Essuula 12
Neefi alaba mu kwolesebwa ensi ensuubize; obutuukirivu, obutali butuukirivu, era n’okugwa kw’abatuuze baayo; okujja kw’Omwana gw’endiga wa Katonda mu bo; engeri abayigirizwa ekkumi n’ababiri n’abatume ekkumi n’ababiri gye balisala omusango eri Isiraeri; era n’embeera ey’esittaza era n’obucaafu bw’abo ababulira mu butali bukkiriza. Nga 600–592 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era olwatuuka malayika n’aŋŋamba nti: Tunula, era laba ab’e ezzadde lyo, era nate ab’e ezzadde lya baganda bo. Era nnatunula era nnalaba ensi ensuubize; era nnalaba enkuyanja y’abantu, weewaawo, ddala ng’omuwendo gw’obungi bwabwe gugeraageranyizibwa n’obungi bw’omusenyu gw’ennyanja.
2 Era olwatuuka nti nnalaba enkuyanja y’abantu nga bakuŋŋaanidde wamu okulwana; era nnalaba entalo, n’eŋŋambo z’entalo, n’ettemu eringi ennyo n’ekitala mu bantu bange.
3 Era olwatuuka nti nnalaba emirembe mingi nga giyitawo, wakati mu ntalo n’okukaayana mu nsi; era nnalaba ebibuga bingi, weewaawo, era nti saasobola na kubibala.
4 Era olwatuuka nti nnalaba olufu lw’ekizikiza nga lubisse ensi ensuubize; era nnalaba okumyansa, era ne mpulira okubwatuka, era ne musisi omungi, era n’amaloboozi ag’engeri zonna agaali gawogana; era nnalaba ettaka n’enjazi, nti byayatikamu; era nnalaba ensozi nga zibumbulukuka mu bitundutundu; era nnalaba emiseetwe gy’ensi, nti gya yatikamu; era nnalaba ebibuga bingi ebyali biziikiddwa era nnalaba bingi ebyaayokebwa n’omuliro; era nnalaba bingi ebyagwa ku ttaka, olw’okukankana okwaliwo.
5 Era olwatuuka oluvannyuma nga ndabye ebintu bino, nnalaba omukka ogw’ekizikiza, nti gwali guva ku ttaka; era laba, nnalaba enkuyanja y’abantu nga baali tebattiddwa olw’amaanyi era n’entiisa y’okulamula kwa Mukama.
6 Era nnalaba eggulu nga lyeggula, n’Omwana gw’endiga gwa Katonda nga akka okuva mu ggulu; era najja wansi era neyeyoleka gye bali.
7 Era nate nnalaba era mpa obujulizi nti Omwoyo Omutukuvu yakka ku balala ekkumi n’ababiri; era ne batongozebwa Katonda, era ne balondebwa.
8 Era malayika n’ayogera gye ndi, ng’agamba nti: Laba abayigirizwa ekkumi n’ababiri ab’Omwana gw’endiga, abalondeddwa okuweereza ab’ezzadde lyo.
9 Era n’aŋŋamba nti: Ojjukira abatume ekkumi n’ababiri ab’Omwana gw’endiga? Laba bebaabo abaliramula ebika ekkumi n’ebibiri ebya Isiraeri; n’olwekyo, balisalira omusango abaweereza ekkumi n’ababiri eb’ezzadde lyo; Kubanga oli wa nnyumba ya Isiraeri.
10 Era abaweereza bano ekkumi n’ababiri gwe boolaba bali lamula ab’ezzadde lyo. Era, laba, batuukirivu emirembe gyonna; kubanga olw’okukkiriza kwabwe mu Mwana gw’endiga gwa Katonda ebyambalo byaabwe bifuuliddwa ebyeeru mu musaayi gwe.
11 Era malayika n’aŋŋamba nti: Tunula! Era nnatunula, era nnalaba emirembe esatu nga giyitawo mu butuukirivu; era ng’ebyambalo byagyo byaali byeru okweefaananyirizako ng’Omwana gw’endiga gwa Katonda. Era malayika n’aŋŋamba nti: Bano bafuulibwa beeru mu musaayi gw’Omwana gw’endiga, olw’okukkiriza kwabwe mu ye.
12 Era nze, Neefi, nate nnalaba bangi ku b’omulembe ogw’okuna ogw’afiira mu butuukirivu.
13 Era olwatuuka nti nnalaba enkuyanja y’abantu ku nsi nga bakuŋŋaanidde wamu.
14 Era malayika n’aŋŋamba nti: Laba ab’ezzadde lyo, era n’ezzadde lya baganda bo.
15 Era olwatuuka nti nnatunula era nnalaba abantu b’ezzadde lyange nga bakuŋŋaanidde wamu mu bungi okulwanyisa ezzadde lya baganda bange; era baali bakuŋŋaanidde wamu okulwana.
16 Era malayika n’ayogera gye ndi, ng’agamba: Laba ensulo y’amazzi amacaafu kitaawo ge yalaba; weewaawo, ddala n’omugga gwe yayogerako; era n’obuziba bwago bwe buziba bwa ggeyeena.
17 Era n’olufu lw’ekizikiza bye bikemo bya setaani, ebiziba amaaso, era n’okukakanyaza emitima gy’abaana b’abantu, ne bibatuusa mu makubo amagazi, nti bazikirire era n’okubula.
18 Era ekizimbe ekinene era ekigazi, kitaawo kye yalaba, bye birowoozo by’obutaliimu n’amalala g’abaana b’abantu. Era ekinnya ekinene era eky’entiisa kye kibaawula; weewaawo, ddala n’ekigambo ky’obwenkanya bwa Katonda ow’olubeerera, era ne Masiya Omwana gw’endiga gwa Katonda, Omwoyo Omutukuvu gw’awaako obujulizi, okuviira ddala mu ntandikwa y’ensi okutuuka mu kiseera kino, era n’okuva mu kiseera kino era n’olubeerera.
19 Era nga malayika ayogera ebigambo bino, netegereza era nnalaba ab’ezzadde lya baganda bange nga bakontana n’ab’ezzadde lyange, okusiinzira ku kigambo kya malayika; era olw’amalala g’ezzadde lyange, era n’okukemebwa kwa setaani, nnalaba nti ezzadde lya baganda bange basinza ezzadde lyange amaanyi.
20 Era olwatuuka ne ndaba, era nnalaba abantu b’ezzadde lya baganda bange nti baali bawangudde ezzadde lyange; era ne bagenda mu maaso mu bungi ku nsi yonna.
21 Era nnabalaba nga bakuŋŋaanidde wamu mu bibinja; era nnalaba entalo era n’eŋŋambo z’entalo mu bo; era mu ntalo era n’eŋŋambo z’entalo nnalaba emirembe mingi nga giyitawo.
22 Era malayika n’aŋŋamba nti: Laba bano bajja kubula mu butakkiriza.
23 Era olwatuuka nti nnalaba, nga bamaze okubulira mu butakkiriza baafuuka abazikivu, era ab’esittaza, era abantu abacaafu, nga bajjudde obugayaavu era n’ebizizo eby’engeri zonna.