Scriptures
1 Neefi 7


Essuula 7

Batabani ba Leki baddayo e Yerusaalemi era ne bayita Isimayiri n’ab’omu maka ge okubeegattako mu lugendo lwabwe; Lamani n’abalala bajeema; Neefi akubiriza baganda be okuba n’okukkiriza mu Mukama; Bamusiba n’emiguwa era ne bategeka okuzikirira kwe; Asumululwa olw’amaanyi g’okukkiriza; Baganda be basaba okusonyiyibwa; Leki n’ekibiina kye bawaayo ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokebwa. Nga mu mwaka gwa 600–592 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Era kaakano njagala mutegeere, nti kitange, Leki, nga amalirizza okuwa obunnabbi bw’ebikwata ku zzadde lye, era olwatuuka Mukama n’ayogera naye nate, ng’agamba nti tekyamusaanira, Leki, okutwala ab’eŋŋanda ze mu lukoola yekka; naye nti batabani be okuwasa abaana ab’obuwala, balyoke bakuze ezzadde mu Mukama mu nsi ensuubize.

2 Era olwatuuka Mukama n’amulagira nti nze Neefi ne baganda bange, tuddeyo nate mu nsi ya Yerusaalemi, era tuleete Isimayiri n’ab’eŋŋanda ze mu lukoola.

3 Era olwatuuka nti nze, Neefi, ne nziramu nate, ne baganda bange, okugenda mu lukoola tulinyerinnye e Yerusaalemi.

4 Era olwatuuka ne tugenda mu nnyumba ya Isimayiri, era ne tufuna okuganja mu maaso ga Isimayiri, okutuuka nti twogera gy’ali ebigambo bya Mukama.

5 Era olwatuuka Mukama n’agonza omutima gwa Isimayiri, era n’ab’ennyumba ye, okutuuka nti bessa mu lugendo naffe okuserengeta mu lukoola okutuuka ku weema ya kitaffe.

6 Era olwatuuka nti nga tutambula mu lukoola, laba Lamani ne Lemweri, era n’ababiri ku bawala ba Isimayiri, era ne batabani ba Isimayiri ababiri era n’ab’eŋŋanda zaabwe, ne batujeemera; weewaawo, eri nze, Neefi, era ne Samu, era ne kitaabwe, Isimayiri, era ne mukaziwe, era ne bawala be abalala abasatu.

7 Era olwatuuka mu bujeemu obwo, baali baagala okuddayo mu nsi ya Yerusaalemi.

8 Era kaakano nze, Neefi, nga nnenyamidde olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe, n’olwekyo nnayogera gye bali, nga ŋŋamba nti, weewaawo, ddala eri Lamani ne Lemweri: Laba muli bakulu bange, era kijja kitya nti muli bakakanyavu nnyo mu mitima gyammwe, era ba muzibe mu birowoozo byammwe, nti kibeetaagisa nze, muto wammwe, okwogera gyemuli, weewaawo, era mbeere ekyokulabirako gyemuli?

9 Kizze kitya nti temuwulirizza kigambo kya Mukama?

10 Kizze kitya nti mwerabidde nti mulabye malayika wa Mukama?

11 Weewaawo, era kizze kitya nti mwerabidde ebintu ebikulu Mukama by’atukoledde, mu kutununula mu mikono gya Labani, era n’okufuna ekiwandiiko?

12 Weewaawo, era kizze kitya nti mwerabidde nti Mukama asobola okukola byonna nga bw’ayagala, ku lw’abaana b’abantu, bwe kiba nti bamukkiririzaamu? N’olwekyo, katubeere beesigwa gy’ali.

13 Era bwe kinaaba nga tuli beesigwa gy’ali, tujja kufuna ensi ensuubize; era mulimanya mu biseera ebijja nti ekigambo kya Mukama kirituukirira ekikwata ku kuzikirizibwa kwa Yerusaalemi; kubanga byonna Mukama by’ayogedde ebikwata ku kuzikirizibwa kwa Yerusaalemi birina okutuukirira.

14 Kubanga laba, Omwoyo wa Mukama alekera awo mu bwangu okubasikiriza; kubanga laba, bessammudde bannabbi, era Yeremiya baamusudde mu kkomera. Era bagezaako okuggyawo obulamu bwa kitange, okutuuka n’okumugoba mu nsi.

15 Kaakano laba, mbagamba nti bwe munaddayo e Yerusaalemi nammwe mujja kuzikirira wamu nabo. Era kaakano, bwe muba nga mulina okulonda wo, mulinyerinnye mu nsi, era mujjukire ebigambo bye mbagamba, nti bwe munaagenda nammwe mujja kuzikirira; kubanga bw’ati Omwoyo wa Mukama bw’anganyizza okwogera.

16 Era olwatuuka nti nze, Neefi, bwe n’ayogera ebigambo bino eri baganda bange, ne bannyiigira. Era olwatuuka ne baankwata, kubanga laba, baali basunguwadde nnyo, ne bansiba n’emiguwa, kubanga baanoonya okuggyawo obulamu bwange, balyoke bandeke mu lukoola okuliibwa ensolo ez’omu nsiko.

17 Naye olwatuuka nti nasaba Mukama, nga ŋŋamba nti: Ayi Mukama, okusinziira ku kukkiriza kwange okuli mu ggwe, ononnunula okuva mu mikono gya baganda bange; weewaawo, ddala mpa amaanyi nsobole okukutula emiguwa gino gye nsibiddwa.

18 Era olwatuuka bwe namala okwogera ebigambo bino, laba, emiguwa gyasumululwa okuva ku mikono gyange era n’ebigere byange, era ne nyimirira mu maaso ga baganda bange, era ne njogera gye bali nate.

19 Era olwatuuka ne bannyiigira nate, ne bagezaako okunkwata; naye laba, omu ku bawala ba Isimayiri, weewaawo, era ne nnyina, era n’omu ku batabani ba Isimayiri, beegayirira baganda bange, okutuusa nti bagonza emitima gyabwe; era ne balekera awo okufuba okuggyawo obulamu bwange.

20 Era olwatuuka nti ne banakuwala, olw’ebyonoono byabwe, okutuuka nti bafukamira mu maaso gange, ne banneegayirira nti mbasonyiwe ekintu kye baali bankoze.

21 Era olwatuuka ne mbasonyiwa mu bwesimbu byonna bye baali bakoze, era ne mbakubiriza okusaba Mukama Katonda waabwe okusonyiyibwa. Era olwatuuka nti ne bakola bwe batyo. Era bwe baamala okusaba Mukama ne tutambula nate olugendo lwaffe nga twolekera weema ya kitaffe.

22 Era olwatuuka nti twaserengeta ku weema ya kitaffe. Era nga nze ne baganda bange n’ennyumba ya Isimayiri yonna bwe twamala okutuuka ku weema ya kitange, ne beebaza Mukama Katonda waabwe; era ne bawaayo ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokebwa gy’ali.