Essuula 15
Ezzadde lya Leki lya kufuna enjiri okuva mu Bamawanga mu nnaku ez’oluvannyuma; Okukuŋŋaanyizibwa kwa Isiraeri kugeraageranyizibwa ku muti gw’omuzeyituuni nga amatabi gaagwo ag’obutonde gajja okusimbulizibwa gazzibweeko nate; Neefi avvuunula okwolesebwa kw’omuti ogw’obulamu era n’ayogera ku bwenkanya bwa Katonda mu kwawula ababi okuva mu batuukirivu. Nga mu mwaka gwa 600–592 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era olwatuuka nti oluvannyuma nga nze, Neefi, nnali ntwaliddwa mu Mwoyo, era nga ndabye ebintu bino byonna, ne nkomawo mu weema ya kitange.
2 Era olwatuuka nti nnalaba baganda bange, era baali bawakana bokka na bokka ebikwata ku bintu eby’ayogerwako kitange eri bo.
3 Kubanga mazima yabagamba ebintu bingi ebikulu, ebyali ebizibu okutegeera, okuggyako omuntu ng’abuuzizza Mukama; era olw’okubeera abakakanyavu mu mitima gyabwe, kyebaava tebatunuulira Mukama nga bwe baali baggwaanidde.
4 Era kaakano nze, Neefi, nnenyamira olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe, era nate, olw’ebintu bye nnali ndabye, era n’amanya nti biteekwa okubaawo awatali kwewalika olw’obubi bw’abaana b’abantu obw’amaanyi.
5 Era olwatuuka nti nnaggwaamu amaanyi olw’okubonaabona kwange, kubanga nnalowooza nti okubonaabona kwange kwali kussukkulumye okusinga byonna, kubanga olw’okuzikirizibwa kw’abantu bange, kubanga nnali nnalaba obwonoonefu bwabwe.
6 Era olwatuuka nti bwe nnamala okufuna amaanyi ne njogera ne baganda bange, nga njagala okumanya okuva mu bo ekivaako enkaayana zaabwe.
7 Era ne bagamba nti: Laba, tetusobola kutegeera bigambo kitaffe bye yayogedde ebikwata ku matabi g’omuzeyituuni ag’obutonde, era nate ebikwata ku Bamawanga.
8 Era ne mbagamba nti: Mwebuuzizza ku Mukama?
9 Era ne baŋŋamba nti: Tetukikoze; kubanga Mukama takola kintu ng’ekyo kimanyibwe gyetuli.
10 Laba, nabagamba nti: Kiba kitya nti temukwata biragiro bya Mukama? Kiba kitya nti mulizikirira, kubanga olw’obukakanyavu bw’emitima gyammwe?
11 Temujjukira bintu Mukama by’ayogedde nga agamba nti: Bwe mutaakakanyaze mitima gyammwe, era ne munsaba mu kukkiriza, nga musuubira nti mujja kufuna, n’obunyiikivu mu kukuuma ebiragiro byange, mazima ebintu bino binaabamanyisibwa.
12 Laba, mbagamba, nti ennyumba ya Isiraeri yageraageranyizibwa ku muzeyituuni, olw’Omwoyo wa Mukama eyali mu kitaffe; era laba tetwayawulwa kuva mu nnyumba ya Isiraeri, era tetuli ttabi lya nnyumba ya Isiraeri?
13 Era kaakano, ekintu kitaffe ky’ategeeza ku kusimbulizibwa kw’amatabi ag’obutonde okuyita mu bujjuvu bw’Abamawanga, kiri, nti mu nnaku ez’oluvannyuma, ezzadde lyaffe bwe lirisereba mu butakkiriza, weewaawo, okumala ebbanga ery’emyaka emingi, era n’emirembe emingi oluvannyuma lwa Masiya okweyoleka mu mubiri eri abaana b’abantu, awo obujjuvu bw’enjiri ya Masiya bujje eri Abamawanga, era okuva mu Bamawanga butuuke mu b’ezzadde lyaffe abasigadde;
14 Era ku lunaku olwo abasigadde ku zzadde lyaffe balimanya nti ba mu nnyumba ya Isiraeri, era nti be bantu ab’endagaano ya Mukama; era olwo balimanya era ne batuuka ku kumanya ku bajjajja baabwe, era nate n’okumanya ku njiri ey’Omununuzi waabwe, eyayigirizibwa eri bajjajja baabwe okuva gy’ali; n’olwekyo, balituuka ku kumanya ku Mununuzi waabwe n’ensonga zennyini ez’enjigiriza ye, nti basobole okumanya engeri y’okujja gy’ali era balokolebwe.
15 Era awo ku lunaku olwo tebalisanyuka era n’okutendereza Katonda waabwe ow’olubeerera, olwazi lwabwe era n’obulokozi bwabwe? Weewaawo, ku lunaku olwo, tebalifuna maanyi era n’okuliisibwa okuva ku muzabbibu ogw’amazima? Weewaawo, tebalijja mu kisibo kya Katonda eky’amazima?
16 Laba, mbagamba nti, Weewaawo; balijjukirwa nate mu nnyumba ya Isiraeri; balisimbulizibwa, olw’okubeera ettabi ly’omuzeyituuni ery’obutonde, okudda ku muti gw’omuzeyituuni omutuufu.
17 Era kino kitaffe ky’ategeeza; era ategeeza nti tekijja kubaawo okutuusa nga bamaze okusaasaanyizibwa Abamawanga; era ategeeza nti ejja kuyitira mu Bamawanga, nti Mukama alyoke alage amaanyi ge eri Abamawanga, olw’ensonga yennyini nti aligaanibwa Abayudaaya, oba ab’ennyumba ya Isiraeri.
18 N’olwekyo, kitaffe teyayogedde ku zzadde lyaffe lyokka, wabula ne ku b’ennyumba ya Isiraeri yonna, era asonze ku ndagaano eteekwa okutuukirizibwa mu nnaku ez’oluvannyuma; endagaano Mukama gye yakola eri jjajjaffe Ibulayimu, ng’agamba nti: Mu zzadde lyo ebika byonna eby’ensi binaaweebwa omukisa.
19 Era olwatuuka nti nze, Neefi, ne njogera nnyo gye bali ebikwata ku bintu bino; weewaawo, n’ayogera gye bali ku bikwata ku kuzzibwaawo kw’Abayudaaya mu nnaku ez’oluvannyuma.
20 Era ne mbalambululira ebigambo bya Isaaya, eyayogera ebikwata ku kuzzibwaawo eri Abayudaaya, oba eri ennyumba ya Isiraeri; era nga amaze okuzaawo tebaliddamu nate kusoberwa, so tebaliddamu kusaasaanyizibwa nate. Era olwatuuka nti nnayogera ebigambo bingi eri baganda bange, nti baakkakkanyizibwa ne beetoowaza mu maaso ga Mukama.
21 Era olwatuuka nti bayogera nange nate, nga bagamba nti: Ekintu kino kitaffe kye yalaba mu kirooto kitegeeza ki? Omuti gwe yalaba gutegeeza ki?
22 Era ne mbagamba nti: Kaali akabonero ak’omuti ogw’obulamu.
23 Era ne baŋŋamba nti: Omutayimbwa ogw’ekyuma kitaffe gwe yalaba, ogwali gutuuka ku muti gutegeeza ki?
24 Era ne mbagamba nti kyali kigambo kya Katonda; era buli anaawulirizza ekigambo kya Katonda, era n’akinywererako, tebalizikirira; so n’ebikemo era n’obusaale obw’omuliro obw’omulabe tebyayinza kubawangula kubafuula bamuzibe, okubatwala mu kuzikirizibwa.
25 N’olwekyo, nze, Neefi, nnabakubirizza okussaayo omwoyo ku kigambo kya Mukama; weewaawo, nnabakubirizza n’amaanyi ag’emmeeme yange gonna, era n’obusobozi bwonna bwe nnalina, nti baweeyo omwoyo eri ekigambo kya Katonda era bajjukire okukuuma ebiragiro bye bulijjo mu bintu byonna.
26 Era ne baŋŋamba nti: Omugga ogw’amazzi kitaffe gwe yalaba gutegeeza ki?
27 Era ne mbagamba nti amazzi kitange ge yalaba gaali macaafu; era ebirowoozo bye byatwaalibwa nnyo mu bintu ebirala olwo natalaba bucaafu bw’amazzi.
28 Era ne mbagamba nti lwali luwonko lwa ntiisa, olwayawula ababi okuva ku muti ogw’obulamu, era nate okuva ku batukuvu ba Katonda.
29 Era ne mbagamba nti kaali kabonero ka ggeyeena eyo ey’entiisa, malayika gye yaŋŋamba nti yategekelwa ababi.
30 Era ne mbagamba nti ne kitaffe yalaba nti obwenkanya bwa Katonda bwayawula nate ababi okuva ku batuukirivu; era n’okumasamasa kwabwe kwali ng’okumasamasa kw’omuliro ogubumbujja, ogutumbiira eri Katonda emirembe n’emirembe, era tegukoma.
31 Era ne baŋŋamba nti: Ekintu kino kitegeeza okulumizibwa kw’omubiri mu nnaku ez’okugezesebwa, oba kitegeeza embeera ey’enkomerero ey’omwoyo oluvannyuma lw’okufa kw’omubiri ogw’ekiseera, oba kyogera ku bintu eby’ekiseera?
32 Era olwatuuka ne mbagamba nti kaali kabonero ka bintu eby’omubiri era n’eby’omwoyo; kubanga olunaku lulina okujja lwe banaasalirwa omusango olw’emirimu gyabwe, weewaawo, nate emirimu egyakolebwa omubiri ogw’ekiseera mu nnaku zaabwe ez’okugezesebwa.
33 N’olwekyo, bwe banaafiira mu bubi bwabwe nabo balina okusuulibwa, olw’ebintu eby’omwoyo, ebikwata ku butuukirivu; n’olwekyo, balina okuleetebwa okuyimirira mu maaso ga Katonda, okusalirwa omusango olw’ebikolwa byabwe; era ebikolwa byabwe bwe biba bibadde bicaafu bateekwa okuba nga bacaafu; era bwe baba abacaafu kiteekwa okuba nga tebasobola kubeera mu bwakabaka bwa Katonda; singa kiba kityo, obwakabaka bwa Katonda nabwo bulina okuba obucaafu.
34 Naye laba, mbagamba nti, obwakabaka bwa Katonda si bucaafu, era tewali kintu kyonna ekitali kirongoofu kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda; n’olwekyo wateekwa okubaawo ekifo eky’obucaafu ekitegekeddwa olw’ekyo ekicaafu.
35 Era waliwo ekifo ekitegekeddwa, weewaawo, ddala ye ggeyeena eyo ey’entiisa gye njogeddeko, era setaani y’agiteekateeka; n’olwekyo embeera ey’enkomerero ey’emyoyo gy’abantu kwe kubeera mu bwakabaka bwa Katonda, oba okusulibwa ebweru olw’obwenkanya obwo bwe njogeddeko.
36 N’olwekyo, ababi basindiikirizibwa okuva mu batuukirivu, era nate ne ku muti ogwo ogw’obulamu, ebibala byagwo ebisinga okuba eby’omuwendo era ebyegombebwa okusinga ebibala ebirala byonna; weewaawo, era kye kisinga obukulu mu birabo bya Katonda byonna. Era bwentyo bwe nnayogera eri baganda bange. Amiina.