Essuula 4
Neefi atta Labani ku kiragiro kya Mukama era awo n’afuna embaati ez’ekikomo mu bukalabakalaba; Zolamu asalawo okwegatta ku maka ga Leki mu lukoola. Nga mu mwaka gwa 600–592 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era olwatuuka ne njogera ne baganda bange, nga ŋŋamba nti: Tugende nate e Yerusaalemi, tubeere abeesigwa mu kukuuma ebiragiro bya Mukama; kubanga laba asinga ensi yonna amaanyi, kale lwaki tasinga Labani n’amakumi ataano ge, weewaawo, oba n’okusinga ekkumi ly’enkumi?
2 N’olwekyo katwambuke waggulu; tubeere bavumu nga Musa; kubanga mazima yayogera eri amazzi g’Ennyanja Emmyufu ne gaawukanamu wano ne wali, era ne bajjajjaffe baasomoka, okuva mu buwambe, paka ku lukalu, era amaggye ga Falaawo gagoberera era ne gabbira mu mazzi g’Ennyanja Emmyufu.
3 Kaakano laba mmwe mumanyi nga kino kituufu; era nammwe mumanyi nga malayika ayogedde nammwe; n’olwekyo muyinza okubuusabuusa? Kale tulinyerinnye; Mukama asobola okutununula, nga bajjajjaffe, n’okusaanyawo Labani, ng’Abamisiri.
4 Kaakano bwe namala okwogera ebigambo ebyo, baali bakyalina obusungu, era ne beeyongera okwemulugunya; wabula bangoberera paka lwe twatuuka ebweru wa bbugwe wa Yerusaalemi.
5 Era obudde bwali bwa kiro; era nnabalagira okwekweka ebweru w’ebisenge. Era oluvannyuma bwe baamala okwekweka, nze, Neefi, neemulula nga nzira mu kibuga ne njolekera ennyumba ya Labani.
6 Era nakulemberwa Omwoyo, samanyirawo mu kusooka bintu ki bye nnali nina okukola.
7 Wabula nagenda, era bwe nasemberera ennyumba ya Labani nnalaba omusajja, era yali agudde wansi mu maaso gange, kubanga yali atamidde omwenge.
8 Era bwe nnamutuukako okumwekkaanya nga ye Labani.
9 Era nnalaba ekitala kye, ne nkiggya mu kiraato kyakyo; era n’ekikono kyakyo kyali kya zaabu omulongoofu, n’enkola yaakyo yali nnungi nnyo okuzaama, era ne ndaba ng’ekyambe kyakyo kya kyuma ekisinga okuba eky’omuwendo.
10 Era olwatuuka nnawalirizibwa Omwoyo nti nalina okutta Labani; naye ne ŋŋamba mu mutima gwange nti: Siyiwangako musaayi gwa muntu. Era ne nesisiwala ne saagala kumutta.
11 Era Omwoyo n’aŋŋamba nate nti: Laba Mukama amuwaddeyo mu mikono gyo. Weewaawo, era nnamanya nti yali anoonya okunzigyako obulamu bwange; weewaawo, era teyawuliriza biragiro bya Mukama; era nate yali atutte ebintu byaffe.
12 Era olwatuuka Omwoyo n’aŋŋamba nate nti: Mutte, kubanga Mukama amuwaddeyo mu mikono gyo;
13 Laba Mukama atta omubi okuleeta ebigendererwa bye eby’obutuukirivu. Kisingako omuntu omu okuzikirira okusinga eggwanga okuggwerera ne lizikirira mu butakkiriza.
14 Era kaakano, olwo nze, Neefi, nga mpulidde ebigambo bino, nnajjukira ebigambo bya Mukama bye yaŋŋamba mu lukoola, ng’agamba nti: Kasita ezzadde lyo linaakuumanga ebiragiro byange, bajja kukulaakulana mu nsi ensuubize.
15 Weewaawo, era nate nnalowooza nti tebaasobola kukuuma biragiro bya Mukama okusinziira ku mateeka ga Musa, okuggyako nga balina etteeka.
16 Era nnamanya nti etteeka lyayolebwa ku mbaati ez’ekikomo.
17 Era nate, nnamanya nti Mukama yawaayo Labani mu mikono gyange olw’ensonga eno; nti nsobole okufuna ebiwandiiko okusinziira ku biragiro bye.
18 N’olwekyo nnagondera eddoboozi ly’Omwoyo, era ne nkwata enviiri z’omutwe gwa Labani, ne mmuttemako omutwe n’ekitala kye.
19 Era oluvannyuma bwe namala okumutemako omutwe n’ekitala kye, ne nkwata ebyambalo bya Labani ne mbiteeka ku mubiri gwange; weewaawo, ddala buli kawero; era ne nesiba ebyokulwanyisa bye mu kiwato kyange.
20 Era bwe namala okukola ekyo, ne neyongerayo mu ggwanika lya Labani. Era bwe nnali nga ngenda mu ggwanika lya Labani, laba, ne ndaba omuddu wa Labani eyalina ebisumuluzo by’eggwanika. Era ne mmulagira mu ddoboozi lya Labani, nti alina okugenda nange mu ggwanika.
21 Era yalowooza nti nze mukama we, Labani, kubanga yalaba ebyambalo era n’ekitala nga kisibiddwa mu kiwato kyange.
22 Era n’ayogera nange ebikwata ku bakadde b’Abayudaaya, ng’amanyi nti mukama we, Labani, yali abasisinkanye akawungeezi.
23 Era ne njogera gy’ali ng’ate nze Labani.
24 Era nate ne njogera gy’ali nti nnali ntwala ebyoole ebyali ku mbaati ez’ekikomo, eri baganda bange abakulu, abaali ebweru wa bbugwe.
25 Era nate ne mmulagira nti angoberere.
26 Era ye, yalowooza nti njogera ku ba sseruganda ab’ekkanisa, era nga ddala nnali Labani oyo ggwe nnatta, kyeyava angoberera.
27 Era n’ayogera nange emirundi mingi ku bakadde ab’Abayudaaya, nga ŋŋenda eri baganda bange, abaali ebweru wa bbugwe.
28 Era olwatuuka Lamani bwe yandaba yatya nnyo, era ne Lemweri ne Samu. Era ne badduka okuva mu maaso gange; kubanga baali balowooza nti yali Labani, era nti yali anzise era nga ayagala aggyewo obulamu bwabwe nate.
29 Era olwatuuka nnabakowoola, ne bampulira; kyebaava balekera awo okudduka okuva mu maaso gange.
30 Era olwatuuka nti omuddu wa Labani bwe yalaba baganda bange n’atandika okukankana, era yali anaatera okunnetegula ave mu maaso gange era adde mu kibuga Yerusaalemi.
31 Era kaakano nze, Neefi, olw’okubeera omusajja ow’ekiwago, era nate Mukama gwe yali awadde amaanyi amangi, kyenava nkwaata omuddu wa Labani, ne mmunyweza, aleme okudduka.
32 Era olwatuuka ne njogera naye, nti singa awuliriza ebigambo byange, nga Mukama bw’ali omulamu, era nange nga ndi mulamu, nga ddala bwe kityo nti anawuliriza ebigambo byaffe, tujja kuwonya obulamu bwe.
33 Era nze ne mugamba, n’ekirayiro, nti tekimwetaagisa kutya; nti ajja kuba musajja wa ddembe nga ffe singa akkirizza okuserengeta naffe mu lukoola.
34 Era nate nnayogera gy’ali, nga mugamba nti: Mazima Mukama yatulagidde okukola ekintu kino; era tetubeere banyiikivu okukwata biragiro bya Mukama? N’olwekyo, bw’onooserengeta mu lukoola eri kitange on’obeera n’ekifo wamu naffe.
35 Era olwatuuka Zolamu n’afuna obuvumu olw’ebigambo bye n’ayogera. Kaakano Zolamu lye lyali erinnya ly’omuddu; era n’asuubiza nti agenda kuserengeta mu lukoola eri kitaffe. Weewaawo, era n’atulayirira nti ajja kusigala naffe okuva kw’olwo.
36 Kaakano twayagala abeere naffe olw’ensonga eno, nti Abayudaaya baleme kumanya bikwata ku kubulawo kwaffe mu lukoola, kuba twatya nti banditugoberedde ne batuzikiriza.
37 Era olwatuuka Zolamu bwe yamala okutulayirira, okutya kwaffe ku lulwe ne kuggwaawo.
38 Era olwatuuka ne tutwala embaati ez’ekikomo n’omuddu wa Labani, ne tugenda mu lukoola, ne twolekera weema ya kitaffe.