Essuula 9
Ababaka basanga ssaabalamuzi ng’afudde ku ntebe y’obulamuzi; Basibibwa era oluvannyuma ne bayimbulwa; Olw’okwolesebwa Neefi amanya nti Siyantomu ye mutemu; Neefi akkirizibwa abamu nga nnabbi. Nga mu mwaka 23–21 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Laba, kaakano olwatuuka Neefi bwe yamala okwogera ebigambo bino, abasajja abamu abaali mu bo badduka okugenda eri entebe ey’obulamuzi; weewaawo, ddala waaliwo bataano abaagenda, era baayogera bokka na bokka, nga bwe bagenda;
2 Laba, kaakano tujja kumanya amazima oba omusajja ono nnabbi era nga Katonda amulagidde okuwa obunnabbi gye tuli ku bintu eby’ekitalo bwe bityo. Laba, tetukkiriza nti y’amutumye; weewaawo, tetukkiriza nti nnabbi; naye, singa ekintu kino ky’ayogedde ku ssaabalamuzi kibeera kituufu, nti afudde, olwo tunakkiriza nti n’ebigambo ebirala by’ayogedde bituufu.
3 Era olwatuuka badduka n’amaanyi gaabwe gonna, ne bayingira eri entebe y’obulamuzi; era laba, ssaabalamuzi yali agudde ku ttaka, era ng’agalamidde mu kitaba ky’omusaayi gwe.
4 Era kaakano laba, bwe baalaba kino beewuunya nnyo, ddala okutuusa nti baagwa ku ttaka; kubanga baali tebakkirizza bigambo Neefi bye yali ayogedde ebikwata ku ssaabalamuzi.
5 Naye kaakano, bwe baalaba bakkiriza, era okutya kwabatuukako nti ebibonerezo byonna Neefi bye yali ayogedde binajja eri abantu; n’olwekyo baakankana, era baali bagudde ku ttaka.
6 Kaakano, amangu ago omulamuzi bwe yali nga amaze okuttibwa; nga afumitiddwa muganda we eyali mu kyambalo ekikisa enfaanana ye, era yadduka, era abaweereza badduka ne babuulira abantu, nga bayisa ekirango ky’okutemulwa mu bo;
7 Era laba abantu baakuŋŋaanira wamu mu kifo eky’entebe y’obulamuzi; era laba, ekyabewuunyisa baalaba abasajja abo abataano abaali bagudde ku ttaka.
8 Era kaakano laba, abantu baali tebalina kye bamanyi ku bikwata ku nkuyanja y’abantu abaali bakuŋŋaanidde mu lusuku lwa Neefi; n’olwekyo baayogera bokka na bokka nti: Abasajja bano be basse omulamuzi, era Katonda abakubye olwo ne batasobola kutuddukako.
9 Era olwatuuka baabakwata, era baabasiba ne babasuula mu kkomera. Era waabaawo ekirangiriro ekyayisibwa mu bantu nti omulamuzi attiddwa, era nti abatemu batwaliddwa ne basuulibwa mu kkomera.
10 Era olwatuuka enkeera abantu baakuŋŋaanira wamu okukungubaga n’okusiiba, mu kuziika ssaabalamuzi eyali attiddwa.
11 Era bwe batyo abalamuzi abo abaali mu lusuku lwa Neefi nabo, era ne bawulira ebigambo bye, nabo baakuŋŋaanira wamu mu kuziika.
12 Era olwatuuka beebuuza ku bantu, nga bagamba nti: Bali ludda wa abataano abaasindikibwa okubuuza ku bikwata ku ssaabalamuzi oba yali afudde? Era baayanukula ne bagamba nti: Ku bikwata ku bataano bano be mugamba nti mwatuma, tetumanyi; naye waliwo abataano abatemu, betwasudde mu kkomera.
13 Era olwatuuka abalamuzi baayagala baleetebwe; era baaleetebwa, era laba baali abataano abaasindikibwa; era laba abalamuzi ne bababuuza okumanya ebikwata ku nsonga eyo, era baababuulira byonna bye baakola, nga bagamba nti:
14 Twadduka ne tutuuka mu kifo eky’entebe y’obulamuzi, era bwe twalaba ebintu byonna ddala nga Neefi bwe yali awadde obujulizi, twewuunya ddala okutuusa nti twagwa ku ttaka; era nga tuvudde mu kyewuunyo kino, laba baatusuula mu kkomera.
15 Kaakano, ku ky’okuttibwa kw’omusajja ono, tetumanyi ani akikoze; era kino kyokka kye tumanyi, twadduka ne tujja nga bwe mwayagala, era laba yali afudde, okusinziira ku bigambo bya Neefi.
16 Era kaakano olwatuuka abalamuzi bannyonnyola ensonga eri abantu, era ne bakangula ku ddoboozi eri Neefi, nga bagamba nti: Laba, tumanyi nti Neefi ono ateekwa okuba nga yakkiriziganya n’omuntu omu okutta omulamuzi, n’oluvannyuma asobole okukitutegeeza, alyoke atukyuse mu nzikiriza ye, olwo alyoke yegulumize okuba omusajja ow’amaanyi, alondeddwa Katonda, era nnabbi.
17 Era kaakano laba, tujja kwanika omusajja ono, era ajja kwatula ensobi ye era atutegeeze omutemu omutuufu eyatta omulamuzi ono.
18 Era olwatuuka abataano baasumululwa ku lunaku olw’okuziika. Wabula, baanenya abalamuzi olw’ebigambo bye baali boogedde ku Neefi, era ne bawakana nabo omu ku omu, okukkakkana nga babatabudde.
19 Wabula, baalagira Neefi okukwatibwa n’okusibibwa n’okuleetebwa mu maaso g’enkuyanja y’abantu, ne batandika okumubuuza mu ngeri ez’enjawulo basobole okumubuzabuza, olwo balyoke bamusalire ogw’okufa.
20 Nga bamugamba nti: Oli mwekobaanyi; musajja ki ono eyakoze ettemu lino? Kaakano tubuulire, era okkirize ensobi yo; nga bagamba nti, Laba wano waliwo ssente; era ate tujja kukulekera obulamu bwo bw’onaatubuulira, era n’okkiriza endagaano gye wakola naye.
21 Naye Neefi n’abagamba nti: Ayi mmwe abasirusiru, mmwe eb’emitima egitaakomolebwa, mmwe bamuzibe, era mmwe abantu ab’ensingo enkakanyavu, mumanyi ekiseera kyenkana ki Mukama Katonda wammwe kyalibagumiikiriza nga mugenda mu maaso mu kkubo lyammwe lino ery’ekibi?
22 Ayi mmwe musaana okutandika okulaajana n’okukungubaga, olw’okuzikirizibwa okw’amaanyi okubalindiridde mu kiseera kino, okuggyako nga mwenenyezza.
23 Laba mugamba nti nzikiriziganyizza n’omusajja okutta Sezolamu, ssaabalamuzi waffe. Naye laba, mbagamba nti kino kiri bwe kityo kubanga mbawadde obujulizi musobole okumanya ebikwata ku kintu kino; weewaawo, ddala okuba obujulizi gye muli, nti nnamanya obubi n’ebizira ebiri mu mmwe.
24 Era olw’okuba nkoze kino, mugamba nti nzikiriziganyizza n’omusajja okukola ekintu kino; weewaawo, kubanga nnabalaga akabonero kano munsunguwalidde, era munoonya okusaanyaawo obulamu bwange.
25 Era kaakano laba, nja kubalaga akabonero akalala, era ndabe oba nga mu kino munaanoonya okunzikiriza.
26 Laba mbagamba nti: Mugende mu nnyumba ya Siyantomu, muganda wa Sezolamu, mumugambe nti;
27 Neefi ono, eyeefudde nnabbi, oyo awa obunnabbi bw’ebibi ebingi nnyo ebikwata ku bantu bano, akkiriziganyizza naawe, kyewavudde otta Sezolamu, oyo muganda wo?
28 Era laba, ajja kubagamba nti, nedda.
29 Era mujja kumugamba nti: Wasse muganda wo?
30 Era aliyimirira n’okutya, nga tamanyi kya kwogera. Era laba, ajja kwegaana; era ajja kwefuula nga eyeewuunyizza; wabula, ajja kubategeeza nti talina musango.
31 Naye laba, munamwekenneenya, era munaasanga omusaayi ku mabbali g’ekyambalo kye.
32 Era bwe munaalaba kino, munaagamba nti: Omusaayi guno guvaawa? Tetukimanyi nti musaayi gwa muganda wo?
33 Era awo anaakankana, era anaalabika nga muyeruukirivu, ddala ng’alinga okufa gwe kutuuseeko.
34 Era awo munamugamba nti: Olw’okutya kuno n’obuyeruukirivu buno obuzze ku maaso go, laba, tumanyi nti olina omusango.
35 Era awo okutya okusingawo kulimutuukako; awo alyoke ayatule gye muli, era tajja kuddamu kwegaana nti y’akoze ettemu lino.
36 Era awo anaabagamba, nti nze, Neefi, sirina kye mmanyi ku nsonga eyo okuggyako nga kyampeebwa amaanyi ga Katonda. Era awo mulitegeera nti ndi musajja mwesimbu, era nti ntumiddwa okuva ewa Katonda.
37 Era olwatuuka baagenda ne bakola, ddala nga Neefi bwe yabagamba. Era laba, ebigambo bye yali ayogedde byali bya mazima; kubanga okusinziira ku bigambo bye yegaana; era ate okusinziira ku bigambo bye yayatula.
38 Era yaleetebwa okukakasa nti ye kennyini ye yali omutemu yennyini, okukkakkana ng’abataano baasumululwa, ne Neefi naye bw’atyo.
39 Era waaliwo abamu ku Baneefi abakkiriza ebigambo bya Neefi; era ate waaliwo n’abamu, abakkiriza olw’obujulizi bw’abataano, kubanga baali bakyusiddwa nga bali mu kkomera.
40 Era kaakano mwalimu abamu mu bantu, abaagamba nti Neefi yali nnabbi.
41 Era waaliwo abalala abaagamba nti: Laba, ye Katonda, kubanga okuggyako nga ye Katonda abadde tayinza kumanya bintu byonna. Kubanga laba, atubuulidde ebirowoozo Eby’emitima gyaffe, era atubuulidde n’ebintu; era ddala atuleetedde n’okumanya omutemu omutuufu eyatta ssaabalamuzi waffe.