Scriptures
1 Neefi 16


Essuula 16

Ababi batwala amazima okuba amazibu; Batabani ba Leki bawasa bawala ba Isimayiri; Liyakona eruŋŋamya ekkubo lyabwe mu lukoola; Obubaka obuva eri Mukama buwandiikibwa ku Liyakona buli luvannyuma lwa kiseera; Isimayiri afa, ab’omu maka ge beemulugunya olw’okubonaabona. Nga mu mwaka gwa 600–592 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Era kaakano olwatuuka nti nze, Neefi, nga mmaliriza okwogera ne baganda bange, laba baŋŋamba nti: Ebintu by’otugambye bizibu, bisusse obusobozi bwaffe.

2 Era olwatuuka nabagamba nti nnamanya nga njogedde ebintu ebizibu eri ababi, okusinziira ku mazima; era ng’abatuukirivu bafunye obwenkanya, era mpadde obujulizi nti balisitulibwa ku lunaku olw’enkomerero; n’olwekyo, asingibwa omusango atwala amazima okubeera amazibu, kubanga gabasala okutuukira ddala mu mutima.

3 Era kaakano baganda bange, singa mwali batuukirivu era nga mwagala okuwuliriza amazima, era n’okugassaako omwoyo, mulyoke mutambule mu bugolokofu mu maaso ga Katonda, kale temwandyemulugunyizza olw’amazima, era ne mugamba nti: Oyogera ebintu ebizibu eri ffe.

4 Era olwatuuka nti nze, Neefi, nnakubirizza baganda bange, n’obunyiikivu bwonna, okukuuma ebiragiro bya Mukama.

5 Era olwatuuka nti beetoowazza mu maaso ga Mukama; mu ngeri nti nnafuna essanyu era n’esuubi ddene gye bali, nti banditambudde mu makubo ag’obutuukirivu.

6 Kaakano, ebyo byonna byayogerwa era ne bikolebwa nga kitange aky’abeera mu weema mu kiwonvu kye yayita Lemweri.

7 Era olwatuuka nti nze, Neefi, nnawasa omu ku bawala ba Isimayiri; era nate, baganda bange ne bawasa ku bawala ba Isimayiri; era nate Zolamu n’awasa muwala wa Isimayiri omukulu.

8 Era bw’atyo kitange yali atuukirizza ebiragiro byonna ebya Mukama ebyali bimuweereddwa. Era nate, nze, Neefi, nnali nfunye omukisa munene okuva eri Mukama.

9 Era olwatuuka nti eddoboozi lya Mukama ne lyogera ne kitange mu kiro, ne limulagira nti enkeera akwate olugendo lwe agende mu lukoola.

10 Era olwatuuka nti kitange bwe yazuukuka ku makya, era n’agenda okutuuka ku mulyango gwa weema, ekyamwewunyisa ennyo kwekulaba omupiira omwekulungirivu mu nkola ey’obukugu; era nga gukoleddwa mu kikomo ekirungi. Era munda mu mupiira mwalimu obulimi bubiri; era akamu kaali kasonga ekkubo gye twalina okugenda mu lukoola.

11 Era olwatuuka nti twakuŋŋaanya ebintu byonna bye twanditutte mu lukoola, n’emmere ne bintu byaffe byonna ebyasigalawo Mukama bye yali atuwadde; era ne tutwala ensigo eza buli ngeri ze tuyinza okutwala mu lukoola.

12 Era olwatuuka nti twatwala weema zaffe ne tugenda mu lukoola, emitala w’omugga Lamani.

13 Era olwatuuka nti twatambula okumala ebbanga lya nnaku nnya, kumpi n’oludda olw’obukiikaddyo obw’obuvanjuba, era ne tuddamu okusimba weema zaffe nate; era ekifo ekyo twakituuma Sazeri.

14 Era olwatuuka nti twatwala emitego gyaffe n’obusaale bwaffe, ne tugenda mu lukoola okuyiggira amaka gaffe emmere; era bwe twamala okuyigga emmere eri amaka gaffe ne tuddayo nate mu maka gaffe mu lukoola, mu kifo kya Sazeri. Era ne tugenda nate mu lukoola, nga tugoberera ekkubo lye limu, nga twekuumira mu bitundu by’olukoola ebisinga obugimu, ebyali ku lubalama okumpi n’Ennyanja Emmyufu.

15 Era olwatuuka nti twatambula okumala ebbanga lya nnaku nnyingi, nga tuyigga emmere mu kkubo, n’emitego gyaffe n’obusaale bwaffe n’amayinja gaffe n’envuumuulo zaffe.

16 Era ddala twagoberera ebiragiro by’omupiira, ebyatutwala mu bitundu by’olukoola ebisinga okuba ebigimu.

17 Era bwe twamala okutambula okumala ennaku ennyingi, twasimba weema zaffe okumala ebbanga ly’essaawa, tulyoke twewummuzeemu nate era tufune emmere eri amaka gaffe.

18 Era olwatuuka nga nze, Neefi, ŋŋenda okuyigga emmere, laba, nnamenya omutego gwange, ogwali gukoleddwa mu kyuma ekirungi; era bwe nnamala okumenya omutego gwange, laba, baganda bange ne bannyiigira olw’okuviibwaako omutego gwange, kubanga tetwafuna mmere.

19 Era olwatuuka nti twaddayo nga tetulina mmere mu maka gaffe, kubanga baali bakooye nnyo, olw’olugendo lwabwe, baabonaabona nnyo olw’ebbula ly’emmere.

20 Era olwatuuka nti Lamani ne Lemweri ne batabani ba Isimayiri ne batandika okwemulugunya ennyo, olw’obuyinike n’okubonaabona kwabwe mu lukoola; era ne kitange n’atandika okwemulugunya eri Mukama Katonda we; weewaawo, era bonna baali banakuwavu nnyo, ddala nti beemulugunya eri Mukama.

21 Kaakano olwatuuka nze, Neefi, nga nnabonaabona wamu ne baganda bange olw’okuviibwaako omutego gwange, era nga n’emitego gyabwe gyaali givuddeko enkoba zaagyo, kyatandika okuba ekizibu ennyo, weewaawo, ne kiba nti okufuna emmere kyali tekikyasoboka.

22 Era olwatuuka nti nze, Neefi, ne njogera nnyo eri baganda bange, kubanga baali bakakanyaza emitima gyabwe nate, ddala okutuuka okwemulugunya eri Mukama Katonda waabwe.

23 Era olwatuuka nti nze, Neefi, nnakola omutego ogw’omuti, era mu muggo omugolokofu, akasaale; n’olwekyo, nnafuna omutego n’akasaale, n’envuumuulo n’amayinja. Era ne ŋŋamba kitange nti: Ŋŋende wa okufuna emmere?

24 Era olwatuuka nti n’abuuza Mukama, kubanga baali beetoowaze olw’ebigambo byange; kubanga nnabagamba ebintu bingi mu maanyi g’emmeeme yange.

25 Era olwatuuka nti eddoboozi lya Mukama ne lijja eri kitange; era yakangavvulibwa ddala olw’okwemulugunya kwe eri Mukama, okutuuka nti yakkakkanyazibwa mu kwennyamira ennyo.

26 Era olwatuuka nti eddoboozi lya Mukama ne limugamba nti: Tunula ku mupiira, era olabe ebintu ebiwandiikiddwa.

27 Era olwatuuka nti kitange bwe yalaba ebintu ebyawandiikibwa ku mupiira, n’atya era n’akankana nnyo, era nate baganda bange era ne batabani ba Isimayiri era ne bakyala baffe.

28 Era olwatuuka nti nze, Neefi, nnalaba obulimi obwali mu mupiira, nti bwakolanga okusinziira ku kukkiriza n’obunyiikivu n’okussaayo omwoyo eri ebintu ebyo.

29 Era nate bwaali buwandiikiddwako ekiwandiiko ekipya, eky’ali ekyangu okusomebwa, ekyatuwanga okutegeera ebikwata ku makubo ga Mukama; era kyawandiikibwanga era ne kikyusibwanga buli luvannyuma lwa kiseera, okusinziira ku kukkiriza n’obunyiikivu bwe twakiwa. Era bwetutyo tulaba nti mu ngeri enyomebwa Mukama asobola okuleeta ebintu ebinene.

30 Era olwatuuka nti nze, Neefi, ne ŋŋenda waggulu ku ntikko y’olusozi, okusinziira ku ndagiriro ezaweebwa ku mupiira.

31 Era olwatuuka nti nnatta ensolo ez’omu nsiko, ne kiba nti nnafuna emmere ey’amaka gaffe.

32 Era olwatuuka nti nnaddayo eriweema zaffe, nga nsitudde ensolo ze nnatta; era kaakano bwe baalaba nti nfunye emmere, nga essanyu lyabwe lyali lingi nnyo! Era olwatuuka nti beetoowaza mu maaso ga Mukama, era ne bamwebaza.

33 Era olwatuuka nti twaddamu okukwata olugendo lwaffe, nga tutambula ekkubo kumpi lye limu nga bwe lyali mu ntandikwa; era bwe twamala okutambula okumala ennaku ennyingi ne tusimba weema zaffe nate, nti tulyoke tubeerewo ebbanga ly’essaawa.

34 Era olwatuuka nti Isimayiri n’afa, n’aziikibwa mu kifo ekyali kiyitibwa Nakomu.

35 Era olwatuuka nti bawala ba Isimayiri nebakungubaga nnyo, olw’okufiirwa kitaabwe, era n’olw’okubonaabona kwabwe mu lukoola; ne beemulugunya eri kitange, kubanga yali abaggye mu nsi ya Yerusaalemi, nga bagamba nti: Kitaffe afudde; weewaawo, era tubungeese nnyo mu lukoola, era tubonyaabonyezeddwa n’obulumi bungi nnyo, enjala, ennyonta, n’obukoowu; era oluvannyuma lw’okubonaabona kuno kwonna tujja kufiira mu lukoola olw’enjala.

36 Era bwe batyo bwe beemulugunya eri kitange, era n’eri nze; era ne baagala okuddayo nate e Yerusaalemi.

37 Era Lamani n’ayogera eri Lemweri era nate eri batabani ba Isimayiri nti: Laba, katutte kitaffe, era nate muganda waffe Neefi, akyettaddeko okuba omufuzi waffe era omusomesa waffe, so nga tuli baganda be abakulu.

38 Kaakano, agamba nti Mukama ayogedde naye, era nate nti bamalayika bamuweerezza. Naye laba, tumanyi nga atulimba; era atubuulira ebintu bino, era akola ebintu bingi n’obukodyo bwe obw’obukuusa, alyoke alimbe amaaso gaffe, ng’alowooza, mpozzi, nti asobola okututwala mu lukoola olutali lwa bulijjo; era oluvannyuma lw’okututwala eyo, alowoozezza okwefuula kabaka era omufuzi waffe, nti alyoke atuyise nga bw’ayagala era nga bwalaba. Era oluvannyuma lw’engeri eno muganda wange Lamani yasiikuula emitima gyabwe okusunguwala.

39 Era olwatuuka Mukama n’abeera naffe, weewaawo, ddala n’eddoboozi lya Mukama ne lijja ne lyogera ebigambo bingi gye bali, era ne libakangavvula nnyo; era oluvannyuma lw’okukangavvulwa eddoboozi lya Mukama bbassa obusungu bwabwe ebbali, ne beenenya ebibi byabwe, okutuuka nti Mukama atuwa omukisa nate okuba n’emmere, nti tetwafa.