Scriptures
1 Neefi 14


Essuula 14

Malayika abuulira Neefi ku mikisa n’ebikolimo ebinaatuuka ku Bamawanga; Waliwo ekkanisa bbiri zokka: Ekkanisa y’Omwana gw’Endiga wa Katonda n’ekkanisa ya setaani; Abatukuvu ba Katonda mu mawanga gonna bayigganyizibwa ekkanisa ey’amaanyi era ezira; Omutume Yokaana ajja kuwandiika ebikwata ku nkomerero y’ensi. Nga mu mwaka gwa 600–592 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Era olulituuka, nti Abamawanga bwe banaawuliriza Omwana gw’endiga gwa Katonda ku lunaku olwo lw’alibeeraga mu kigambo, era nate mu maanyi, mu bikolwa byennyini, okutuusa okuggyawo ebyesittaza byabwe;

2 Era ne batakakanyaza mitima gyabwe eri Omwana gw’endiga gwa Katonda, balibalibwa mu zzadde lya kitaawo; weewaawo, balibalibwa mu nnyumba ya Isiraeri; era baliba bantu ab’omukisa ku nsi ensuubize emirembe gyonna; tewaliba nate kutwalibwa mu buwambe; era n’ennyumba ya Isiraeri tegenda kuswazibwa nate.

3 Era ekinnya ekyo ekinene, ekyasimibwa ekkanisa eyo ey’amaanyi era ezira, eyatandikibwawo setaani n’abaana be, asobole okutwala emyoyo gy’abantu wansi mu ggeyeena; weewaawo, ekinnya ekyo ekinene ekyasimibwa olw’okuzikirizibwa kw’abantu kirijjuzibwa abo abaakisima, okutuuka ku kuzikirizibwa kwabwe okw’enkomeredde, bw’ayogera Omwana gw’endiga gwa Katonda; so si kuzikirizibwa kwa mwoyo, wabula okusuulibwa mu ggeyeena eyo etaliiko nkomerero.

4 Kubanga laba, kino kisinziira ku buwambe bwa setaani, era n’obwenkanya bwa Katonda, eri abo bonna abalikola obubi era n’ebizira mu maaso ge.

5 Era olwatuuka malayika n’ayogera nange, Neefi, ng’agamba nti: Olabye nti Abamawanga bwe beenenya kijja kuba kirungi gye bali; era naawe nate omanyi ebikwata ku ndagaano za Mukama eri ennyumba ya Isiraeri; era nate owulidde nti buli ateenenye alina okuzikirizibwa.

6 N’olwekyo, zibasanze Abamawanga bwe kiba nti bakakanyaza emitima gyabwe eri Omwana gw’endiga gwa Katonda.

7 Kubanga ekiseera kijja, bw’ayogera Omwana gw’endiga gwa Katonda, nti ndikola omulimu omunene era ogw’ekitalo mu baana b’abantu; omulimu ogulibeera ogw’emirembe n’emirembe, oba ku ludda olumu oba ku ludda olulala; oba okubamatiza okutuuka ku mirembe n’obulamu obutaggwaawo, oba okutuuka ku kununulibwa kwabwe okuva mu bukakanyavu bw’emitima gyabwe n’obuzibe bw’amaaso g’ebirowoozo byabwe okutuuka okuleetebwa wansi mu buwambe, era n’okuzikirizibwa, byombi mu mubiri ne mu mwoyo, okusinziira ku buwambe bwa setaani, gwe njogeddeko.

8 Era olwatuuka malayika bwe yamala okwogera ebigambo bino, n’aŋŋamba nti: Ojjukira endagaano za Kitaffe eri ennyumba ya Isiraeri? Namugamba nti Weewaawo.

9 Era olwatuuka n’aŋŋamba nti: Tunula, era laba ekkanisa eyo ey’amaanyi era ezira, ye nnyina w’ebizira, ng’omutandisi waayo ye setaani.

10 Era n’aŋŋamba nti: Laba, waliwo ekkanisa bbiri zokka; emu ye kkanisa y’Omwana gw’endiga gwa Katonda, ate endala ye kkanisa ya setaani; n’olwekyo, oyo atali mu kkanisa y’Omwana gw’endiga gwa Katonda aba wa kkanisa eyo ey’amaanyi, eyo ye nnyina w’ebizira; era ye omwenzi w’ensi yonna.

11 Era olwatuuka nti nnatunula era nnalaba omwenzi w’ensi yonna, era n’atuula ku mazzi amangi; era n’afuna obufuzi ku nsi yonna, mu mawanga gonna, ebika, ennimi, era n’abantu.

12 Era olwatuuka nti nnalaba ekkanisa y’Omwana gw’endiga gwa Katonda, era n’emiwendo gwayo nga mutono, olw’obubi era n’ebivve eby’omwenzi eyatuula ku mazzi amangi; wabula, nnalaba nti ekkanisa y’endiga, abaali abatukuvu ba Katonda, baali nate ku nsi yonna; era n’amatwale gaabwe ku nsi gaali matono, olw’obubi bwa omwenzi omukulu gwe nnalaba.

13 Era olwatuuka nti nnalaba nnankulu wa ba maama b’ebizira yakuŋŋaanya ebibinja ku nsi yonna, mu mawanga gonna ag’Abamawanga, okulwana n’Omwana gw’endiga gwa Katonda.

14 Era olwatuuka nti nze, Neefi, nnalaba amaanyi g’Omwana gw’endiga gwa Katonda, nti gakka ku batukuvu ab’ekkanisa y’Omwana gw’endiga, ne ku bantu ba Mukama ab’endagaano, abaali basaasaanye ku nsi yonna; era baali bayambaziddwa obutuukirivu era n’amaanyi ga Katonda mu kitiibwa ekissukkulumu.

15 Era olwatuuka nti nnalaba obusungu bwa Katonda buyiiriddwa ku kkanisa eyo ey’amaanyi era ezira, okutuusa nti waaliwo entalo n’okwogera ku ntalo mu mawanga gonna n’ebika eby’ensi.

16 Era awo bwe watandika okubaawo entalo era n’eŋŋambo ze ntalo mu mawanga gonna agaali aga nnyina w’ebizira, malayika n’ayogera nange ng’agamba nti: Laba, obusungu bwa Katonda buli ku nnyina w’abenzi; era laba, ggwe olaba ebintu bino byonna;

17 Era olunaku bwe lunaatuuka nti obusungu bwa Katonda buyiiriddwa ku nnyina w’abenzi, nga ye ekkanisa ey’amaanyi era ezira ey’ensi yonna, omutandisi waayo nga ye setaani, awo, ku lunaku olwo, omulimu gwa Kitaffe gulitandika, mu kutegeka ekkubo ery’okutuukiriza endagaano ze, ze yakola eri abantu be ab’omu nnyumba ya Isiraeri.

18 Era olwatuuka malayika n’ayogera nange ng’agamba nti: Tunula!

19 Era nnatunula era nnalaba omusajja, ng’ayambadde ekyambalo ekyeru.

20 Era malayika n’aŋŋamba nti: Laba omu ku batume ekkumi n’ababiri ab’Omwana gw’Endiga.

21 Laba, aliraba era n’awandiika ebisigadde ku bintu ebyo; weewaawo, era n’ebintu bingi ebibaddewo.

22 Era aliwandiika n’ebikwata ku nkomerero y’ensi.

23 N’olwekyo, ebintu by’aliwandiika bya bwenkanya era bya mazima; era laba biwandiikiddwa mu kitabo kye walaba nga kiva mu kamwa k’Omuyudaaya; era mu kiseera we byaviira mu kamwa k’Omuyudaaya, oba, mu kiseera ekitabo we kyaviira mu kamwa k’Omuyudaaya, ebintu ebyali biwandiikiddwa byali bilambulukufu era birongoofu, era nga bya muwendo nnyo era ebyangu okutegeera eri abantu bonna.

24 Era laba, ebintu omutume ono ow’Omwana gw’endiga by’aliwandiika bintu bingi kw’ebyo by’olabye; era laba, ebisigadde olibiraba.

25 Naye ebintu ebyo by’oliraba okuva kaakano tobiwandiika; kubanga Mukama Katonda yatongoza omutume w’Omwana gw’endiga gwa Katonda nti abiwandiike.

26 Era nate abalala ababaddewo, abibalaze ebintu byonna, era babiwandiise; era biteekeddwako envumbo nga bya kuvaayo mu bulongoofu bwabyo, okusinziira ku mazima agali mu Mwana gw’endiga, mu kiseera kya Mukama ekituufu, eri ennyumba ya Isiraeri.

27 Era nze, Neefi, nnawulira era mpa obujulizi, nti erinnya ly’omutume w’Omwana gw’Endiga yali Yokaana, okusinziira ku kigambo kya malayika.

28 Era laba, nze, Neefi, ŋŋaniddwa okuwandiika ebintu ebisigaddewo kw’ebyo bye nnalaba era ne bye nnawulira; n’olwekyo ebintu bye mpandiise bimala; era mpandiise naye ekitundu ekitono ku bintu bye nnalaba.

29 Era mpa obujulizi nti nnalaba ebintu kitange bye yalaba, era ne malayika wa Mukama n’abimmanyisa.

30 Era kaakano nkomekkereza okwogera ku bintu bye nnalaba nga ntwaliddwa mu Mwoyo; era bwe kiba nga ebintu byonna bye nnalaba tebiwandiikiddwa, ebintu bye mpandiise bya mazima. Era bwe kityo bwe kiri. Amiina.