Essuula 17
Neefi alagiddwa okuzimba ekyombo; Baganda be bamuwakanya; Abakubiriza ng’ababuliira ebyafaayo by’enkolagana ya Katonda ne Isiraeri; Neefi ajjudde amaanyi ga Katonda; Baganda be bagaanibwa okumukwatako, baleme okukalambala ng’olumuli olukaze. Nga mu mwaka gwa 592–591 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era olwatuuka nti twaddamu okutambula olugendo lwaffe mu lukoola; era twatambula kumpi okudda ebuvanjuba okuva mu kiseera ekyo. Era ne tutambula nga tuyita mu kubonaabona okungi mu lukoola; era abakazi baffe ne bazaala abaana mu lukoola.
2 Era gyali mingi nnyo emikisa gya Mukama ku ffe, nti wadde twabeerawo ku nnyama embisi mu lukoola, abakazi baffe baayonsa nnyo abaana baabwe, era baali ba maanyi, weewaawo, ddala okufaananako n’abasajja; era ne batandika okugumira engendo zaabwe awatali kwemulugunya.
3 Era bwetutyo tulaba nti ebiragiro bya Katonda birina okutuukirizibwa. Era bwe kiba nti abaana b’abantu bakwata ebiragiro bya Katonda ye abaliisa, era n’abanyweza, era n’abawa amakubo mwe basobolera okutuukiriza ekintu kyabeera abalagidde; n’olwekyo, yatuwa eby’okukozesa bwe twaali tukyabeera mu lukoola.
4 Era kyatutwalira ebbanga lya myaka mingi, weewaawo, ddala emyaka munaana mu lukoola.
5 Era twatuuka mu nsi gye twayita Kyengera, olw’ebibala byayo ebingi era n’omubisi gw’enjuki ogw’omu nsiko; era ebintu bino byonna byategekebwa Mukama tuleme okufa. Era twalaba ennyanja, gye twayita Eriyantomu, nga, bwe kivvuunulwa, kiba amazzi amangi.
6 Era olwatuuka nti twasimba weema zaffe ku lubalama lw’ennyanja; era newankubadde nga twayita mu kubonyaabonyezebwa kungi n’okukaluubirirwa kungi, weewaawo, ddala kungi nga tetusobola kukuwandiika kwonna, twasanyuka nnyo bwe twatuuka ku lubalama lw’ennyanja; era ekifo ekyo ne tukiyita Kyengera, olw’ebibala byakyo ebingi.
7 Era olwatuuka nti nze, Neefi, nga mmaze okubeera mu nsi ye Kyengera okumala ebbanga ery’ennaku ennyingi, eddoboozi lya Mukama ne lijja gye ndi, nga ligamba nti: Golokoka, ogende mu lusozi. Era olwatuuka ne golokoka ne nninnya ku lusozi, era ne ndaajanira Mukama.
8 Era olwatuuka Mukama n’ayogera nange, ng’agamba nti: Ogya kuzimba ekyombo, mu ngeri gye naakulaga, nti nsobole okusomosa abantu bo okuyita ku mazzi gano.
9 Era ne ŋŋamba nti: Mukama, wa gye mba ŋŋenda okufuna amayinja ag’obugagga ge nsaanuusa, okuweesa ebikozesebwa okuzimba ekyombo mu ngeri gy’ondaze?
10 Era olwatuuka Mukama n’aŋŋamba gye nsaanidde okugenda okunoonya amayinja ag’obugagga, nsobole okuweesa ebikozesebwa.
11 Era olwatuuka nti nze, Neefi, ne nkola omuvubo ogukuma omuliro, okuva mu maliba g’ensolo; era bwe nnamala okukola omuvubo, nti nsobole okufuna kye nkumisa omuliro, ne kuba amayinja abiri wamu nti nsobole okukola omuliro.
12 Kubanga Mukama n’okutuusa kati yali tannatukkiriza kukuma muliro mungi, nga tutambula mu lukoola; kubanga yagamba nti: Nja kufuula emmere yammwe empoomu, muleme kugifumba;
13 Era nange ndiba ekitangaala kyammwe mu lukoola; era nditeekateeka ekkubo mu maaso gammwe, singa kinaaba nti munaakuumanga ebiragiro byange; n’olwekyo, kasita munaakuumanga ebiragiro byange mujja kukulemberwa okwolekera ensi ensuubize; era mulimanya nti mukulembeddwa nze.
14 Weewaawo, era Mukama n’agamba nate nti: Bwe mumala okutuuka mu nsi ensuubize, mulimanya nti Nze, Mukama, ndi Katonda; era nti Nze, Mukama, naba nunula okuva mu kuzikirizibwa; weewaawo, nti nnabaggya mu nsi ya Yerusaalemi.
15 N’olwekyo, nze, Neefi, nnafuba okukuuma ebiragiro bya Mukama, era ne nkubiriza baganda bange ku bwesigwa n’obunyiikivu.
16 Era olwatuuka nti nnakola ebikozesebwa mu mayinja ag’obugagga ge nnasaanuusa okuva mu lwazi.
17 Era baganda bange bwe baalaba nga nnaatera okuzimba ekyombo, ne batandika okwemulugunya gye ndi nga bagamba nti: Muganda waffe musirusiru, kubanga alowooza nti asobola okuzimba ekyombo; weewaawo, era alowooza nate nti asobola okusomoka amazzi gano amangi ennyo.
18 Era bwe batyo baganda bange ne beemulugunya ku lwa nge, era ne baagala baleme kukola, kubanga tebaalowooza nti nsobola okuzimba ekyombo; era tebakkiriza nti nnayigirizibwa Mukama.
19 Era kaakano olwatuuka nti nze, Neefi, nnanakuwala nnyo olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe; era kaakano bwe baalaba nga ntandise okunakuwala ne basanyuka mu mitima gyabwe, okutuuka nti baasanyuka olw’obwennyamivu bwange, nga bagamba nti: Twamanya nti tosobola kuzimba kyombo, kubanga twamanya nti tewalina busobozi busalawo; n’olwekyo, tosobola kutuukiriza mulimu munene bwe gutyo.
20 Era oli nga kitaffe, ng’akulembeddwa ebirowoozo eby’obusirusiru eby’omutima gwe; weewaawo, atukulembedde okuva mu nsi ya Yerusaalemi, era ne tubungeeta mu lukoola okumala emyaka gino emingi; era n’abakazi baffe bakakalukanye, nga bali mbuto; era bazadde abaana mu lukoola era ne bagumiikiriza byonna, okuggyako okufa; era kyandibadde kisingako singa baafa nga tebannava mu Yerusaalemi okusinga okugumira ebibonoobono bino.
21 Laba, emyaka gino emingi gye tubonyeboonye mu lukoola, mu kiseera kye twandibadde tunyumirwa eby’obugagga byaffe n’ensi ey’obusika bwaffe; weewaawo, era twandibadde basanyufu.
22 Era tumanyi nti abantu abaali mu nsi ya Yerusaalemi baali abantu abatuukirivu; kubanga baakwata amateeka era n’ensalawo ebya Mukama era n’ebiragiro bye byonna, okusinziira ku mateeka ga Musa; n’olwekyo, tukimanyi nti bantu batuukirivu; era kitaffe abasalidde omusango, era atukulembedde kubanga twawuliriza ebigambo bye; weewaawo, ne muganda waffe alinga ye. Era okusinziira ku lulimi olw’engeri eno baganda bange batolotooma era ne beemulugunya gye tuli.
23 Era olwatuuka nti nze, Neefi, ne njogera gye bali, nga ŋŋamba nti: Mukkiriza nti bajjajjaffe, abaali abaana ba Isiraeri, banditwaliddwa okuva mu mikono gy’Abamisiri singa tebaawuliriza bigambo bya Mukama?
24 Weewaawo, mutebereza nti bandiggyiddwa mu buddu, singa Mukama teyalagira Musa okubakulembera okuva mu buddu?
25 Kaakano mumanyi ng’abaana ba Isiraeri baali mu buddu; era mumanyi nti baali babinikiddwa eby’okukola, ebyali ebizibu okwetikka; n’olwekyo, mukimanyi nti kiteekwa okuba ekintu ekirungi gye bali, okuggyibwa mu buddu.
26 Kaakano mumanyi nti Musa yalagirwa Mukama okukola omulimu ogwo omunene; era mumanyi nti olw’ekigambo kye amazzi g’Ennyanja Emmyufu gayawulwamu wano ne wali, era ne bayita ku ttaka ekkalu.
27 Naye mumanyi ng’Abamisiri babbira mu Nnyanja Emmyufu, abaali eggye lya Falaawo.
28 Era nammwe mumanyi nga baliisibwa maanu mu lukoola.
29 Weewaawo, era mukimanyi nate nti Musa, olw’ekigambo kye okusinziira ku maanyi ga Katonda agaali mu ye, yakuba olwazi, era amazzi ne gavaamu, nti abaana ba Isiraeri balyoke bawone ennyonta yaabwe.
30 Era newankubadde nga baali bakulembeddwa, Mukama Katonda waabwe, Omununuzi waabwe, ng’abakulembeddemu, ng’abakulembera emisana n’abawa ekitangaala ekiro, era ng’abakolera ebintu byonna ebyali bigwanidde eri omuntu okufuna, bakakanyaza emitima gyabwe era ne baziba amaaso g’ebirowoozo byabwe, era baavuma Musa era ne Katonda ow’amazima era omulamu.
31 Era olwatuuka nti okusinziira ku kigambo kye yabatta; era okusinziira ku kigambo kye yabakulembera; era okusinziira ku kigambo kye yabakolera byonna; era tewaali kintu kyonna ekyakolebwa okuggyako olwe ekigambo kye.
32 Era bwe baamala okusomoka omugga Yoludaani n’abafuula ab’amaanyi okugoba abaana b’ensi, weewaawo, okutuusa lwe yabasaasaanya okutuuka mu kuzikirizibwa.
33 Era kaakano, mulowooza nti abaana b’ensi eno, abaali mu nsi ensubiize, abaagobebwa bajjajjaffe, mulowooza nti baali batuukirivu? Laba, mbagamba nti, Nedda.
34 Mulowooza nti bajjajjaffe bandibadde ba nkizo okusinga bo singa baali batuukirivu? Mbagamba nti, Nedda.
35 Laba, Mukama atwala abalina emibiri bonna kyenkanyi; oyo omutuukirivu asiimibwa Katonda. Naye laba, abantu bano baali bagaanye buli kigambo kya Katonda, era nga batwakadde mu butali butuukirivu; era obusungu bwa Katonda obujjuvu bwali bubajjidde; era Mukama n’akolimira ensi ku lwabwe, era n’agiwa omukisa eri bajjajjaffe; weewaawo, yagikolimira ku lwabwe okutuuka ku kuzikirizibwa kwabwe, era n’agiwa omukisa eri bajjajjaffe okutuusa lwe baafuna obuyinza ku yo.
36 Laba, Mukama yatonda ensi nti ebeeremu abantu; era yatonda abaana be nti balina okugibeeramu n’okugifuga.
37 Era ayimusa eggwanga etuukirivu, era n’azikiriza amawanga g’ababi.
38 Era akulemberamu abatuukirivu mu nsi ez’omuwendo, era n’ababi n’abazikiriza, n’akolimira ensi yabwe ku lwabwe.
39 Afuga waggulu mu ggulu, kubanga ye namulondo ye, era n’ensi eno ye ntebe y’ebigere bye.
40 Era ayagala abo abaagala ye abeere Katonda waabwe. Laba, yayagala bajjajjaffe, era n’akola endagaano nabo, weewaawo, ddala ne Ibulayimu, Isaaka, era ne Yakobo; era n’ajjukira endagaano ze yali akoze; n’olwekyo, yabaggya mu nsi ye Misiri.
41 Era n’abakangavvula mu lukoola n’omuggo gwe; kubanga bakakanyaza emitima gyabwe, ddala nga nammwe bwe mukoze; era Mukama yabakangavvula olw’ebibi byabwe. Yasindika emisota egy’omuliro egibuuka mu bo; era oluvannyuma lw’okubojjebwa n’ateekateeka engeri mwe bayinza okuwonyezebwa; era omulimu gwe baalina okukola gwali gwa kutunula; era olw’engeri okubeera enyangu, oba obwangu bwayo, waaliwo bangi abaasaanawo.
42 Era ne bakakanyaza emitima gyabwe buli luvannyuma lwa kiseera, era ne bavuma Musa, era nate ne Katonda; wabula, mumanyi nti baakulemberwa amaanyi ge agatenkaninka okuyingira mu nsi ensuubize.
43 Era kaakano, oluvannyuma lw’ebintu bino byonna, ekiseera kituuse nti bafuuse ababi, weewaawo, kumpi batwakaavu; era simanyi naye balabika ku lunaku luno banaatera okuttibwa; kubanga nkimanyi nti olunaku lulina okutuuka ddala lwe balina okuttibwa, okuggyako abatono bokka, abanatwalibwa mu buwambe.
44 N’olwekyo, Mukama yalagira kitange agende mu lukoola; era n’Abayudaaya nabo ne bagezaako okuggyawo obulamu bwe; weewaawo, era nammwe nate mwagezaako okuggyawo obulamu bwe; n’olwekyo, muli batemu mu mitima gyammwe era mubafaanana.
45 Muli bangu okukola ebibi naye mulwawo okujjukira Mukama Katonda wammwe. Mulabye malayika, era n’ayogera gye muli; weewaawo, muwulidde eddoboozi lye buli luvannyuma lwa kiseera; era ayogedde gye muli mu ddoboozi erikakkamu nga ttono nnyo, naye mwasukkuluma ku ssa ly’okuwulira, nti temwasobola kuwulira bigambo bye; n’olwekyo, ayogedde gye muli ng’eddoboozi ery’okubwatuka, eryaletera ensi okukankana ng’eyali egenda okwabulukuka.
46 Era mmwe nate mukimanyi nti n’amaanyi g’ekigambo kye ekiyinza byonna asobozesa ensi okuggwawo; weewaawo, era mukimanyi nti olw’ekigambo kye asobola okufuula ebifo ebikuubuufu ebiweweevu era n’ebifo ebiweweevu birimenyebwamenyebwa. Ayi, olwo, lwaki kiri bwekityo, nti musobola okubeera abakakanyavu bwemutyo mu mitima gyammwe?
47 Laba, emmeeme yange eyulise olw’obulumi olw’okuba mmwe, era n’omutima gwange gulumwa; ntya nti mwandisuulibwa emirembe gyonna. Laba, nzijjudde Omwoyo wa Katonda, okutuuka nti sikyalina maanyi mu nyingo.
48 Era kaakano olwatuuka nti bwe nnamala okwogera ebigambo bino ne bansunguwalira, ne baagala okunsuula mu buziba bw’ennyanja; era bwe bajja okunteekako emikono gyabwe ne njogera gye bali, nga ŋŋamba nti: Mu linnya lya Katonda ayinza byonna, mbalagira obutankwatako, kubanga nzijjudde amaanyi ga Katonda, ddala n’okutuusa okusaanawo kw’omubiri gwange; era buli ananteekako emikono gye anakalambala ng’olumuli olukalu; era aliba ng’ekitagasa awali amaanyi ga Katonda, kubanga Katonda anaamukuba.
49 Era olwatuuka nti nze, Neefi, ne mbagamba nti baleme okuddamu okwemulugunya eri kitaabwe; era baleme okwebalama okunnyamba, kubanga Katonda yali andagidde okuzimba ekyombo.
50 Era ne mbagamba nti: Singa Katonda abadde andagidde okukola ebintu byonna nsobola okubikola. Singa anaandagira nti ŋŋambe amazzi gano nti, beera olukalu, gandibadde olukalu; era bwe nnandikyogedde, kyandikoleddwa.
51 Era kaakano, singa Mukama alina amaanyi amangi bwe gatyo, era nga akoze ebyamagero bingi bwe bityo mu baana b’abantu, kiyinzika kitya nti tasobola kundagira, nti nzimbe ekyombo?
52 Era olwatuuka nti nze, Neefi, ne njogera ebintu bingi eri baganda bange, okutuuka nti basoberwa era ne batasobola kukaayana nange; so tebaalina buvumu kunteekako mikono gyabwe wadde okunkwatako n’engalo zaabwe, ddala okumala ennaku nnyingi. Kaakano tebaalina buvumu kukola kino nga batya okukalambala mu maaso gange, kubanga Omwoyo wa Katonda yali wa maanyi nnyo; era bwe kityo yabakwatako.
53 Era olwatuuka Mukama n’aŋŋamba nti: Golola omukono gwo nate eri baganda bo, era tebakalambale mu maaso go, naye nja kubakankanya, bw’ayogera Mukama, era kino nja kukikola, balyoke bamanye nti nze Mukama Katonda waabwe.
54 Era olwatuuka nti nnagolola omukono gwange eri baganda bange, ne batakalambala mu maaso gange; naye Mukama yabakankanya, ddala okusinziira ku kigambo kye yayogera.
55 Era kaakano, ne bagamba nti: Tumanyi bulungi nti Mukama ali naawe, kubanga tukimanyi nti amaanyi ga Mukama ge gatukankanyizza. Era ne bavvunama mu maaso gange, era baali banaatera okunsinza, naye ne sibakkiriza, nga ŋŋamba nti: Ndi muganda wammwe, weewaawo, ddala muto wammwe; n’olwekyo, musinze Mukama Katonda wammwe, era musse ekitiibwa mu kitammwe ne nnyammwe, nti ennaku zammwe zibeere mpanvu mu nsi Mukama Katonda wammwe gy’anabawa.