Essuula 8
Abalamuzi abali b’enguzi banoonya okukuma omuliro mu bantu okuwakanya Neefi; Ibulayimu, Musa, Zenosi, Zenoka, Eziyaasi, Isaaya, Yeremiya, Leki, ne Neefi bonna baawa obujulizi ku Kristo; Olw’okuluŋŋamizibwa Neefi alangirira okuttibwa kwa ssaabalamuzi. Nga mu mwaka gwa 23–21 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era kaakano olwatuuka Neefi bwe yali ayogedde ebigambo bino, laba, waaliwo abasajja abaali abalamuzi, nga nabo baali bakibinja eky’ekyama ekya Gadiyantoni, era nga banyiivu, era baamukayukira mukumuwakanya, nga bagamba abantu nti: Lwaki temukwata musajja ono ne mumuleeta, olwo avunaanibwe okusinziira ku musango gw’akoze?
2 Lwaki mutunuulira butunuulizi omusajja ono, ne mumuwuliriza ng’avumirira abantu bano era n’okuwakanya eteeka lyaffe?
3 Kubanga laba, Neefi yali ayogedde gye bali ku bikwata ku butali bwenkanya obw’eteeka lyabwe; weewaawo, ebintu bingi Neefi bye yayogera ebitasoboka kuwandiikibwa; era tewaali kintu kyonna kye yayogera kyali kikontana n’ebiragiro bya Katonda.
4 Era abalamuzi abo baali banyiivu gy’ali kubanga yayogera amazima gye bali ku bikwata ku bikolwa byabwe eby’ekizikiza eby’ekyama; wabula, tebetantala ku muteekako ngalo zaabwe, kubanga baatya nti si kulwa abantu babakayukira.
5 N’olwekyo baayogerera waggulu eri abantu, nga bagamba nti: Lwaki muleka omusajja ono okutuvuma? Kubanga laba asalira abantu bano bonna omusango, ddala eri okuzikirizibwa; weewaawo, era nti n’ebibuga byaffe bino eby’amaanyi nabyo birituggibwako, nti tetulibeera na kifo mu byo.
6 Era kaakano tukimanyi nti kino tekisoboka, kubanga laba, tuli b’amaanyi, era n’ebibuga byaffe maanyi, n’olwekyo abalabe baffe tebasobola kutuwangula.
7 Era olwatuuka bwe batyo baakuma omuliro mu bantu okunyiigira Neefi, era ne baleetawo enkaayana mu masekkati gaabwe; kubanga waaliwo abamu abaaleekaana: Omusajja ono mumwesonyiwe, kubanga musajja mulungi, era ebintu ebyo by’ayogera mazima ddala bijja kutuukirira okuggyako nga twenenyezza;
8 Weewaawo, laba, ebibonerezo byonna by’awaddeko obujulizi bijja kututuukako gye tuli; kubanga tukimanyi nti awadde obujulizi obutuufu gye tuli ku bikwata ku bibi byaffe. Era laba bingi, era naye amanyi bulungi ebintu byonna ebiritutuukako kubanga amanyi ku bibi byaffe;
9 Weewaawo, era laba, singa tabadde nnabbi teyandiwadde bujulizi ku bintu ebyo.
10 Era olwatuuka abantu abo abaali banoonya okusaanyaawo Neefi olw’okutya kwabwe baawalirizibwa, ne batamuteekako ngalo zaabwe; n’olwekyo yatandika nate okwogera gye bali, bwe yalaba ng’afunye okuganja mu maaso g’abamu, okutuusa nti abasigadde ku bo baatya.
11 N’olwekyo yawalirizibwa okwogera ebisingawo gye bali ng’agamba nti: Laba, baganda bange, temusomangako nti Katonda yawa obuyinza eri omusajja omu, ddala Musa, okukuba ku mazzi g’ennyanja emmyufu, era ne geyawula eno n’eri, ddala okutuusa nti Abayisirayiri, abaali bakitaffe, baagisomoka ku ttaka ekkalu, era amazzi ne gezzaawo amagye g’Abamisiri bwe gaali gasomoka era ne gabamira?
12 Era kaakano laba, Katonda bwaba nga yawa omusajja ono obuyinza ng’obwo, olwo lwaki muneneŋŋana, ne mugamba nti tampadde buyinza bwonna kusobola kumanya bikwata ku bibonerezo ebiribatuukako okuggyako nga mwenenyezza?
13 Naye, laba, temukomye ku kugaana bigambo byange kyokka, wabula era mugaanye n’ebigambo byonna ebyayogerwa bajjajjaffe, era n’ebigambo ebyayogerwa omusajja ono, Musa, eyali alina amaanyi amangi bwe gatyo agamuweebwa, weewaawo, ebigambo bye yayogera ebikwata ku kujja kwa Masiya.
14 Weewaawo, teyawa bujulizi nti Omwana wa Katondo alijja? Era nga bwe yawanika waggulu omusota ogw’ekikomo mu lukoola, ddala oyo alina okujja naye bw’atyo bw’aliwanikibwa.
15 Era abangi nga bwe baatunuulira omusota ogwo babeere abalamu, ddala bwe kityo n’abangi nga bwe balina okutunuulira Omwana wa Katonda n’okukkiriza, nga balina omwoyo oguboneredde, balibeera abalamu, ddala n’okutuuka mu bulamu obwo obutaggwaawo.
16 Era kaakano laba, Musa teyakoma ku kuwa bujulizi ku bintu bino kyokka, wabula ne bannabbi abatukuvu bonna, okuva mu nnaku ze okutuukira ddala mu nnaku za Ibulayimu.
17 Weewaawo, era laba, Ibulayimu yalaba okujja kwe, era n’ajjula essanyu naajaganya.
18 Weewaawo, era laba mbagamba, nti Ibulayimu si ye yekka ey’amanya ku bintu bino, wabula waaliwo bangi ng’ennaku za Ibulayimu tezinnatuuka abaayitibwanga okusinziira ku nsengekebwa ya Katonda; weewaawo, ddala okusinziira ku nsengekebwa y’Omwana we; era kino kiryoke kiragibwe eri abantu, emyaka enkumi n’enkumi nnyingi nga ng’okujja kwe tekunnatuuka, ddala okununulwa kulyoke kutuuke gye bali.
19 Era kaakano nnandyagadde mumanye, nti n’okuviira ddala mu nnaku za Ibulayimu wabaddewo bannabbi bangi abawadde obujulizi ku bintu bino; weewaawo, laba, nnabbi Zenosi n’obuvumu yawa obujulizi; olw’ekyo yattibwa.
20 Era laba, ne Zenoka naye, era ne Eziyaasi, era ne Isaaya, era ne Yeremiya, (Yeremiya nga nnabbi oyo y’omu eyawa obujulizi ku kuzikirizibwa kwa Yerusaalemi) era kaakano tukimanyi nti Yerusaalemi kyazikirizibwa okusinziira ku bigambo bya Yeremiya. Ayi olwo nga lwaki Omwana wa Katonda tajje, okusinziira ku bunnabbi bwe?
21 Era kaakano munawakana nti Yerusaalemi kyasaanawo? Munaagamba nti batabani ba Zeddekiya tebattibwa, bonna okuggyako Muleki? Weewaawo, era mmwe temulaba nti ezzadde lya Zeddekiya liri naffe, era baagobebwa okuva mu nsi ya Yerusaalemi? Naye laba, kino si kye kyokka;
22 Kitaffe Leki yagobebwa e Yerusaalemi kubanga yawa obujulizi ku bintu bino. Neefi naye yawa obujulizi ku bintu bino, era kumpi ne bakitaffe bonna, ddala n’okutuuka mu kiseera kino; weewaawo, bawadde obujulizi ku kujja kwa Kristo, era balindiridde, era baasanyukira olunaku lwe olulijja.
23 Era laba, ye Katonda, era ali nabo, era yeeyoleka gye bali, nti baali banunuliddwa ye; era ne bamuwa ekitiibwa, olw’ekyo ekigenda okujja.
24 Era kaakano, kubanga mumanyi ebintu bino era nga temuyinza kubyegaana wabula nga munaalimba, n’olwekyo mu kino muba mwonoonye, kubanga mugaanye ebintu bino byonna, newakubadde obujulizi obungi ennyo bwe mufunye; weewaawo, era ddala mufunye ebintu byonna, wamu ebiri mu ggulu, era n’ebintu byonna ebiri mu nsi, ng’obujulizi nti bituufu.
25 Naye laba, mugaanye amazima, era mujeemedde Katonda wammwe omutukuvu; era ddala ne mu kiseera kino, mu kifo ky’okweterekera eby’obugagga mu ggulu, ewatali kintu kyonna kireeta kuvunda, era ewatayinza kugenda kintu kyonna ekitali kirongoofu, mwetuumyeko obusungu nga mwetegekera olunaku olw’okulamulwa.
26 Weewaawo, ddala ne mu kiseera kino mwengerera, olw’ettemu lyammwe era n’obwenzi bwammwe era n’obubi, olw’okuzikirizibwa okw’olubeerera; weewaawo, era okuggyako nga mwenenyezza kujja kubatuukako mu bbanga eritali ly’ewala.
27 Weewaawo, laba kaakano kutuuse ne ku miryango gyammwe; weewaawo, musembere kumpi n’entebe ey’obulamuzi, era munoonyereze; era mulabe, omulamuzi wammwe atemuddwa, era agalamidde mu musaayi gwe; era atemuddwa muganda we, oyo anoonya okutuula ku ntebe y’obulamuzi.
28 Era laba, bombi ba kibinja kyammwe eky’ekyama, nga omutandisi waakyo ye Gadiyantoni era n’omubi oyo anoonya okuzikiriza emyoyo gy’abantu.