna.
4 Era laba, waliwo bangi abaabula edda abatakyamanyi abali e Yerusaalemi. Weewaawo, ebitundu ebisinga obunene ku bika byonna batwaalibwa; era basaasaanye ebuddo n’obuvo ku bizinga eby’omu nnyanja; era gye bali tewali n’omu ku ffe amanyi, okuggyako nti tumanyi nti batwaalibwa.
5 Era okuva lwe bakulemberwa okugenda, ebintu bino biwereddwako obunnabbi ku bbo, era nate bikwata kw’abo bonna abalisaasaanyizibwa era n’okutabulwa oluvannyuma lwa kino, kubanga olw’Omutukuvu wa Isiraeri; kubanga naye bali kakanyaza emitima gyabwe gy’ali; n’olwekyo, balisaasaanyizibwa mu mawanga gonna era balikyayibwa abantu bonna.
6 Wadde nga kiri kityo, oluvannyuma bali budaabudibwa Abamawanga, era Mukama agolodde omukono gwe eri Abamawanga era n’abateerawo akabonero, era abaana baabwe ne basitulibwa mu mikono gyabwe, era ne bawala baabwe basituddwa ku bibegabega byabwe, laba ebintu bino ebyogeddwa bya kiseera; kubanga ezo z’endagaano za Mukama ne bakitaffe; era kitukwatako mu nnaku ezijja, era n’ab’oluganda lwaffe bonna ab’omu nnyumba ya Isiraeri.
7 Era kitegeeza nti ekiseera kijja nti oluvannyuma lw’ennyumba yonna eya Isiraeri nga bamaze okusaasaanyizibwa era n’okutabulwa, nti Mukama Katonda alisitula eggwanga ery’amaanyi mu Bamawanga, weewaawo, ddala ku lukalu lw’ensi eno; era kubanga bo ezadde lyaffe lirisaasaana.
8 Era oluvannyuma lw’ezadde lyaffe okusaasaana Mukama Katonda aligenda mu maaso okukola omulimu ogw’ekitalo mu Bamawanga, ekiribeera eky’omugaso ennyo eri ezadde lyaffe; n’olwekyo, kifaanaanyibwa okubudabudibwa Abamawanga era n’okusitulibwa mu mikono gyabwe era ne ku bibegabega byabwe.
9 Era kiriba kya mugaso eri Abamawanga; so si eri Abamawanga bokka wabula n’eri ennyumba ya Isiraeri yonna, n’okumanyisa endagaano za Kitaffe ow’omu ggulu eri Ibulayimu, nga agamba nti: Okuyita mu zzadde lyo ebika byonna eby’ensi binaaweebwa omukisa.
10 Era nze nnandyagadde, baganda bange, nti mmwe mumanye nti ebika byonna eby’ensi tebiyinza kuweebwa mukisa okuggyako ng’agolodde omukono gwe mu maaso g’amawanga.
11 N’olwekyo, Mukama Katonda ajja kugenda mu maaso n’okugolola omukono gwe mu maaso g’amawanga gonna, mu kuleeta endagaano ze era n’enjiri ye eri abo ab’ennyumba ya Isiraeri.
12 N’olwekyo, alibakomyawo nate okuva mu buwambe, era balikuŋŋaanyizibwa wamu mu nsi z’obusika bwabwe; era balileetebwa okuva mu buziizi era n’okuva mu kizikiza; era balimanya nti Mukama ye Mulokozi waabwe era Omununuzi waabwe, Ow’amaanyi eri Isiraeri.
13 Era n’omusaayi gw’ekkanisa ey’amaanyi era ezira, eyo omwenzi w’ensi yonna, gulibeera ku mitwe gyabwe bennyini; kubanga balirwanagana bbo bokka na bokka, era n’ekitala eky’emikono gyabwe kirigwa ku mitwe gyabwe bennyini, era balitamiira n’omusaayi gwabwe bennyini.
14 Era buli ggwanga eririkulwanyisa, Ayi ennyumba ya Isiraeri, lirikyuusibwa buli limu eri eddala, era ganaagwa mu kinnya kye gaasima okutega abantu ba Mukama. Era n’abo bonna balwanyisa Sayuuni balizikirizibwa, era ne omwenzi oyo omukulu, eyakyusakyusa amakubo amatuufu aga Mukama, weewaawo, ekkanisa ey’amaanyi era ezira, ejja kugwa mu nfuufu era n’okugwa kwayo kuliba kunene.
15 Kubanga laba, bw’ayogera nnabbi, ekiseera kijja mangu nti Setaani taliddamu kuba n’amaanyi ku mitima gy’abaana b’abantu; kubanga olunaku lujja mangu nti bonna ab’amalala era n’abo abakola obubi baliba nga essubi ekkalu; era olunaku lujja nti balina okwokebwa.
16 Kubanga ekiseera kijja mangu nti okujjula kw’obusungu bwa Katonda kuliyibwa ku baana b’abantu bonna; kubanga taligumiikiriza nti ababi balizikiriza abatuukirivu.
17 N’olwekyo, ajja kukuuma abatuukirivu olw’amaanyi ge, ne bwe kinabeera nti obujjuvu bw’obusungu bwe bulina okujja, era n’abutuukirivu bakuumibwa, okutuusa n’okuzikirizibwa kw’abalabe baabwe n’omuliro. N’olwekyo, abatuukirivu tekyetaagisa kutya; kubanga bw’atyo nnabbi bw’ayogera, bajja kununulwa, ne bwe kiba nga kyetaagisa muliro.
18 Mulabe, baganda bange, njogera gye muli, nti ebintu bino mu bbanga ttono biteekwa okujja; weewaawo, ddala omusaayi, era n’omuliro, era n’olufu olw’omukka birina okujja; era kiteekwa okuba ku lukalu lw’ensi eno; era kijja eri abantu okusinziira ku mubiri singa kiba nti bajja kukakanyaza emitima gyabwe eri Omutukuvu wa Isiraeri.
19 Kubanga laba, abatuukirivu tebalizikirira; kubanga ekiseera mazima ddala kiteekwa okujja nti abo bonna abalwanyisa Sayuuni balisalibwako.
20 Era mazima ddala Mukama ajja kutegeka ekkubo eri abantu be, okutuukiriza ebigambo bya Musa, bye yayogera, ng’agamba nti: Mukama Katonda wammwe aliyimusa nnabbi gyemuli, nga nze; muliwulira mwe okusinziira ebintu byonna by’aliyoogera gyemuli. Era kirutuukirira nti abo bonna abatawulirize nnabbi oyo balisalibwako okuva mu bantu.
21 Era kaakano nze, Neefi, nnangirira gye muli, nti nnabbi ono Musa gwe yayogerako ye yali Omutukuvu wa Isiraeri; n’olwekyo, alikola obulamuzi mu butuukirivu.
22 Era abatuukirivu tekibetaagisa kutya, kubanga beebo abatagenda kutabulwatabulwa. Naye bwe bwakabaka bwa setaani, obuliba buzimbiddwa mu baana b’abantu, obwo bwe bwakabaka obuteekebwawo wakati mu abo abali mu mubiri;
23 Kubanga ekiseera kirijja mu bwangu nti ekkanisa zonna ezo ezizimbibwa okufuna amagoba, era n’ezo zonna ezizimbibwa okufuna obuyinza eri omubiri, era n’ezo ezizimbibwa okufuna ettutumu mu maaso g’ensi, era n’abo abanoonya okwegomba kw’omubiri n’ebintu by’ensi, n’okukola obutali butukirivu obw’engeri zonna; weewaawo, mu nkomerero, abo bonna abali mu bwakabaka bwa setaani bebo abeetaaga okutya, era n’okukankana, era n’okujugumira; beebo abatekedwa okuleetebwa wansi ddala mu nfuufu; beebo abateekeddwa okuliibwa nga omuddo gw’ensolo; era kino bwe kiri okusinziira ku bigambo bya nnabbi.
24 Era ekiseera kijja mu bwangu nti abatuukirivu balikulemberwa waggulu ng’ennyana z’omu kisibo, era n’Omutukuvu wa Isiraeri alina okufuga mu matwale, era n’obuyiinza, era n’amaanyi, era n’ekitiibwa ekinene.
25 Era akuŋŋaanya abaana be okuva mu bitundu ebina eby’ensi; n’amanya omuwendo gw’endiga ze, era nazo zimumanyi; era walibaawo ekisibo kimu era n’omusumba omu; Era aliriisa endiga ze, era mu ye zirisanga eddundiro.
26 Era olw’obutuukirivu bw’abantu be, Setaani talina buyinza; n’olwekyo, tayinza kusumululwa okumala ebbanga ery’emyaka emingi; kubanga talina buyinza ku mitima gy’abantu, kubanga babeera mu butuukirivu, era n’Omutukuvu wa Isiraeri y’afuga.
27 Era kaakano laba, nze, Neefi, nkugamba nti ebintu bino byonna birina okujja okusinziira ku mubiri.
28 Naye, laba, amawanga gonna, ebika, ennimi, era n’abantu balibeera bulungi mu Mutukuvu wa Isiraeri singa kiriba nti balyeenenya.
29 Era kaakano nze, Neefi, nkomekkerezza; kubanga sirina buvumu kwogera bisiingawo ku bikwata ku bintu bino.
30 N’olwekyo, baganda bange, nnandyagadde mutegeere nti ebintu ebyo ebiwandiikiddwa ku mbaati ez’ekikomo bituufu; era bijulira nti omuntu alina okuba nga agondera ebiragiro bya Katonda.
31 N’olwekyo, temwetaaga kulowooza nti nze ne kitange ffe ffekka abawadde obujulizi, era n’okubiyigiriza. N’olwekyo, singa munagondera ebiragiro, era ne mugumiikiriza okutuusa ku nkomerero, mmwe mulirokolebwa ku lunaku olusembayo. Era bwe kityo bwe kiri. Amiina.