Scriptures
1 Neefi 19


Essuula 19

Neefi akola embaati ez’amayinja ag’obugagga era awandiika ebyafaayo by’abantu be; Katonda wa Isiraeri ajja kujja emyaka lukaaga okuva Leki lwe yava e Yerusaalemi; Neefi ayogera ku kubonaabona era n’okukomererwa kwe; Abayudaaya bali nyoomebwa era n’okusaasaanyizibwa okutuusa mu nnaku ez’oluvannyuma, bwe balidda eri Mukama. Nga 588–570 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Era olwatuuka Mukama n’andagira, n’olwekyo ne nkola embaati ez’amayinja ag’obugagga olwo nsobole okuyolako ebiwandiiko by’abantu bange. Era ku mbaati ze nnakola nnayolako ebiwandiiko bya kitange, era nate n’okutambula kwaffe mu lukoola, era n’obunnabbi bwa kitange; era nate bingi ku bunnabbi bwange bwe nnawa bye njoze ku zo.

2 Era samanya mu kiseera mwe nnazikolera nti nnalina okulagirwa Mukama okola embaati zino; n’olwekyo, ebiwandiiko bya kitange, era n’okulambikibwa kw’obuzaale bwa bajjajjaabe, era n’ebitundu ebisinga obungi eby’ebikolwa byaffe mu lukoola biyoleddwa ku mbaati ezo ezasooka zenjogeddeko; n’olwekyo, ebintu ebyabaawo nga sinnakola mbaati zino, bya mazima, okusingira ddala ebyo ebyogerwako ku mbaati ezasooka.

3 Era oluvannyuma lw’okukola embaati zino mu ngeri y’ekiragiro, nze, Neefi, nnafuna ekiragiro nti obuweereza era n’obunnabbi, ebitundu ebyangu okutegeera era ebisinga okuba eby’omuwendo mu byo, bisaana okuwandiikibwa ku mbaati zino; era nti ebintu ebyawandiikibwa bisaanye okukuumibwa olw’okuluŋŋamya abantu bange, abalina okubeera ku nsi, era n’ebigendererwa ebirala eby’amagezi, ebigendererwa ebyo ebimanyiddwa eri Mukama.

4 N’olwekyo, nze, Neefi, nnakola ekiwandiiko ku mbaati endala, ekiwa enyinnyonnyolwa, oba ekiwa enyinnyonnyolwa esingawo ku ntalo n’obukuubagano n’okuzikirizibwa kw’abantu bange. Era kino nkikoze, era ne ndagira n’abantu bange kye balina okukola nga mmaze okugenda; era nti embaati zino zirina okuweebwayo okuva ku mulembe ogumu okudda ku mulala, oba okuva ku nnabbi omu okudda ku mulala, paka ku biragiro ebirala ebya Mukama.

5 Era enyinnyonnyolwa y’okukola kwange okw’embaati zino ejja kuweebwa oluvannyuma; era olwo, laba, ŋŋenda mu maaso nga bwe njogedde; era kino nkikola nti ebintu ebisinga obutukuvu biyinza okukuumibwa olw’okumanya kw’abantu bange.

6 Wabula, siwandiika kintu kyonna ku mbaati okuggyako nga nkilowooza okuba ekitukuvu. Era kaakano, bwenkola ensobi, ddala n’ab’edda baasobya; si nti nnejjeereza olw’abantu abalala, naye olw’obunafu obuli mu nze, okusinziira ku mubiri, nnandyejjeerezza.

7 Kubanga ebintu abantu abamu bye bassaamu ekitiibwa okuba eby’omuwendo ennyo, eri omubiri wamu n’omwoyo, abalala bye banyooma n’okulinnyirira wansi w’ebigere byabwe. Weewaawo, ddala ne katonda yennyini owa Isiraeri abantu bamulinnyirira wansi w’ebigere byabwe; nze ŋŋamba, okulinnyirira wansi w’ebigere byabwe naye nandyoogedde mu ngeri endala; bamunyooma, era ne batawuliriza na ddoboozi ery’okubuulirira kwe.

8 Era laba ajja, okusinziira ku bigambo bya malayika, mu myaka lukaaga okuva Kitange lwe yava e Yerusaalemi.

9 Era ensi, olw’ebibi byabwe, banaamusalira omusango nti talina ky’ali; n’olwekyo bamukuba, era nakyo n’akigumiikiriza; era ne bamubonyaabonya, era n’akigumiikiriza. Weewaawo, ne bamufuggira amalusu, era n’akigumiikiriza, olw’okwagala kwe okw’ekisa n’okubonaabona okw’olutentezi eri abaana b’abantu.

10 Era Katonda wa bajjajjaffe, abaakulemberwa okuva e Misiri, okuva mu busibe, era nate ne bakuumibwa ye mu lukoola, weewaawo, Katonda wa Ibulayimu, era n’owa Isaaka, era Katonda wa Yakobo, yewaayo, okusinziira ku bigambo bya malayika, ng’omuntu, mu mikono gy’abantu ababi, okuwanikibwa waggulu, okusinziira ku bigambo bya Zenoka, era akomererwe, okusinziira ku bigambo bya Newumu, era aziikibwe mu ntaana, okusinziira ku bigambo bya Zenosi, bye yayogera ebikwata ku nnaku essatu ez’ekizikiza, ekirina okuba akabonero akaweebwa ku kufa kwe eri abo abalina okubeera mu bizinga eby’omu nnyanja, okusingira ddala biweebwa abo ab’ennyumba ya Isiraeri.

11 Kubanga bw’atyo nnabbi bwe yayogera: Mukama Katonda mazima ddala alikyalira ennyumba yonna eya Isiraeri ku lunaku olwo, abamu n’eddoboozi lye, olw’obutuukirivu bwabwe, eri essanyu lyabwe ery’amaanyi era n’obulokozi bwabwe, era n’abalala n’okubwatuka n’okumyansa kw’amaanyi ge, n’omuyaga, n’omuliro, era n’omukka, era n’olufu olw’ekizikiza, era n’olw’okubikkuka kw’ettaka, era n’olw’ensozi ezirisitulibwa waggulu.

12 Era ebintu bino byonna mazima ddala birina okujja, bw’ayogera nnabbi Zenosi. Era n’enjazi z’ensi zirina okwabizzibwamu; Era olw’okusinda kw’ensi, bangi ku bakabaka b’ebizinga by’omunnyanja balikwatibwako Omwoyo wa Katonda, okwogerera waggulu nti: Katonda ow’obutonde abonaabona.

13 Era eri abo abali e Yerusaalemi, bw’ayogera nnabbi, bajja kubonyaabonyezebwa abantu bonna, kubanga bakomerera Katonda wa Isiraeri, ne bakyusa emitima, nga bagaana obubonero n’ebyewuunyo, era n’amaanyi n’ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri.

14 Era olw’okuba bakyusa emitima, bw’ayogera nnabbi, era ne banyooma Omutukuvu wa Isiraeri, balibungeeta mu mubiri, ne bafa, ne bafuuka oluwa n’eŋŋombo, era balikyayibwa mu mawanga gonna.

15 Wabula, olunaku olwo bwe lulituuka, bw’ayogera nnabbi, nti tebaliddamu kukyusa mitima gyabwe okuva ku Mutukuvu wa Isiraeri, awo alijjukira endagaano ze yakola eri bajjajjaabwe.

16 Weewaawo, awo alikujjukira ebizinga eby’omu nnyanja; weewaawo, era n’abantu bonna ab’ennyumba ya Isiraeri, ndibakuŋŋaanyiza munda, bw’ayogera Mukama, okusinziira ku bigambo bya nnabbi Zenosi, okuva mu bitundu ebina eby’ensi.

17 Weewaawo, era n’ensi yonna eriraba obulokozi bwa Mukama, bw’ayogera nnabbi; buli ggwanga, ekika, olulimi era n’abantu baliweebwa omukisa.

18 Era nze, Neefi, mpandiise ebintu bino eri abantu bange, nti ob’olyawo nsobole okubasikiriza nti bajjukire Mukama Omununuzi waabwe.

19 N’olwekyo, njogera eri ennyumba ya Isiraeri yonna, singa kiba nti balifuna ebintu bino.

20 Kubanga laba, nnina emirimu mu mwoyo, egyo eginkooya n’okutuuka nti ennyingo zange zonna zinafuye, olw’abo abali e Yerusaalemi; kuba singa Mukama teyali wa kisa, okundaga ebyo ebibakwaatako, era nga bwe yalaga bannabbi ab’edda, nange nnandibadde nfa.

21 Era mazima ddala yalaga eri bannabbi ab’edda ebintu byonna ebibakwataako; era yalaga bangi ebikwata ku ffe; n’olwekyo, kiteekwa okuba nti tumanyi ebibakwataako kubanga biwandiikiddwa ku mbaati ez’ekikomo.

22 Kaakano olwatuuka nze, Neefi, nnayigiriza baganda bange ebintu bino; era olwatuuka nti nnabasomera ebintu bingi, ebyayolebwa ku mbaati ez’ekikomo, nti basobole okumanya ebikwata ku bikolwa bya Mukama mu nsi endala, mu bantu ab’edda.

23 Era nnabasomera ebintu bingi ebyo ebyawandiikibwa mu bitabo bya Musa; naye okusobola okubasikiriza mu bujjuvu okukkiririza mu Mukama Omununuzi waabwe nnabasomera ebyo ebyawandiikibwa nnabbi Isaaya; kubanga nnagerageranyanga ebyawandiikibwa byonna eri ffe, nti tusobole okubiganyulwamu era n’okubiyiga.

24 N’olwekyo nnayogera gye bali, nga ŋŋamba nti: Muwulire mmwe ebigambo bya nnabbi, mmwe abasigalawo ku b’ennyumba ya Isiraeri, ettabi erya menyebwako; muwulire mmwe ebigambo bya nnabbi, ebyawandiikibwa eri ennyumba ya Isiraeri yonna, era mu biteeke mu nkola, mulyoke mmwe mubeere n’esuubi era nga baganda bammwe be mwayawukanako; kubanga olw’engeri eno nnabbi bw’awandiise.