Essuula 21
Masiya aliba ekitangaala eri Abamawanga era alisumulula abasibe; Isiraeri erikuŋŋaanyizibwa n’amaanyi mu nnaku ez’oluvannyuma; Bakabaka baliba bakitaabwe abakuza; Geraageranya ne Isaaya 49. Nga 588–570 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era nate: Muwulirize, Ayi gwe ennyumba ya Isiraeri, mmwe mwenna abayawulwako era abaagobebwa olw’obubi bw’abasumba b’abantu bange; weewaawo, mmwe mwenna abayawulwako, abasaasaanyiziddwa ebweru w’eggwanga, abali ekitundu ku bantu bange, Ayi ennyumba ya Isiraeri. Wuliriza, Ayi ebizinga, gye ndi, era muwulirize mmwe abantu okuva ewala; Mukama ampise okuva mu lubuto; okuva mu nda ya mmange bwe yayogera ku linnya lyange.
2 Era afudde akamwa kange ng’ekitala ekyogi; mu kisiikirize ky’omukono gwe mw’ankwese, n’anfuula ekikondo ekirongooseddwa; mu kibya ky’obusaale bwe mw’ankwese;
3 N’aŋŋamba: Gw’oli muweereza wange, Ayi Isiraeri, gwe ndigulumizibwamu.
4 Awo ne ŋŋamba nti, nkoledde obutaliimu, maze amaanyi gange ku bwereere era n’obutalimu; mazima ddala okulamulwa kwange kuli eri Mukama, n’omulimu gwange ne Katonda wange.
5 Era kaakano, bw’ayogera Mukama; oyo eyantonda okuva mu lubuto lwa mmange nti mbeere omuddu we, okuleeta Yakobo nate gy’ali; wadde nga Isiraeri tennakuŋŋaanyizibwa, naye ndiba wa kitiibwa mu maaso ga Mukama, era Katonda wange aliba amaanyi gange.
6 Era n’agamba nti: Kintu kyangu nti ggwe osaanidde okuba omuddu wange okuyimusa ebika bya Yakobo, n’okukomyawo abasigalawo ba Isiraeri. Ndi kufuula nate ng’ekitangaala eri Abamawanga, nti ggwe osobole okuba obulokozi bwange eri enkomerero z’ensi.
7 Bw’atyo bw’ayogera Mukama, Omununuzi wa Isiraeri, Omutukuvu we, eri oyo abantu gwe banyooma, eri oyo amawanga gwegakyawa, eri omuddu w’abafuzi: Bakabaka balilaba era baligolokoka, abalangira nabo balisinza, olwa Mukama oyo omwesigwa.
8 Bw’atyo bw’ayogera Mukama: Mu kiseera ekikkirizibwa nkuwulidde, Ayi mwe ebizinga eby’omu nnyanja, era mu lunaku lw’obulokozi nkuyambye; era ndikukuuma, era ndi kuwa omuweereza wange olw’endagaano y’abantu, okuteekawo ensi, okuleetera okusikira obugaga obwalekebwawo;
9 Nti ggwe osobole okugamba abasibe nti: Mugende; eri abo abatuula mu kizikiza: Mwelage. Bajja kulya mu makubo, era n’amalundiro gaabwe gajja kuba mu bifo byonna ebya waggulu.
10 Tebalirumwa njala wadde ennyonta, wadde ebbugumu oba enjuba tebiri baleetako bulabe; kubanga oyo alina okusaasira gye bali alibakulembera, era ne ku nsulo z’amazzi anaabaluŋŋamya.
11 Era ndifuula ensozi zange zonna ekkubo, n’enguudo zange ennene zirigulumizibwa.
12 Era awo, Ayi ennyumba ya Isiraeri, laba, bano baliva ewala; era awo, bano nga bava mu bukiikakkono era n’okuva mu bugwanjuba; era na bano okuva mu nsi ye Sinimu.
13 Muyimbe, Ayi eggulu; era mubeere basanyufu, Ayi ensi; kubanga ebigere by’abo abali mu buvanjuba biriteekebwaawo; era walibalukawo okuyimba, Ayi ensozi; kubanga tebaliddamu kukubwa; kubanga Mukama abudaabuda abantu be, era aliba n’okusaasira eri ababe ababonyaabonyezebwa.
14 Naye, laba, Sayuuni agambye nti: Mukama ansuddewo, era Mukama wange aneerabidde; naye ajja kulaga nti takikoze.
15 Kubanga omukyala asobola okwerabira omwana we ayonka, nti tasaanidde kuba na kusaasira eri omwana ow’obulenzi ow’enda ye? Weewaawo, bayinza okwerabira, naye nze sijja kukwerabira, Ayi ennyumba ya Isiraeri.
16 Laba, nkuwandiise mu bibatu by’emikono gyange; n’ebisenge byo bibeera mu maaso gange buli kiseera.
17 Abaana bo baliyanguwa eri abo abaakuzikiriza; era n’abo abakufuula amatongo baligenda okuva mu ggwe.
18 Situla amaaso go okwetooloola era olabe; bano bonna beekuŋŋaanya wamu, era balijja gy’oli. Era nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama, amazima ddala nawe oli byeyambaza byonna, nga bwe kiri ku ky’okwewunda, era n’okubyesiba ng’omugole.
19 Kubanga ebifo byo eby’amatongo era eby’alekebwawo, n’ensi ey’okuzikirira kwo, ne kaakano bibeere bifunda nnyo olw’ensonga y’abagibeeramu; era n’abo abaakumira baliba wala nnyo.
20 Abaana ggwe bolizaala, oluvannyuma ng’ofiiriddwa asooka, mu matu go nate olibagamba nti: Ekifo kiyitiridde okuba ekigolokofu gyendi; mpa ekifo mwe nsobola okubeera.
21 Awo ogambe mu mutima gwo nti: Ani anzaalidde bano, okulaba nga nfiiriddwa abaana bange, era sikyasobola kuzaala, omuwambe, era nga ntayaya? Era ani aleese bano? Laba, nnalekebwa nzekka; bano, babadde wa?
22 Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda: Laba, ndigolola omukono gwange eri Abamawanga, era ne nteekawo akabonero eri abantu; era banaaleetanga batabani bo mu mikono gyabwe, ne bawala bo balisitulwa ku bibegabega byabwe.
23 Bakabaka balibeera bakitammwe abakuza, era ne banabagereka baabwe bannyamwe ababayonsa; banaabavunnamira n’obwennyi bwabwe nga butunudde ku ttaka, era n’okukomba enfuufu y’ebigere byo; era ggwe olimanya nti nze Mukama; kubanga tebaliswazibwa abo abannindirira.
24 Kubanga omuyiggo gulitwaalibwa okuva eri ow’amaanyi, oba abasibe mu mateeka abalisumululwa?
25 Naye bw’atyo bw’ayogera Mukama, n’abawambe be ab’amaanyi balitwalibwa, era n’omunyaggo gw’abo abatiisa ggulinunulwa; kubanga nditeesa n’oyo awakana naawe, era ndilokola abaana bo.
26 Era ndibaliisa abo abakunyigiriza, n’emibiri gyabwe; balitamiira n’omusaayi gwabwe gwennyini nga bwe kiri ku mwenge omuwoomu; era na buli kyonna ekiy’omubiri kirimanya nti nze, Mukama, ndi Mulokozi wo era Omununuzi wo, Ow’amaanyi owa Yakobo.