Essuula 3
Batabani ba Leki baddayo e Yerusaalemi okufuna embaati ez’ekikomo; Labani agaana okuwaayo embaati; Neefi akubiriza era agumya baganda be; Labani abba ebintu byabwe era agezaako okubatta; Lamani ne Lemweri bakuba Neefi ne Samu era ne banenyezebwa malayika. Nga mu mwaka gwa 600–592 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era olwatuuka nti nze Neefi ne nkomawo okuva okwogera ne Mukama, eri weema ya kitange.
2 Era olwatuuka n’ayogera nange, ng’agamba nti: Laba ndoose ekirooto, Mukama mw’andagidde nti ggwe ne baganda bo mujja kuddayo e Yerusaalemi.
3 Kubanga laba, Labani alina ekiwandiiko ky’Abayudaaya n’okulambikibwa kw’obuzaale bwa bajjajjange, era byayolebwa ku mbaati ez’ekikomo.
4 N’olwekyo, Mukama yandagidde ggwe ne baganda bo mugende mu nnyumba ya Labani, munoonye ebiwandiiko, mu bireete wano mu lukoola.
5 Era kaakano, laba baganda bo beemulugunya, nga bagamba nti kintu kizibu kye mbasaba; naye laba sibasaba, naye kiragiro kya Mukama.
6 N’olwekyo genda, mutabani wange, era ojja kuwanirirwa Mukama, kubanga tewemulugunyizza.
7 Era olwatuuka nti nze, Neefi, ne ŋŋamba kitange nti: Nja kugenda nkole ebintu Mukama by’alagidde, kubanga nkimanyi nti Mukama tawa baana b’abantu biragiro, okuggyako nga wa kubategekera ekkubo basobole okutuukiriza ekintu ky’abalagira.
8 Era olwatuuka kitange bwe yawulira ebigambo bino n’asanyuka nnyo, kubanga yali amanyi nti nnali nfunye omukisa okuva eri Mukama.
9 Era nze, Neefi, ne baganda bange twakwata olugendo lwaffe mu lukoola, ne weema zaffe, okugenda mu nsi ya Yerusaalemi.
10 Era olwatuuka bwe twamala okugenda mu nsi ya Yerusaalemi, nze ne baganda bange ne twewuunaganya.
11 Era ne tukuba akalulu; ani ku ffe agenda okuyingira mu nnyumba ya Labani. Era olwatuuka nti akalulu ne kagwa ku Lamani; era Lamani n’ayingira mu nnyumba ya Labani, n’ayogera naye ng’atudde mu nnyumba ye.
12 Era n’asaba Labani ebiwandiiko ebyayolebwa ku mbaati ez’ekikomo, ebyalimu okulambikibwa kw’obuzaale bwa kitange.
13 Era laba, olwatuuka Labani n’asunguwala, n’amugoba mu maaso ge; era teyamuganya kuba na biwandiiko. N’olwekyo, n’amugamba nti: Laba oli munyazi, era nja ku kutta.
14 Naye Lamani n’adduka okuva mu maaso ge, era n’ayogera ebintu Labani bye yali akoze, gye tuli. Era ne tutandika okwennyamira ennyo, era baganda bange baali banaatera okudda eri kitange mu lukoola.
15 Naye laba nnabagamba nti: Nga Mukama bw’ali omulamu, era nga bwe tuli abalamu, tetujja kuserengeta eri kitaffe mu lukoola okutuusa nga tutuukiriza ekintu Mukama kye yatulagira.
16 N’olwekyo, tubeere beesigwa mu kukuuma ebiragiro bya Mukama; n’olwekyo tuserengete mu nsi ey’obusika bwa kitaffe, kubanga laba yaleka zaabu era ne ffeeza, era n’obugagga obw’engeri zonna. Era bino byonna abikoze olw’ebiragiro bya Mukama.
17 Kubanga yali amanyi nti Yerusaalemi kiteekwa okuzikirizibwa, olw’obutali butuukirivu bw’abantu.
18 Kubanga laba, baziimudde ebigambo bya bannabbi. N’olwekyo, singa kitange abeera mu nsi nga yamala okulagirwa okudduka okuva mu nsi, laba, naye yandizikiridde. N’olwekyo, kyali kimukakatako okwetegula n’ava mu nsi.
19 Era laba, gaba magezi mu Katonda nti tuteekwa okufuna ebiwandiiko bino, tusobole okukuumira abaana baffe olulimi lwa bajjajjaffe;
20 Era nate tusobole okubakuumira ebigambo ebyayogerwa okuva mu kamwa ka bannabbi abatukuvu bonna, ebyabaweebwa Omwoyo n’amaanyi ga Katonda, okuva ensi lwe yatandika, okutuukira ddala mu kiseera kino.
21 Era olwatuuka nti oluvannyuma lw’enjogera ey’engeri eno nnasendasenda baganda bange, balyoke babeere abeesigwa mu kukuuma ebiragiro bya Katonda.
22 Era olwatuuka ne tuserengeta mu nsi ey’obusika bwaffe, ne tukuŋŋaanya wamu zaabu waffe, ne ffeeza waffe, n’ebintu byaffe eby’omuwendo.
23 Era bwe twamala okukuŋŋaanya ebintu ebyo, ne twolekera nate eri ennyumba ya Labani.
24 Era olwatuuka ne tuyingira eri Labani, ne tumwegayirira atuwe ebiwandiiko ebyayolebwa ku mbaati ez’ekikomo, olwo tulyoke tumuweemu zaabu waffe, era ne ffeeza waffe, era n’ebintu byaffe byonna eby’omuwendo.
25 Era olwatuuka Labani bwe yalaba ebintu byaffe, era nga biyitirivu nnyo, n’abyegomba, okukkakkana n’atugobera ebweru, n’atuma abaddu be okututta, alyoke afune ebintu byaffe.
26 Era olwatuuka nti twetegula abaddu ba Labani, ne tuwalirizibwa okuleka ebintu byaffe, ne bigwa mu mikono gya Labani.
27 Era olwatuuka nti twaddukira mu lukoola, era abaddu ba Labani tebasobola kutugoba, ne twekweka mu mpataanya z’olwazi.
28 Era olwatuuka Lamani n’ansunguwalira, era ne kitange; era ne Lemweri bwe yali, kubanga yawuliriza ebigambo bya Lamani. N’olwekyo Lamani ne Lemweri baakozesa ebigambo ebigumu bingi gye tuli, baganda baabwe abato, era ne batukuba mazima ddala n’omuggo.
29 Era olwatuuka nga bakyatuukuba n’omuggo, laba, malayika wa Mukama n’ajja n’ayimirira mu maaso gaabwe, n’ayogera nabo nti: Lwaki mukuba muto wammwe n’omuggo? Temumanyi nga Mukama amulonze okuba omufuzi gye muli, era kiri bwe kiti olw’obutali butuukirivu bwammwe? Laba mulinyerinnye nate okudda e Yerusaalemi, era Mukama agya kuwaayo Labani mu mikono gyammwe.
30 Malayika bwe yamala okwogera naffe, n’agenda.
31 Era malayika olw’avaawo, Lamani ne Lemweri nate ne batandika okwemulugunya, nga bagamba nti: Kisoboka kitya Mukama okuwaayo Labani mu mikono gyaffe? Laba, musajja wa maanyi, era asobola okulagira amakumi ataano, weewaawo, era asobola okutta amakumi ataano; olwo ate lwaki si ffe?