Essuula 20
Mukama abikkulira ebigendererwa bye eri Isiraeri; Isiraeri yalondebwa mu kyokero ky’okubonaabona era yakuva e Babulooni; Geraageranya ne Isaaya 48. Nga 588–570 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Muwulirize era muwulire bino, Ayi ennyumba ya Yakobo, abayitibwa erinnya lya Isiraeri, era nga ba bbulukuse okuva mu mazzi ga Yuda, oba okuva mu mazzi ag’okubatizibwa, abalayira erinnya lya Mukama, era aboogera ku Katonda wa Isiraeri, naye nga tebalayira mu mazima wadde mu butuukirivu.
2 Wadde nga kiri kityo, beeyitanga ekibuga ekitukuvu, naye tebenywereeza ku Katonda wa Isiraeri, oyo ye Mukama ow’eggye; weewaawo, Mukama ow’eggye lye linnya lye.
3 Laba, nnangiridde ebintu eby’edda okuviira ddala mu ntandikwa; era byafuluma okuviira ddala mu kamwa kange, era ne mbibayigiriza. Nnabayigiriza mu bwangu awataali kulabula.
4 Era nnakikola kubanga nnakimanya nti oli munyoomi, era n’ensingo yo kye kinywa eky’ekyuma, n’ekyenyi kyo kya kikomo;
5 Era n’okuviira ddala ku ntandikwa nzize nga nangirira gy’oli; nga tekinnatuuka nnabikuyigiriza; era nnabikuyigiriza olw’okutya sikulwa ng’ogamba; ekibumbe kyange kye kibikoze, era n’ekifaananyi kyange ekyoole, era n’ekifaananyi kyange ekisaanuuse kye kibiragidde.
6 Ggwe olabye era otegeezeddwa bino byonna; era ggwe toobilangirire? Era nti nkuyigiriza ebintu ebipya okuva mu kiseera kino, ddala ebintu ebikwekeddwa, era ggwe bye wali tomanyi.
7 Bitondebwa kati, era so si okuva ku lubereberye, era n’olunaku nga ggwe tonaba kutegeezebwa byali byalangirirwa gy’oli, okuggyako nga gwe ogamba; laba nnali mbimanyi.
8 Weewaawo, era ggwe tewategeezebwa; weewaawo, ggwe tewamanya; weewaawo, okuva mu kiseera ekyo okutu kwo tekwali kuggule; kubanga nze nnamanya nti ggwe wandikola ennyo obukuusa n’enkwe, era wayitibwa omwonoonyi okuviira ddala mu nda ya maama wo.
9 Wadde nga kiri kityo, ku lw’erinnya lyange ndiddiriza obusungu bwange, era olw’okutenderezebwa kwange nja ku kwewala ggwe, nti nneme kukusalako.
10 Kubanga, laba, nkulongoosezza gwe, nkulonze gwe mu kyokero ky’okubonaabona.
11 Ku lwange, weewaawo, ku lwange nja kukola kino, kubanga sijja kugumiikiriza erinnya lyange okwonoonebwa, era sijja kuwa kitiibwa kyange eri mulala.
12 Mpuliriza, Ayi Yakobo, era ne Isiraeri omuyite wange, kubanga nze ye; era nze ow’olubereberye, era nze ow’enkomerero.
13 Omukono gwange nate gwe gwassaawo omusingi ogw’ensi, era n’omukono gwange ogwa ddyo gubunye eggulu. Mbiyita era ne bayimirira wamu.
14 Mmwe mwenna, mwekuŋŋaanye, era muwulirize; ani ku bo alangiridde ebintu bino gye bali? Mukama amwagadde; weewaawo, era alituukiriza ekigambo kye ky’alangiridde gye bali; era ajja kukola ky’ayagala ku Babulooni, era n’omukono gwe gulijja ku Bakaludaaya.
15 Nate era, bw’ayogera Mukama; Nze Mukama, weewaawo, njogedde; weewaawo, mmuyise okulangirira, mmuleese, era anaafuula ekkubo lye erikulaakulanye.
16 Mujje mwe okumpi nange; siyogedde mu kyama; okuviira ddala ku ntandikwa, okuva mu kiseera lwe kyalangirirwa mbaddenga njogera; era Mukama Katonda, n’Omwoyo we, bitumye.
17 Era bw’atyo bw’ayogera Mukama, Omununuzi wo, Omutukuvu wa Isiraeri; nze mmutumye, Mukama Katonda wo akuyigiriza okuganyulwa, akuluŋŋamya mu kkubo ly’olina okugendamu, akikoze.
18 Ayi mmwe ababadde bagoondera ebiragiro byange; olwo emirembe gyammwe gyali giringa omugga, era n’obutuukirivu bwammwe ng’amayengo g’ennyanja.
19 Ezzadde lyo nalyo lyali nga omusenyu; abaana b’enda yo ng’empeke z’amayinja gaayo; erinnya lye teryandisaliddwako wadde okuzikirizibwa okuva mu maaso gange.
20 Mugende mmwe muve mu Babulooni, mudduke mmwe okuva ku Bakaludaaya, n’eddoboozi ery’okuyimba mulangirire mmwe, mumanyise bino, mwogere n’okutuusa ku nkomerero y’ensi; mugambe mmwe: Mukama anunudde omuddu we Yakobo.
21 Era ne bataffuna nnyonta; yabakulembera nga bayita mu malungu; yasobozesa amazzi okukulukuta okuva mu lwazi ku lwabwe; yakuba olwazi nate era amazzi ne gafulumamu.
22 Era wadde kiri kityo akoze bino byonna, era n’okusingawo, tewali mirembe, bw’ayogera Mukama, eri ababi.