Scriptures
1 Neefi 8


Essuula 8

Leki alaba okwolesebwa kw’omuti gw’obulamu; alya ku kibala kyagwo era n’ayagala ab’omu maka ge bakole mu ngeri y’emu; alaba omutayimbwa ogw’ekyuma, ekkubo ery’akanyigo era effunda, n’olufu lw’ekizikiza olwabutikira abantu; Saliya, Neefi, ne Samu balya ku kibala, naye Lamani ne Lemweri bagaana. Nga 600–592 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Era olwatuuka nti twaali tukuŋŋaanyizza ensigo ez’engeri zonna eza buli kika, zombi ez’empeke eza buli kika, era n’ensigo ez’ebibala ebya buli kika.

2 Era olwatuuka nga kitange akyabeera mu lukoola yayogera gye tuli, ng’agamba nti: Laba, ndoose ekirooto; oba, mu ngeri endala, nfunye okwolesebwa.

3 Era laba, kubanga olw’ekintu kye ndabye, nnina ensonga okusanyukira mu Mukama olwa Neefi era no lwa Samu; kubanga nnina ensonga okulowooza nti bo, era bangi ab’ezzadde lyabwe, bajja kulokolebwa.

4 Naye laba, Lamani ne Lemweri, ntya ekisusse olw’okuba mmwe; kubanga laba, nze netegeera kye nnalaba mu kirooto kyange, olukoola olw’ekizikiza era olw’ennaku.

5 Era olwatuuka nti ne ndaba omusajja, era nga ayambadde ekkanzu enjeru; era n’ajja n’ayimirira mu maaso gange.

6 Era olwatuuka nti yayogera gye ndi, n’andagira nze okumugoberera.

7 Era olwatuuka bwentyo nga mugoberera ne nneraba nti nnali mu kasasiro ow’ekizikiza era ow’ennaku.

8 Era bwe nnali mmaze okutambula ebbanga ery’essaawa nyingi mu kizikiza, n’atandika okusaba eri Mukama olwo, okusinziira ku bungi bw’okusaasira kwe okw’ekisa.

9 Era olwatuuka bwe nnali nga mmaze okusaba eri Mukama nnalaba ekibangirizi ekinene era ekigazi.

10 Era olwatuuka nti nnalaba omuti, ogw’alina ekibala ekyeegombesa okufuula omuntu omusanyufu.

11 Era olwatuuka nti neyongera mu maaso ne ndya ku kibala kyagwo; era nnalaba nti kyali kisinga okuwoomerera, okusinga ebyo byonna bye nnali ndiddeko. Weewaawo, era nnalaba nti ekibala kyagwo kyali kyeru, okussukkuluma obweeru bwonna bwe nnali ndabye.

12 Era bwe nnali nga ndya ku kibala kyagwo kyajjuza emmeeme yange essanyu erisukkiridde; n’olwekyo, nasikirizibwa nti na b’eŋŋanda zange bakiryeeko; kubanga nnali nkimanyi nti kyali kyeegombebwa okusinga ekibala ekirala kyonna.

13 Era bwe nnetoolooza amaaso gange, nti osanga nnyinza okuzuula ab’eŋŋanda zange nabo, nnalaba omugga ogw’amazzi; era nga gukulukuta ku mabbali, era gwali kumpi n’omuti gwe nnali ndyaako ekibala.

14 Era nnatunula okulaba gye gwaali guva; era nnalaba ensibuko yaagwo nga teri wala; era ku nsibuko yaagwo nnalaba nnyammwe Saliya, era ne Samu, era ne Neefi; era baali bayimiridde nga balinga abaali basobeddwa wa gyebaalina okugenda.

15 Era olwatuuka nti nnabakowoola; era nate nnabagamba mu ddoboozi ery’omwanguka nti baali balina okujja gye ndi, era balye ku kibala, ekyali kiyayanirwa okusinga ekibala ekirala kyonna.

16 Era olwatuuka nti bajja gye ndi era nabo ne balya ku kibala.

17 Era olwatuuka nti n’ayagala Lamani ne Lemweri bajje nabo balye ku kibala; n’olwekyo, nnetoolooza amaaso gange okugoolekeza omugga gye gwaali gutandikira, nti ob’oly’awo nsobole okubalaba.

18 Era olwatuuka nti nnabalaba, naye ne batajja gye ndi kulya ku kibala.

19 Era nnalaba omutayimbwa ogw’ekyuma, era gweeyongerayo okutuuka ku lubalama lw’omugga, era ne gutuuka ku muti we nnali nnyimiridde.

20 Era nate nnalaba ekkubo ery’akanyigo era effunda, ery’ajja n’omutayimbwa ogw’ekyuma, n’okutuuka ku muti okuliraana we nnali nyimiridde; era lyali lituuka ku nsibuko y’ensulo, okutuuka ku kibangirizi ekinene era ekigazi, nga kyefaananyirizaako ensi.

21 Era nnalaba ebibinja bya abantu ebiyitirivu, bangi ku bo nga bafuba okweyongera mu maaso, nti basobole okufuna ekkubo eribatuusa ku muti we nnali nyimiridde.

22 Era olwatuuka nti bajja, ne beyongerayo mu kkubo ery’ali ligenda ku muti.

23 Era olwatuuka nti wasituka olufu olw’ekizikiza; weewaawo, ddala n’olufu oluyitirivu ennyo olw’ekizikiza, okutuusa nga naabo abaali batandise okutambula mu kkubo baabulwa ekkubo lyabwe, nti babungeeta era ne babula.

24 Era olwatuuka nti nnalaba abalala nga beyongerayo mu maaso, ne bavaayo ne bakwata ku nkomerero y’omutayimbwa ogw’ekyuma; era beyongerayo mu maaso nga bayita mu lufu olw’ekizikiza, nga benywereza ku mutayimbwa ogw’ekyuma, era okutuusa lwe baavaayo ne balya ku kibala ky’omuti.

25 Era bwe baamala okulya ku kibala ky’omuti ne batandika okutunula n’amaaso gaabwe okugetoolooza nga balinga abaswadde.

26 Era nange nnetoolooza amaaso gange, era nnalaba, ku ludda olulala olw’omugga gw’amazzi, ekizimbe ekinene era ekigazi; era kyayimirira nga kiringa ekyali mu bbanga, waggulu nnyo okuva wansi.

27 Era nga kijjudde abantu, abakadde wamu n’abato, abasajja wamu n’abakazi; era engeri gye baali bambadde yali nnungi okuzaama; era baali mu neeyisa ey’okusekerera n’okusonga ennwe zaabwe eri abo abaali bazze era nga balya ku kibala.

28 Era n’oluvannyuma nga bamaze okulya ku kibala baaswala, olw’abo abaali babajerega; era ne bawaba mu makubo agaaziyizibwa ne babula.

29 Era kaakano nze, Neefi, soogera bigambo byonna ebya kitange.

30 Naye, okufunza mu kuwandiika, laba, yalaba enkuyanja y’abantu endala nga yeyongerayo mu maaso; era ne bajja ne bakwata ku nkomerero y’omutayimbwa ogw’ekyuma; era beyongerayo mu maaso, ng’ekiseera kyonna benywereza ku mutayimbwa ogw’ekyuma, okutuusa lwe batuuka era ne beeyala wansi era ne balya ku kibala eky’omuti.

31 Era yalaba enkuyanja y’abantu endala nga ejjudde ekkubo eyolekedde eri ekizimbe ekyo ekinene era ekigazi.

32 Era olwatuuka nti bangi babbira mu buziba bw’ensulo; era bangi baabula okuva ku maaso ge, nga babungeetera mu nguudo ezitamanyiddwa.

33 Era enkuyanja y’abantu yali nnene eyayingira mu kizimbe ekyo ekyewuunyisa. Era oluvannyuma nga bayingidde mu kizimbe ekyo ne basongamu olugalo lw’obuduuze nate nabo abaali balya ekibala; naye tetwabawuliriza.

34 Bino bye bigambo bya kitange: Kubanga bangi abaabiwuliriza, baali bawabye.

35 Era Lamani ne Lemweri tebaalya ku kibala, kitange bwe yagamba.

36 Era olwatuuka oluvannyuma nga kitange ayogede ebigambo byonna eby’ekirooto kye oba okwolesebwa, ebyali ebingi, yatugamba, olw’ebintu bino bye yalaba mu kwolesebwa, yatya nnyo ku lwa Lamani era ne Lemweri; weewaawo, yatya nti oba oli awo baalikassukibwa okuva mu maaso ga Mukama.

37 Era n’ababuulirira ng’omuzadde afaayo, nti bajja kuwulira ebigambo bye, oba olyawo Mukama abeere wakisa gye bali, era aleme kubasuula; weewaawo, kitange yababuulira.

38 Era oluvannyuma nga amaze okubuulira gye bali, era nate naawa obunnabbi ku bintu bingi gye bali, n’abakuutira okukuuma ebiragiro bya Mukama; era n’alekera awo okwogera gye bali.