Scriptures
1 Neefi 18


Essuula 18

Ekyombo kimalirizibwa; okuzaalibwa kwa Yakobo ne Yusufu kwogerwako; Ekibinja kida mu lugendo okwolekera ensi eyasuubizibwa; Batabani ba Isimayiri ne bakyala baabwe beegatta ku kusanyuka n’obujeemu; Neefi asibwa, era ekyombo kigobebwa okudda emabega n’omuyaga ogw’entiisa; Neefi asumululwa, era olw’esaala ye omuyaga gukoma; Abantu batuuka mu nsi eyasuubizibwa. Nga 591–589 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Era olwatuuka nti baasinza Mukama, era ne bagenda nga beyongerayo nange; era twakola embaawo mu ngeri ey’enjawulo ey’ekikugu. Era Mukama yandaga buli luvannyuma lwa kiseera okusinziira ku ngeri ki gye nnali nsaanidde okukola embaawo ez’ekyombo.

2 Kaakano nze, Neefi, saakola mbaawo okusinziira ku ngeri abantu gye baayigamu, wadde okuziimba ekyombo nga nsinziira ku ngeri y’abantu; naye nnakizimba okusinziira ku ngeri Mukama gye yali andaze; n’olwekyo, tekyali ku ngeri y’abantu.

3 Era nze, Neefi, nnagendanga emirundi mingi ku lusozi, era nnasabanga emirundi mingi eri Mukama; n’olwekyo Mukama yandaga ebintu ebikulu.

4 Era olwatuuka nti oluvannyuma nga mmalirizza ekyombo, okusinziira ku kigambo kya Mukama, baganda bange baalaba nti kyali kirungi, era nti omulimu ogwo gwali mulungi nnyo ekisusse; n’olwekyo, ne baddamu nate okwetoowaza mu maaso ga Mukama.

5 Era olwatuuka nti eddoboozi lya Mukama ne lijja eri kitange, nti tugolokoke era tugende wansi mu kyombo.

6 Era olwatuuka nti enkeera, oluvannyuma nga tumaze okuteekateeka ebintu byonna, ebibala ebingi n’ennyama okuva mu lukoola, n’omubisi gw’enjuki mu bungi, n’ebintu ebyetaagisibwa okusinziira ku ekyo Mukama kye yali atulagidde, twaserengeta mu kyombo, nga twebagazze emigugu gyaffe n’ensigo zaffe, era na buli kintu kyonna kye twali tuleese, buli omu okusinziira ku myaka gye; n’olwekyo, ffenna twaserengeta mu kyombo, ne bakyala baffe n’abaana baffe.

7 Era kaakano, kitange yali azaalidde abaana babiri ab’obulenzi mu lukoola; omukulu yayitibwanga Yakobo ate omuto Yusufu.

8 Era olwatuuka oluvannyuma ffenna nga tumaze okukka mu kyombo, era nga tututte ebyetaagisibwa byaffe era n’ebintu ebyali bitulagiddwa, twasabala ennyanja era twaseyeeyeezebwa empewo okwolekera ensi ensuubize.

9 Era oluvannyuma lw’okuseyeeyeezebwa empewo okumala ebbanga ely’ennaku nnyingi, laba, baganda bange era ne batabani ba Isimayiri era ne bakyala baabwe batandika okwesanyusa, okutuuka nti batandika okuzina, era n’okuyimba, n’okwogeza ebboggo lingi, weewaawo, ddala nti beerabira amaanyi agaali gabatuusiza eyo; weewaawo, beekulumbaza nnyo ekisukkiridde ne bafuuka bannantagabwaako.

10 Era nze, Neefi, natandika okutya ennyo nti ob’oli awo Mukama ajja kutusunguwalira, era n’okutuzikiriza olw’ebibi byaffe, nti ttujja kubbira mu buziba bw’ennyanja; n’olwekyo, nze, Neefi, nnatandika okwogera nabo n’obwegendereza bungi; Naye laba baali bannyiigidde, nga bagamba: Tetujja kukkiriza muto waffe kubeera mufuzi waffe.

11 Era olwatuuka nti Lamani era ne Lemweri bantwala ne bansiba n’emiguwa, era ne bampisa mu ngeri ey’obukambwe obungi; wabula, Mukama yakiganya asobole okulaga amaanyi ge, eri okutuukiriza ekigambo kye kye yali ayogedde ku babi.

12 Era olwatuuka nti oluvannyuma nga bamaze okunsiba okutuusa nti nnali sisobola wadde okwekyuusa, endagabwolekero, eyali etegekeddwa Mukama, yalekera awo okukola.

13 N’olwekyo, tebaamanya wa gye baali balina okwolekeza ekyombo, okutuuka nti wabalukawo omuyaga ogw’amaanyi, weewaawo, ogw’amaanyi era ogw’entiisa ennyo, era ne tuzzibwa ekyennyumannyuma ku mazzi okumala ebbanga lya nnaku ssatu; era ne batandika okutya ennyo ekisusse sikulwa nga babbira mu nnyanja; kyokka tebansumulula.

14 Era ku lunaku olw’okuna, nga tuzziddwa emabega, omuyaga gwatandika okuba ogw’amaanyi ennyo.

15 Era olwatuuka nti twali tunaatera okubbira mu buziba bw’ennyanja. Era oluvannyuma nga tuzziddwa emabega ku mazzi okumala ebbanga ely’ennaku nnya, baganda bange ne batandika okutegeera nti ebibonerezo bya Katonda byali ku bo, era nti balina okufa okuggyako nga benenyeza ebibi byabwe; n’olwekyo, bajja gye ndi, ne bansumulula emiguwa egyali ku mikono gyange, era laba gyali gizimbye nnyo ekisukkiridde; era nga n’obukongovule bwange bwali buzimbye nnyo; era obulumi bwabyo bwali bw’amaanyi nnyo.

16 Wabula, nnesigama ku Katonda wange, era nnamutendereza olunaku lwonna; era ssemulugunya eri Mukama olw’okubonyaabonyezebwa kwange.

17 Kaakano kitange, Leki, yali ayogedde ebintu bingi gye bali, era nate n’eri batabani ba Isimayiri; naye, laba, ddala balagiriza bingi ebitiisatiisa eri buli yenna eyayogera ku lwange; era bazadde bange nga bwe baali bakuliridde mu myaka, era nga bayise mu nnaku nnyingi olw’abaana baabwe, baggwamu amaanyi, weewaawo, ddala n’okuyongobera ku bitanda byabwe.

18 Olw’okunnyolwa kwabwe era n’ennaku ennyingi, era n’ebibi bya baganda bange, baasembezebwa ku mugo gw’entaana ddala n’okutuuka okuva mu bulamu buno basisinkane Katonda wabwe; weewaawo, envi zaabwe zaali zinaatera okuleetebwa wansi zigalamizibwe mu nfuufu; weewaawo, ddala baali basemberedde okusuulibwa olw’ennaku mu ntaana ey’amazzi.

19 Era Yakobo ne Yusufu nabo, olw’okuba abato, nga baali beetaaga okuliisibwa ennyo, baali banakuwavu olw’obuyinike bwa nnyabwe; era nate mukyala wange n’amaziga ge n’okusaba kwe, era nate n’abaana bange, tebyagoonza mitima gya baganda bange nti bansumulule.

20 Era tewaaliwo kintu kyonna okuggyako amaanyi ga Katonda, ag’abatiisa n’okuzikirizibwa, ge gasobola okugonza emitima gyabwe; n’olwekyo, bwe baalaba nga banaatera okubbira mu buziba bw’ennyanja ne beenenya ekintu kye baali bakoze, okutuusa nti bansumulula.

21 Era olwatuuka oluvannyuma nga bamaze okunsumulula, laba, ne nkwata endagabwolekero, era yakola nga bwe nnali njaagadde. Era olwatuuka nti nnasaba eri Mukama; era oluvannyuma nga mmaze okusaba empewo yakoma, era n’omuyaga ne gukoma, era awo ne wabaawo obukkakkamu obw’amaanyi.

22 Era olwatuuka nti nze, Neefi, nnaluŋŋamya ekyombo, nti twaddamu nate okusaabala nga twolekera ensi ensuubize.

23 Era olwatuuka nti oluvannyuma nga twakamala okusaabala ebbanga ery’ennaku ennyingi twatuuka mu nsi ensuubize; era tweyongerayo munda mu nsi, era twasimba weema zaffe; era twagiyita ensi ensuubize.

24 Era olwatuuka nti twatandika okulimira ku ttaka, era twatandika okusiga ensigo; weewaawo, twateeka ensigo zaffe zonna mu ttaka, ze twali tuleese okuva mu nsi ya Yerusaalemi. Era olwatuuka nti zagimuka nnyo; n’olwekyo, twaweebwa emikisa mu bungi.

25 Era olwatuuka nti twamanya ku nsi ensuubize, bwe twali nga tutambula mu lukoola, nti waaliwo mu kibira ensolo ez’ebika ebya buli ngeri, omuli ente era ne zisseddume, era n’endogoyi era n’embalaasi, era n’embuzi era n’embuzi ez’omu nsiko, era n’ensolo ez’engeri zonna ez’omu nsiko, ezaali ez’okukozesebwa abantu. Era twazuula buli kika ky’amayinja ag’obugagga, gonna aga zaabu, era n’aga ffeeza, era n’ag’ekikomo.